TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bukedde eyanise enguzi mu kufuna paasipooti : Kamera zaakwatiddemu n'aba Poliisi

Bukedde eyanise enguzi mu kufuna paasipooti : Kamera zaakwatiddemu n'aba Poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2020

BW’OSANGA makanika eyeefudde akanikira emmotoka ebweru wa ofiisi ezikola ku bya paasipooti, tosooka kumubamirako ng’omubuuza “jjeeke”, kubanga emirimu gy’akola gifuna kiralu okusinga obwa makanika mw’oba omulowooleza.

Meet 703x422

Omukazi ng'awa owa poliisi ssente.

Bamakanika abo beebamu ku bakayungirizi enguzi mwe yafuna oluwenda oluyingira mu ofiisi za paasipooti!

Abakolaganye nabo be banguyirwa okufuna paasipooti zaabwe mu nnaku ssatu oba nnya ng’ezaabwe zibali mu nkwawa, olwo ne baleka abantu abagoberedde emitendera nga bali mu bulumi obutalojjeka olwa layini mwe beebakira ne batuuka n’okusisimuka nga layini tennaseetuka kiwera.

Abagwira abaagala layisinsi okukolera wano nabo baazuula ekkubo eryangu ery’okuwaayo “amata g’abaana” olwo ebintu ne byanguwa.

Eby’embi nti olumu baviira ddala ku bisaanyizo, amaaso gaabwe nga gazibiddwa enguzi ebaweereddwa, olwo ne bagabira abantu paasipooti ne layisinsi ez’okukolera wano, naye ng’ebisaanyizo tebimala.

Omuntu asasudde 150,000/- ez’enguzi, asobola okufuna paasipooti ye mu bwangu ng’oyo eyasasudde 400,000/- eza paasipooti ey’obwangu (express) ng’ayita mu makubo amatuufu tannaba kufuna.

Engeri abantu baabulijjo gye bawaanyisiganyaamu ssente n’abamu ku bakozi oba abaserikale ba poliisi abakuuma ku kifo weewuunya oba ddala amateeka, kkamera n’enkola ez’okusabira paasipooti ku yintaneenti ziyinza okumalawo enguzi efumbekedde mu kifo kino.

Bw’olaba ennyiriri zoosanga ku mulyango oguyingira mu kifo we bafunira paasipooti oyinza okuggwaamu essuubi nga bakugambye nti osobola okugisasula leero n’ogifuna enkeera. Kyokka abagezigezi weebali abakanudde amaaso mu mbeera gy’olaba 

ng’enyigiriza abantu bbo mwe banoga ensimbi. Obulumi obuli mu nnyiriri ezo, ky’ekimu ku biwaliriza abantu okuwaayo enguzi, bawone obulumi! Bw’otuuka we bafunira paasipooti toyinza kwewuunya bw’osanga omuserikale wa poliisi ng’awummuzizza emmundu asooke ajjulize omuntu empapula.

Okunoonyereza ku bigenda mu maaso mu kitongole ekigaba Paasipooti twakutandika mu April 2019 nga paasipooti zikyagabwa mu nkola enkadde ey’okujjuza empapula okutuusa nga December 31, 2019, enkola enkadde lwe yawunzikiddwa mu butongole ne bagenda ku nkola ey’okujjuliza empapula ku yintaneeti.

Ennaku ebbiri ezaasembyeyo kyasusse (olwa December 30, ne December 31, 2019), nga buli muntu alwana afune paasipooti ng’enkola enkadde tennaba kuggalwa, era ennyiriri zaabadde mpanvu ddala.

Kino kyawadde omukisa abanoonya ssente ez’amangu omuli n’abaserikale ba poliisi abaasindikibwa okukuuma ekifo, ate okuyingira ddiiru bagabane ku ssente.

ENGERI ENGUZI GY’ETAMBULA MU KUGABA PAASIPOOTI

Mu bamu ku baagabanye ensimbi kwe kuli n’omuserikale wa poliisi Madoi. Ono baamuwadde ensimbi 650,000/- ne bamwongerako n’akapapula ak’emitwalo ebiri z’oyinza okuyita “genda bakulye” ezaakoze ng’amafuta agaamutambuza okuyunga omukyala eyabadde ayagala paasipooti ey’ekikungu mu bwangu obusoboka.

Omukazi ono yakedde we bafunira paasipooti. Yamaze ekiseera ng’ateesa ne Madoi era oluvannyuma lw’okukkaanya baasazeewo bagende mu kafo akeesigika, omukazi we yabalidde ssente 650,000/- n’aziwa Madoi nga ziri mu bupapula bwa mitwalo etaano. Okwo yagasseeko akapapula ka mitwalo ebiri ke yabadde asigazza mu nsawo.

Madoi obwedda akakasa omukyala ono nti ensonga zonna zigenda kukolwako bulungi kubanga alina abantu abeesigika munda abagenda okwanguya ekintu.

Omukazi yakutte paasipooti ze enkadde ssatu n’aziwa Madoi era kkamera zaffe zaakutte Madoi ng’alaga omukyala ono ennamba y’essimu y’omu ku bankungu munda ng’ono Madoi gwe yagambye nti y’agenda okumaliriza ddiiru yonna.

Omukazi ono ne Madoi baasoose kuwuliziganya ku ssimu era bwe yatuuse ku ofiisi ya paasipooti, yasoose kukuba ssimu.

Waayiseewo akaseera katono Madoi n’atuuka ne boogerezeganya n’omukyala okumala ekiseera nga bateesa n’okukkaanya.

Ng’ovudde ku Madoi, abakozi munda bafulumayo ne bajja ku mmotoka zaabwe wabweru abamu ne beefuula abalina obuntu bwe bakanikamu olwo gwe yakolaganye naye okumuwa ssente waamusanga.

Twafunayo omukyala gwe twasanga yeetaaga paasipooti ne tukolagana naye ng’alina ofiisa gw’akolagana naye okumuyambako okuyisaawo empapula ze.

Omukyala omulala yabadde aludde nga naye agoba ku by’okufuna paasipooti we yafunidde ‘omuzirakisa’ eyamuyunze ku omu ku bakozi mu kitongole munda. Yamulagidde basisinkane wabweru boogere amanye engeri gy’ayinza okumuyamba.

 bantu nga basimbye ku ofiisi za paasipooti Abantu nga basimbye ku ofiisi za paasipooti.

Yatandise okwogerezeganya n’ofiisa amuyambako, ekyaddiridde ye musajja ono omunene omuwanvu okufuluma ng’ali mu yunifoomu y’abakozi n’agenda awali mmotoka ye.

Omukyala yamutuukiridde ne boogera okumala akaseera oluvannyuma n’amulagira asooke adde wabbali azinge sente azimuleetere.

Awo kayungirizi w’omukungu oyo we yatuukidde n’abikkula n’abikkula “bboneti”y’emmotoka mu maaso ewabeera yingini, ng’alinga aliko by’akebera olwo omukyala ne bamulagira ssente 100,000/- aziteeke ku mmotoka eyabadde ebikkuddwa, yeeyongereyo era bwe kyabadde.

ENKOLA ENDALA MWE BAFUNIRA SSENTE

Ogenda mu bbanka n’osasula ebisale ebituufu nga bwe byalambikibwa n’oteekayo fayiro ne bakola buli kintu okutuuka ku mitendera egisembayo.

Bakuwa olunaku lw’obeera oddayo kyokka gw’otuukirako ayinza okukutegeeza nti fayiro yabula, bwe weetoloola n’olemwa ng’oddayo okumwebuzaako ayinza okukulagirira omuntu gw’obeera okolagana naye oba ye yennyini okwefuula akuyamba naye mu kaseera katono akulaga nti fayiro bagizudde olwo ng’omusasula kino babadde bakikozesa nnyo mu nkola enkadde ey’okutambuza fayiro.

Osobola okukola buli kimu ne paasipooti ne bagikuba ne bagituusa mu kifo w'olina okugifunira kyokka bw’owaayo akapapula okuli erinnya n’ennamba, oyo azinonayo ayinza okusooka okugikwata n’agiteeka wabbali n’akutegeeza nti ebuze. Bw’omwewuubako awo waakutegeereza ky’ayagala okole era bw’omuwa ssente wayita akaseera katono ng’agizudde.

Abamu ku bakola munda essaawa z’ekyemisana bwe zituuka obalaba basala ekkubo okuyingira ku ludda olwa lufula n’olowooza nti bagenda kulya kyamisana wabula si bonna nti babeera bagenze ku kyamisana, abamu akolagana n’omuntu gw’agobera ku paasipooti ye n’amulagira basisinkane ng’agenze ku ky’emisana era eyo gye biggwera n’amusasula.

Abamu ku bakozi munda bw’amaliriza okukkaanya n’omuntu gw’agenda okukolera ku mpapula ze okumwanguyiza okufuna paasipooti ng’amulagirira ku kaamu ku buyumba bwa mobile money obuliraanyeewo ng’amuteekerawo ssente, olwo ye agenda ng’agenze okuggyayo ssente ku 'mobile money' oba okutumawo omuntu omulala n’azimunonera.

EMIWEINDO EMITONGOLE OMUNTU GY’ALINA OKUSASULA

Ssente zonna omuntu z’asasula okufuna paasipooti alina kuzisasula mu bbanka, olwo ffoomu n’agijjuliza ku yintaneenti n’atwalayo obupapula obwo nga buwedde okujjuza ne babuteeka mu fayiro ng’ebiri ku lupapula bikwatagana n’ebiri ku yintanenti ku ffoomu gye wajjuzizza.

Paasipooti ey’omuntu waabulijjo esookerwako osasula 250,000/- eno ebeera ya miko 48.
Paasipooti y’abakungu ebeera myufu nga ya miko 64 osasula UGX 500,000/
Paasipooti y’abakozi ba gavumenti eno tebeera ya kikungu osasula 400,000/
Paasipooti yonna ng’ogyagalirawo mu nnaku bbiri osasulayo ssente endala 150,000/
Agisaba ng’osinziira bweru wa ggwanga oyongeramu 10,000/

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu