TOP

Abawala b’e Nansana 2 bafi iridde ku kyeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2020

JUSTINE Namigadde 32 yalekawo abaana be n’agenda mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu gya waka ng’asuubira nti waakudda babeere mu bulamu obweyagaza wabula kino tekyasobose.

Bya PETER SSAAVA

JUSTINE Namigadde 32 yalekawo abaana be n’agenda mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu gya waka ng’asuubira nti waakudda babeere mu bulamu obweyagaza
wabula kino tekyasobose.


Yatwalibwa kkampuni ya Alasker International Ltd esangibwa e Kabuusu nga October 18, 2018.

Kontulakiti ye ebadde eggwaako mu October omwaka guno, olwo akomewo mu Uganda alabirire abaana be. Babadde bamusasula emitwalo 90 buli mwezi.

Yafudde mu December w’omwaka oguwedde wabula nga bazadde be amawulire g’okufa baagategedde wiiki ewedde.

Bazadde ba Namigadde okuva lwe baafuna amawulire g’okufa kwa muwala waabwe baawakanya ebigambibwa nti yafudde mutima kuba aludde ng’abakubira ng’abategeeza nti abadde atulugunyizibwa mu maka gye yatwalibwa okukola.

NNYINA WA NAMIGADDE ANNYONNYOLA:

Julia Najjumba nnyina wa Namigadde yategeezezza Bukedde nti muwala we yatwalibwa kukola mirimu gya waka era mu kusooka yakola bulungi nga tewali buzibu
bw’afuna era ng’abasuubiza nga bwajja okudda abalabirire.

Ekiseera kyatuuka Namigadde n’atandika okutulugunyizibwa nga n’emirimu gye baamugamba okukola gyeyongeddeko obungi.

Yakubira kkampuni eyamutwala wabula bano ne batafaayo kulondoola
nsonga eno.

“Mu July wa 2019 Namigadde yasasulwa omusaala gwe wabula olw’okuba yali atulugunyizibwa yasalawo okuddukira ku poliisi n’abayitiramu ensonga ze.

Baayita mukama we n’abakulu ba kkampuni okusalira ensonga  amagezi era kkampuni n’etegeeza nti kabamukyusize ennyumba endala gy’akolera.” Najjuma 
bw’ayongerako.

Yategeezezza nti baasaba Namigadde adde eka aggyeyo ebintu bye olwo adde ku offi isi ya Alasker emutwale ku mulimu omulala. Mukama we (Namigadde) ye yamuzza awaka wabula mu kifo ky’okumuwa ebintu bye ate baamuggalira mu kisenge ne
bamukuba bubi nnyo n’essimu gye yalina ne bagimuggyako ne bamutegeeza nti bw’aba waakuwuliziganya n’abantu be mu Uganda alina kukozesa ssimu za waka.

Najjuma agamba nti yatuuka ekiseera n’atwalibwa mu maka amalala mu August w’omwaka oguwedde wabula nga neeno yafunirayo obuzibu era embeera yasajjuka mu December bwe yabategeeza nti akola essaawa 24 nga kwe batadde okumutulugunya ekisusse.

YASEMBA OKWOGERA NABO MU DECEMBER
Nnazaala wa Namigadde nga ye Harriet Nagawa yategeezezza nti Namigadde yamukubira nga December 13, 2019 n’amutegeeza nti alina obulumi obw’amaanyi
ennyo era tamanyi oba anaamalako kontulakiti.

Bwe yavaako tebaddamu kumuwuliza nga ne bwe bakuba ku ssimu ya mukama we
tewali agikwata.

Nagawa yategeezezza nti nga January 17, 2020, yafunye essimu okuva ku kkampuni ya Alasker ng’emusaba okugendayo babeeko bye boogeramu.

Yatuuseeyo nga bamutegeeza nga Namigadde bwe yafudde omutima nga nabo
amawulire baagafunye okuva Namigadde gy’abadde akolera.

“Nnawulidde nga mpunze oluvannyuma lw’okuwulira okufa kwa muwala wange, Namigadde. Ekimazeemu amaanyi nti yafudde mutima ekintu kye sikkiriziganya
nakyo kuba aludde ng’atugamba nti bamutulugunya.” Nagawa bwe yayongeddeko.

ABA ALASKER BATANGAZIZZA

Isaac Kiyingi okuva mu Alasker International Ltd yategeezezza nti Namigadde bwe yafuna obuzibu baafaayo nnyo okulaba nga batuukirira bakama be era ne baafuba
okulaba ng’akyusibwa okuva mu maka ge yalimu okudda mu malala.

“Okufa kwe naffe kwatukanze nnyo naye kye tuliko kwe kulaba nti tuzza omulambo tugutwale e Mulago tuzuule oba ddala kye bagamba nti yafudde mutima kye kituufu.

Singa kiba nga yafudde lwa kumutulugunya awo tugenda kuwawaabira amaka gy’abadde akolera batunnyonnyole ekyamusse.” Kiyingi bwe yayongeddeko.

Yagambye nti bali bumu n’abooluganda lwa Namigadde okulaba nga bakola ku nsonga
zonna okutuukira ddala ku kuziika.

OMUWALA OMULALA YAFIIRIDDE JORDAN:

Jackie Nambaasa 37, yafiiridde mu Jordan naye n’aleka bazadde be nga beebuuza ekyamusse. Ono yasiibula bazadde be e Nansana- Kabumbi nga July 20, 2019 era
ng’omuvubuka eyategeerekekako erya Shafik ye yamupangira okugenda
okukola.

Nnyina wa Nambaasa nga ye Sarah Nakamya yategeezezza nti muwala we yamukubira essimu ne banyumya bulungi nnyo nga bw’amubuuza ne ku baana be
yaleka bwe bali era Nakamya namutegeeza nti bali bulungi nnyo.

“Mu December w’omwaka oguwedde yantegeeza nti omugongo gunnuma era kwe kumubuuza oba alina ebizito by’asitula n’anziramu nti nedda. Twasemba kwogera naye ku Ssekukkulu era n’anjagaliza omwaka omupya ogw’emirembe.” Nakamya bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti nga January 6, 2020, yayogera ne mukama wa Nambaasa okumubuuza bwali n’amutegeeza nti alinamu obukosefu taliiwo.

Enkeera yalaba ssimu ng’alowooza nti muwala we yayagala okwogerako naye wabula
kyaamubukako ate okumubikira nti Nambaasa afudde.

Ssentebe wa Nansana East I Kabumbi Zooni Richard Mugerwa yakuutidde gavumenti okusooka okuwera kkampuni zonna ezitwala abantu ebweru basooke batereeze
embeera kuba abaana bangi bafudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League