TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu beemulugunya ku bukambwe UMEME bw’ekozesa mu bikwekweto

Abantu beemulugunya ku bukambwe UMEME bw’ekozesa mu bikwekweto

By Moses Lemisa

Added 22nd January 2020

BANNAKAMPALA balaze obutali bumativu ku bikwekweto ebikolebwa ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME ku babba amasannyalaze bye bagamba nti bivudde ku mulamwa ne basaba be kikwatako okusitukiramu.

Worship 703x422

Abatuuze lwe baali batunuulira omulambo gwa Vincent eyakubwa amasannyalaze n’afa wano gwali guteekebwa ku kabagaali ya poliisi.

umativu ku bikwekweto ebikolebwa
ekitongole ky’amasannyalaze ekya
UMEME ku babba amasannyalaze
bye bagamba nti bivudde ku
mulamwa ne basaba be kikwatako
okusitukiramu.
Ekitongole kya UMEME mu
kusooka tekyakwatanga bagabba
kati olwobubbi bw’amasannyazale
obweyongedde baakyusaamu. E
Kawempe okubba amasannyalaze
gwafuuka mulimu ng’abavubuka
abamu balina amayumba ge
baapatana okuwa amasannyalaze
nga buli mwezi omuzigo ogumu
bagusolooza 10,000/- edduuka
20,000/- n’okudda waggulu.
Bakamyufu bajjudde mu buli
kitundu kya Kawempe nga waya
ze bakozesa okugabba baziyisa
mu ttaka, mu nguudo, mu myala,
mu kaabuyonjo n’ebifo ebirala
ebitali byangu kuzuula waya, ekizze
kireetera UMEME okufi irwa ssente.
Mu September w’omwaka
oguwedde ekitongole kya
UMEME kyatandika ebikwekweto
vvaawo mpitewo mu bitundu
bya Kampala eby’enjawulo nga
bakwata abagambibwa okugabba,
ng’ebyuma ebikozesebwa babitwala
gattako n’okukwata basaalumanya
ekivuddeko abatuuze okulaga
obutali bumativu mu nkola yaabwe
ey’emirimu.
Nnaalongo Jennifer Nakakaawa
omupangisa mu Kizza Zooni e
Kawempe yagambye nti aba
UMEME baamukutte n’agezaako
okubannyonnyola nti mupangisa ne
bagaana ne bamulinnyisa kabangali
ya poliisi nga bamuyisaamu empi
ne bamutwala ku poliisi e Kawempe
ng’eno okuvaayo baamusabye
emitwalo 20. Yafundikidde abawadde
emitwalo 10 ne bamuyimbula.
Yagasseeko nti kituufu abantu
babba amasannyalaze ng’era bangi
gabasse nga UMEME yandibadde
ekwatagana ne bannannyini
mayumba n’ebawa amateeka
okusinga okukola ebikwekweto ne
bakwata basaalumanya ng’ensangi
zino bakwatiramu n’abagenyi, ba
yaaya, bakasitoma abasangibwa mu
maduuka.
“Kituufu e Kawempe obubbi
bw’amasannyalaze bungi wabula
enkola y’ebikwekweto ye mbi.
Obukambwe bakozesa bungi, ttiiya
ggasi bamukuba mu mayumba,”
Nakakaawa bwe yategeezezza.
Paul Kibuuka ssentebe wa
Kiggundu Zooni mu muluka
gwa Makerere III e Kawempe
yagambye nti aba UMEME
balina okukyusaamu mu nkola
y’ebikwekweto embi.
Yagasseeko nti
bannannyini mayumba
abasinga obuvunaanyizibwa
bw’amasannyalaze baabweggyako
ne babulekera abapangisa
okwefaako.
Yayongeddeko nti UMEME
yagabira abantu mita
z’amasannyalaze ku bwereere
emyezi esatu emabega naye
n’okutuusa kati tegateekebwangako
okuggyako abalinamu ku ssente be
bateekako.
Yagasseeko nti nga December 28
omwaka oguwedde UMEME yakola
ekikwekweto n’ekuba ttiiyagaasi mu
mayumba ng’abantu mu Kiggundu
Zooni omwali abaana abato.
“Obubbi bw’amasannyalaze
kituufu bungi mu Kawempe wabula
aba UMEME bavudde ku mulamwa,
”. Kibuuka bwe yategeezezza.
Emiruka egisinga okubba
amasannyalaze mu Kawempe kuliko;
ogw’e Kikaaya, Makerere I-III,
Mulago I-III, Bwaise I , Wandegeya ,
Kyebando yenna, Kawempe-II, Kazo
Angola, Kanyanya n’emirala.
Dr. Emmanuel Sserunjogi meeya
w’e Kawempe yategeezezza nti
ekitongole kya UMEME
kyandibadde kisooka
ne kiyimirizaamu ku
bikwekweto ne kikwatagana
n’abakulembeze b’omu
bitundu okuzuula ababba
amasannyalaze okusinga
okukwata basaalumanya
kuba enkola gye bakolamu
si nnungi eyinza okuleeta
obuzibu.
POLIISI EYOGEDDE
Luke Owosigyire,
omwogezi wa poliisi mu
Kampala n’emiraano
yategeezezza nti
ebikwekweto si bya poliisi
naye baliwo kuyamba ku
UMEME.
Yagasseeko nti
n’okumenya amayumba
g’abantu bakikola mu
mateeka ssinga kiba
kyetaagisizza okugyako
ssinga wabaawo ebintu
ebyonooneddwa abaserikale
abaabaddewo baba balina
okunnyonnyola.
Yasabye abantu
abaggyiddwaako ssente ku
poliisi okubayimbula ng’ate
si be bavunaanyizibwa
ku mayumba baggulewo
umativu ku bikwekweto ebikolebwa ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME ku babba amasannyalaze bye bagamba nti bivudde ku mulamwa ne basaba be kikwatako okusitukiramu. Ekitongole kya UMEME mu kusooka tekyakwatanga bagabba kati olwobubbi bw’amasannyazale obweyongedde baakyusaamu. E Kawempe okubba amasannyalaze gwafuuka mulimu ng’abavubuka abamu balina amayumba ge baapatana okuwa amasannyalaze nga buli mwezi omuzigo ogumu bagusolooza 10,000/- edduuka 20,000/- n’okudda waggulu. Bakamyufu bajjudde mu buli kitundu kya Kawempe nga waya ze bakozesa okugabba baziyisa mu ttaka, mu nguudo, mu myala, mu kaabuyonjo n’ebifo ebirala ebitali byangu kuzuula waya, ekizze kireetera UMEME okufi irwa ssente. Mu September w’omwaka oguwedde ekitongole kya UMEME kyatandika ebikwekweto vvaawo mpitewo mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo nga bakwata abagambibwa okugabba, ng’ebyuma ebikozesebwa babitwala gattako n’okukwata basaalumanya ekivuddeko abatuuze okulaga obutali bumativu mu nkola yaabwe ey’emirimu. Nnaalongo Jennifer Nakakaawa omupangisa mu Kizza Zooni e Kawempe yagambye nti aba UMEME baamukutte n’agezaako okubannyonnyola nti mupangisa ne bagaana ne bamulinnyisa kabangali ya poliisi nga bamuyisaamu empi ne bamutwala ku poliisi e Kawempe ng’eno okuvaayo baamusabye emitwalo 20. Yafundikidde abawadde emitwalo 10 ne bamuyimbula. Yagasseeko nti kituufu abantu babba amasannyalaze ng’era bangi gabasse nga UMEME yandibadde ekwatagana ne bannannyini mayumba n’ebawa amateeka okusinga okukola ebikwekweto ne bakwata basaalumanya ng’ensangi zino bakwatiramu n’abagenyi, ba yaaya, bakasitoma abasangibwa mu maduuka. “Kituufu e Kawempe obubbi bw’amasannyalaze bungi wabula enkola y’ebikwekweto ye mbi. Obukambwe bakozesa bungi, ttiiya ggasi bamukuba mu mayumba,” Nakakaawa bwe yategeezezza. Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu Zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe yagambye nti aba UMEME balina okukyusaamu mu nkola y’ebikwekweto embi. Yagasseeko nti bannannyini mayumba abasinga obuvunaanyizibwa bw’amasannyalaze baabweggyako ne babulekera abapangisa okwefaako. Yayongeddeko nti UMEME yagabira abantu mita z’amasannyalaze ku bwereere emyezi esatu emabega naye n’okutuusa kati tegateekebwangako okuggyako abalinamu ku ssente be bateekako. Yagasseeko nti nga December 28 omwaka oguwedde UMEME yakola ekikwekweto n’ekuba ttiiyagaasi mu mayumba ng’abantu mu Kiggundu Zooni omwali abaana abato. “Obubbi bw’amasannyalaze kituufu bungi mu Kawempe wabula aba UMEME bavudde ku mulamwa, ”. Kibuuka bwe yategeezezza. Emiruka egisinga okubba amasannyalaze mu Kawempe kuliko; ogw’e Kikaaya, Makerere I-III, Mulago I-III, Bwaise I , Wandegeya , Kyebando yenna, Kawempe-II, Kazo Angola, Kanyanya n’emirala. Dr. Emmanuel Sserunjogi meeya w’e Kawempe yategeezezza nti ekitongole kya UMEME kyandibadde kisooka ne kiyimirizaamu ku bikwekweto ne kikwatagana n’abakulembeze b’omu bitundu okuzuula ababba amasannyalaze okusinga okukwata basaalumanya kuba enkola gye bakolamu si nnungi eyinza okuleeta obuzibu. POLIISI EYOGEDDE Luke Owosigyire, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiraano yategeezezza nti ebikwekweto si bya poliisi naye baliwo kuyamba ku UMEME. Yagasseeko nti n’okumenya amayumba g’abantu bakikola mu mateeka ssinga kiba kyetaagisizza okugyako ssinga wabaawo ebintu ebyonooneddwa abaserikale abaabaddewo baba balina okunnyonnyola. Yasabye abantu abaggyiddwaako ssente ku poliisi okubayimbula ng’ate si be bavunaanyizibwa ku mayumba baggulewo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono