TOP

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta -Babaka

By Kizito Musoke

Added 23rd January 2020

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga baagala Kadaga abasalire ku magezi.

Babaka1 703x422

Nzoghu Musabe Nantaba

Bya KIZITO MUSOKE

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga baagala Kadaga abasalire ku magezi.

Baasoose kugumba ku Palamenti ekiro ky’Olwokubiri kyonna nga bagamba nti batya okudda eka kubanga abaabalaalise okubatta babalinnya kagere era balina okutya nti bayinza okuttibwa nga badda eka.

 Ababaka bataano ku bano bali ku ludda oluvuganya gavumenti ate ababiri ba NRM.

Abamu bagamba nti amannya g’abantu abaagala okubatta baagategeeza dda abakulu mu gavumenti era ng’abamu ku be bateebereza bajaasi, kyokka nti tewali kikolebwa era balina okutya nti bayinza okuttibwa nga munnaabwe Ibrahim Abiriga eyalaajana nti baagala kumutta ne watabeerawo kikolebwa era oluvannyuma n’akubwa amasasi agaamutta ng’adda ewuwe e Kawanda nga June 8, 2018 era abaamutta ne gye buli eno tebakwatibwanga.

Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Betty Aol Ocan yategeezezza nti obulamu bw’ababaka bano buli mu katyabaga kuba waliwo abantu ababatambulirako nga tebamanyidde ddala kigendererwa kyabwe.

Abagambibwa okuba abatemu nti balondoola ababaka mu bifo gye batambulira ne gye
basula era mu kiseera kino nti tebamanyi kigenda kuddirira mu bulamu bwabwe.

Omubaka Atikns Godfrey Katusabe (Bukonjo West) ye yasinze okulaga okutya ng’agamba nti mu mwezi guno nga 13, yagudde ku kibabu bwe yawambiddwa abantu
abaabadde mu byambalo ebifaanana ebya poliisi nti ne bamutulugunya nnyo ne bamwambula ne bamutwalako ne ssente eziwerera ddala ddoola 91,000 (zisukka obukadde 320) nti era bwe yagezezzaako okulondoola ssente, kati baagala kusaanyaawo bulamu bwe.


Bino nti baabimukoze ali mu kitundu kya Bukonjo West, Kasese era agamba nti waliwo omujaasi ali ku ddaala erya waggulu gw’ateebereza okubeera emabega w’ebimukolebwako era alina okutya nti ayinza okutemulwa mu ngeri ey’akavuyo.

Mu kitundu ky’e Kasese waliyo n’omubaka owookubiri William Nzoghu (Busongora North) era nga naye yaddukidde wa Sipiika nga agamba nti baagala kumutta.

Gye buvuddeko yategeeza ng’abantu b’atamanyi naye ng’ateebereza nti bakyamu bwe
baamulondoola okutuukira ddala okumpi n’ekikomera ky’ennyumba ye era naye nti kati atya okusula ewuwe.

Ekisinga okumweraliikiriza kwe kuba ng’ebigendererwa by’abamulondoola tabimanyi.

Yagambye nti abantu bano baali bamulondoddeko emabega era bwe baamuwa obukuumi embeera n’etereera, naye kati bizzeemu.

 innie iiza Winnie Kiiza

 



Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga yategeezezza nti olukiiko olufuga Palamenti lwali lusazeewo okuwa obukuumi buli mubaka gwe banaasanga nga yeetaaga okukuumwa mu ngeri ey’enjawulo; naye kino kyakolwako wabula oluvannyuma ne kiyimiriramu ng’ababaka bangi balaze nti tebakyetaaga bukuumi.

Ababaka abalala abeekubidde enduulu ewa Sipiika kuliko ye Jackson Mbaju (Busongora South). Alumiriza nga bwe waliwo abantu abamutambulirako ng’okusooka baali baagala kumukolako bulabe ng’ali e Kasese kyokka n’asimattuka.

Abantu beebamu baamulumba mu maka ge, era nti ng’ogusembyeyo baamulumba e Kisaasi mu Kampala kyokka nga yali tasuze waka ky’asuubira nti kye kyamuwonya.

Agamba nti ensonga yazitwala ku poliisi kyokka bwe yagezaako okusaba obukuumi ate ne bamujuliza akakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda era kati ayagala Sipiika amuyambe nga tebannamutuusaako buzibu. Mbaju, Nzoghu ne Katusabe bombi ba FDC.

Omubaka Robert Migadde owa NRM akiikirira Buvuma naye yeekubidde enduulu ng’agamba nti bamuweereza obubaka obumulaalika okumutta.

Kigambibwa nti obuzibu yatandika kubufuna ng’atandise okuwakanya eryanyi erikozesebwa  mu bikwekweto ebikolebwa ku nnyanja era nti okuva Palamenti lwe yayongedde akazito ku bajaasi abakola ebikwekweto bino ku nkomerero y’omwaka oguwedde, ne bongera okumulondoola ekimulowoozesa nti waliwo akakwate n’ensonga ezeekuusa ku buvubi.

Connie Nakayenze Galiwango (mukazi/Mbale) ye mubaka owookubiri owa NRM eyalaajanidde Sipiika nti obulamu bwe buli mu matigga. Mu kulaajana kwe agamba nti baamusuulira ekibaluwa mu maka ge nga bamugamba aweeyo obukadde 400 bwe kitaba ekyo bagenda kumutta mu bbanga lya wiiki emu.

Nakayenze ye mukyala wa Dr. Hassan Wasswa ng’ono ye Dayirekita w’ebyensimbi mu kibiina kya NRM. Nakayenze yategeezezza nti olwa nsalessale eyali amuweereddwa yafunye mangu obukuumi aleme kutuusibwako buzibu.

 inisita nite ne igadde Minisita Anite ne Migadde

 

Abalala abaddukidde ewa Sipiika kuliko n’eyali akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Winfred Kiiza (mukazi/Kasese) era ng’ono naye wa FDC kw’ossa
omubaka omulala atalina kibiina mw’agwa wabula ng’ono yasabye erinnya lye lireme kwasanguzibwa kubanga kiyinza okwongera okumuteeka mu bulabe obw’amaanyi.

Ababaka abamu okuli n’ababadde Baminisita bazze balaajana ku bantu be bagamba
abaagala okubatta era ku bano kuliko Evelyn Anite ne Idah Nantaba abaalumiriza nti waliwo be baayogerako nga bamafia mu gavumenti ababalinnya akagere nga baagala kubatta.

Ababaka abalala abazze beemulugunya bali ku ludda oluvuganya gavumenti kuliko; Betty Nambooze, Moses Kasibante, Allan Ssewannyana, Francis Zaake, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) n’abalala.

Hellen Kaweesa, omwogezi wa Palamenti yagambye nti ababaka ba Palamenti batwalibwa nga bantu ba kitiibwa nnyo mu ggwanga era kibakakatako okukakasa nga
bafuna obukuumi.

Yagambye nti omubaka yenna alina obuzibu yeekubira enduulu ewa Sipiika n’akolagana ne poliisi n’enoonyereza okukakafu oluvannyuma ne bamuwa abakuumi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana