TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

By Benjamin Ssebaggala

Added 23rd January 2020

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Gwe1 703x422

Jjajja w'omwana ng'ali ne muzzukulu we gwe basanze n'ebiwundu oluvannyuma lw'okusimattuka omusamize

TAATA e Kamuli mu Busoga atunze muwalawe wa myaka esatu ew’omusawo w’ekinnansi ku 300,000/- bamusaddaake, sente aziguzeemu essimu y’omungalo.

Anthony Ssebukeera, 32 yeeyatunze muwalawe bwe yalabirizza mukyalwe Oliva Naibira gw’alinamu abaana babiri n’amubbako omwana waabwe omukulu ow’emyaka esatu.

Ssebukeera Okudda awaka yakomyewo na simu, mukyala we n’amubuuza gy’atutte omwana n’amutegeeza nti yamututte wa Jajjawe.

Naibira ensonga yazitutte ku Poliisi, eyamukutte ne bamwogeza era wano weyategeezezza nti yabadde amuguzizza omusawo w’ekinnansi Abdu Kitaabona, 45 ow’e Mpunde mu ggombolola y’e Kagulu mu Buyende.

Poliisi yasitukiddemu n’ekwata Kitaboona ne Ssebukeera era bombi baabaggalidde mu kkomera e Buyende lwakutta mwana.

OMULALA BAMUSAZE OBULAGO N’ASIMATTUKA:

Bino byabadde ku kyalo Bukwanga mu ggombolola y’e Namasagali mu disitulikiti y’e Kamuli omuntu ataategeerekese bwe yawambye omwana n’amutwaala mu kibira gye baamusalidde obulago n’alembeka omusaayi.

Faima Nabirye ow’emyaka 8  ng’asoma P2 ku Kasozi Primary School yasangiddwa mu kibira Nga bamusaze obulago ne balembeka omusaayi. 

Jjajjawe Muhamad Batwawula, 75, yabadde akedde  okulima n’amuleka  ne muto munne nga bakyeebase. Omuntu yazze n’aggulawo ennyumba n’awamba omwaana omu namuleka mu buliri.

Muliraanwa wa Butwawula yeeyabadde ayita ku kibira n’awulira omwana ng’alaajana yeeyamulabye n’ategeeza Jajjawe. Baamututte mu ddwaliro e Kamuli ng’ataawa. Abaamusaze baatuuse ku mimiro kyokka tebaagikutudde.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga North, Michael  Kasadha  yakakasizza ettemu lino era n’asaba abantu bongere okuleeta amawulire aganaayamba okuzuula abatemu.

ABAKULEMBEZE B’E KAMULI BOGGEDDE:

Akola ku nsonga z’ekikula ky’abantu n’ensonga z’abaana ku disitulikiti y’e Kamuli, Monica Mukasa , yakasizza nti wewawo ebitongole  okuli Plan ne Child Fund bigezezaako okulwanirira eddembe ly’abaana, wakyaaliwo okusomoozebwa.

Yagambyenti okulwanyisa okutulugunya abaana olukiiko lwa disitulikiti  y’e Kamuli lw’ayisa etteeka eritangira ebikolwa by’okutulugunya mu ngeri yonna.  

Patrick Emukule  maneja wa Plan Kamuli, ategezezza nti  basomesezza abakulembeze ku byalo engeri gye bayinza okulondoola n’okutangira ebikolwa eby’okutulugunya abaana.

Atwala ofiisi ekola ku nsonga z’abaana n’amaka ku poliisi mu disitulikiti y’e Kamuli Joshua Mboizi, yategeezezza nti okusinziira ku bye bakung’aanyizza ebigenda okufulumira mu lipooti y’omwaka oguwedde omuwendo gw’abaana abatulugunyizibwa guli waggulu nnyo.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Busoga, North, Michael Kasadha yategezezz nti alipoota y’eddwaliro ly’e Kamuli eya 2018, abaana 7,024 bebazaalibwa era kino kiva ku mbeera ez’enjawulo okuli n’okutulugunya bamaama n’abaana.

 Martina Kiiza ow'ekibiina ekirwanirira eddembe ly'abaana ng'annyonnyola

LIPOOTI YA Unicef  KU KUTULUGUNYA ABAANA MU UGANDA:

Gavumenti Ya Uganda ng’eri wamu n’ekitongole ky’amawanga amagatte ekikola ku nsonga z’abaana, yakwataganye n’ebitongole USAID, U.S. Centers for Disease Control and Prevention (CDC) ne UNICEF ne bakola okunoonyereza.

Lipooti Violence Against Children Survey 2018’ gye baafulumizza eraga nti mu Uganda ebitundu by’obuvanjuba omusangibwa Kamuli ne Buyende beebasinga okutulugunya abaana.

Lipooti eraga nti ku buli bantu 4 abakulu, basatu ku bo baatulugunyizibwa nga bato nga 1 ku 3 yafuna okutulugunyizibwa okusukka mu kika ekimu.

NATIONAL CHILDREN AUTHORITY (NCA):

Martin Kiiza akulira NCA yategeezezza nti lipooti gye baakoze  (State Of Uganda’s Children Report 2018, eraga nti buli bawala 22 abali ku myaka 15 osangako 11 nga yafuna okutulugunyizibwa mu birowoozo.

Buli bawala 22 abatasukka myaka 15 osangako 8 bebakabasanyizza. Bino okubirwanyisa batalaaga amasomero nga baggulawo Child Rights Clubs okubatendeka okwekuuma n’okulwanirira eddembe lyabwe.

MUNNAMATEEKA ANNYONNYOLA:

Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola yannyonnyodde nti omuntu singa atulugunya omwana. Oyo akikoze basobola okumuvunaana ne bamusiba kyokka mu ngeri yeemu omwana asobola okuwawaabira omuntu oyo n’amuliyirira.

Kyokka omwa omuto okuwaaba akikola ng’ayita mu muntu omukulu amulinako obuvunaanyizibwa ne bw’abeera nga si ye muzadde amuzaala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...