TOP

NRM eyise Mbabazi ne Polof. Bukenya e Namboole

By Joseph Makumbi

Added 24th January 2020

Bukenya ne Mbabazi baayitiddwa ng’abamu ku bagenyi ab’enjawulo mu lukungaana lwa NRM olutegekeddwa e Namboole.

Nrm1 703x422

Abamu ku ba NRM abaabadde e Kololo.

Bya KIZITO MUSOKE ne JOSEPH MAKUMBI

EKIBIINA kya NRM kiyise Amama Mbabazi ne Polof. Gilbert Bukenya abaali basazeewo okuvuganya Yoweri Museveni ku Bwapulezidenti mu 2016.

Bukenya ne Mbabazi baayitiddwa ng’abamu ku bagenyi ab’enjawulo mu lukungaana lwa NRM olutegekeddwa e Namboole.

Mu NRM, Bukenya ne Mbabazi baali tebakwatagana bulungi era bombi baavuganyaako ku kifo kya Ssaabawandiisi mu 2010, wabula Mbabazi n’awangula.

Ababaka 30 abamanyiddwa nga ‘bakyewaggula’ naddala abaawakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti, nabo bayitiddwa mu lukuhhaana luno.

Okusunsula abayitiddwa kwakoleddwa ku kisaawe ky’eggwanga e Kololo nga bakakasa
amannya g’abo abateekeddwa okwetaba mu nkiiko ez’enjawulo ezitegekeddwa era
abamala okukakasibwa nga babawa kkaadi ezibakkiriza okwetaba mu ttabamiruka e Namboole.

Dr. Specioza Wandera Kazibwe eyaliko omumyuka wa pulezidenti, Kintu Musoke eyaliko Katikkiro wa Uganda ne Francis Babu eyaliko omumyuka wa ssentebe atwala Kampala nabo baayitiddwa.

 alim huru  wakati nabamu ku bakiise Salim Uhuru ( wakati) n’abamu ku bakiise.

 


Abalala abaayitiddwa mulimu; bapulezidenti ne bassaabawandiisi b’ebibiina okuli; FDC, DP, UPC ne JEEMA. Bino bye bibiina ebirina ababaka mu Palamenti ya Uganda.
Rogers Mulindwa yagambye nti Pulezidenti Museveni era ssentebe wa NRM konsitityusoni y’ekibiina emuwa obuyinza okuyitayo abagenyi ab’enjawulo b’abeera ayagadde era mu ttuluba eryo, Mbabazi, Bukenya, Kazibwe n’abalala mwe bagwa.

ABAKIISE BAAKUGABANA OBUWUMBI 4

Mu kutegeka olukuhhaana luno, ekibiina kya NRM kyakusaasaanya ensimbi eziri mu buwumbi.

Okugeza, abakulembeze 14,955 abayitiddwa baakuweebwa ensako ya 300,000/- buli omu nga kuno kuliko200,000/- za ntambula ate okusula ne bakussaako emitwalo
100,000/- okuweza omugatte gwa 300,000/-.

Bano be bagenda okubeera mu lukungaana e Namboole ku Lwomukaaga.

Abakiise bonna baakufuna ssente zeezimu nga bwe kizze kikolebwa emabega nga tebaawuddeemu buli omu gye yavudde n’obuwanvu bw’olugendo.

Bwokubisaamu 300,000/- n’omuwendo gw’abakiise 14,955 zibeera 4,486,500,000.

Ttabamiruka eyasembayo okutuula mu 2015 buli mukiise yaweebwa 500,000/-
NRM esaasaanyizza ssente endala mu kupangisa ekisaawe ky’e Namboole, okuliisa abantu abaneetaba mu ttabamiruka,okupangisa ebyuma, okulanga n’okukubisa ebiwandiiko ebyenjawulo, okugula engoye, n’okusasula abakozi ab’enjawulo.

Omuwendo gwa ssente zennyini ezigenda okusaasaasanyizibwa tezimanyiddwa mu bujjuvu era Rogers Mulindwa, omwogezi wa NRM yagambye nti ebya ssente bajja kubyogerera mu kifo ekituufu kyokka n’agumya abakulembeze bonna mu kibiina nti
enteekateeka zonna zaakoleddwa bulungi.

Bwe yabuuziddwa ssente gye zaavudde ezaategese ttabamiruka yagambye nti ng’ekibiina kirina ssente zaakyo ze kitereka.

Yawadde eky’okulabirako nti mu kulonda ababaka ba Palamenti buli ayagala okwetaba mu kamyufu asasula 2,000,000/-. Oyinza okwesanga ng’abantu munaana be bavuganyizza mu kamyufu ka konsitityuwensi emu ne baba nga bafunye obukadde 16.

Ekkubo ery’okubiri buli mubaka wa Palamenti ali ku tiketi ya NRM aliko omutemwa ogumusalibwako buli mwezi ne gugenda mu ggwanika ly’ekibiina. Waliwo ne ssente eziva mu Gavumenti eziweebwa ebibiina byobufuzi ebirina ababaka mu Palamenti nga
basinziira ku bungi bwababaka bwe balina.

Okugeza bwe zibeera bbiriyoni 10, ekibiina kya NRM kifunako bbiriyoni munaana, kubanga kye kisinga ababaka abangi.

Mulindwa yagambye nti kuno kw’ogatta n’emikwano gya NRM abali mu ggwanga amalala abawaayo ssente buli lwe wabeerawo obwetaavu.

Waliwo ekijjulo kye baasonderako bbiriyoni 16 mu lunaku lumu era tebayinza kubabuusa maaso.

Yagasseeko nti abakiise bonna bajja kwetambuza okutuuka e Kololo awali okwekebejja amannya n’okugenda e Namboole. Kyokka oluvannyuma entambula yaabwe ejja kubaddizibwawo.

Mu kiseera kino amannya g’abakiise gonna gaamaze okutimbibwa ku ofiisi za NRM mu
disitulikiti era abatali ku nkalala zino balabuddwa obutatawaana kugenda Namboole.

BAGENDA KUKYUSA AMATEEKA G’EBYOKULONDA

Kasule Lumumba yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire gye buvuddeko n’ategeeza nti omulamwa gwa ttabamiruka omukulu gwa kukyusa Ssemateeka wa kibiina nga beetegekera okulonda kwa 2021.

Baagala kulaba nga bayisa akawaayiro akakkiriza okulonda kwa kamyufu okubeera
ak’okusimba mu mugongo. Kino bakyesigamya ku buwanguzi obwatuukibwako mu kulonda kwa LC okwalaga nti kusoboka ate nga kutwala ssente ntono.

Lumumba agamba nti kino n’olukiiko lw’ekibiina olufuzi olw’oku ntikko olwa CEC lwamala okukiyisa era ekirindiriddwa kwe kukissiza ddala mu konsitityusoni y’ekibiina.

Ssaabawandiisi w’ekibiina ajja kwogerako eri abakulembeze ababuulire ebituukiddwaAko buli basemba kutuula mu 2015 awamu n’okusoomooza kwe basanga.

Oluvannyuma Pulezidenti Museveni ajja kwogerako eri abakiise abalungamye ku bye
balina okukola naddala okuddamu okuwanguza ekibiina mu kulonda kwa 2021.

Mulindwa yagambye nti ababaka ba Palamenti aba NRM, abamanyiddwa nga bakyewaggula 30 abaawakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti bayitiddwa mu ttabamiruka.

Kyokka baweereddwa akakwakkulizo k’okujjira mu ngoye za langi y’ekibiina eza kyenvu kuba ze za NRM. Awulira ng’ayagala kwambala langi ndala ng’emmyuufu
aweereddwa amagezi obuteetantala kugenda Namboole kuba tajja kukkirizibwa kuyingira.

Lumumba yasooka kutegeeza ng’ababaka bano bwe baali tebayitiddwa mu ttabamiruka, kyokka akulira eby’amateeka mu kibiina Oscar Kihika n’amuwandiikira
ebbaluwa ng’amuwabula nti bateekeddwa okubeerayo kuba bammemba ba NRM abatayinza kusibirwa bweru.

Mulindwa yagambye nti ababaka bano balina okugenda mu kakiiko akakwasisa
empisa akakulirwa omumyuka wa ssentebe asooka, Hajji Moses Kigongo. Kyokka beesanze ng’akakiiko kalina abantu ababulako Pulezidenti b’agenda okulonda mu lukiiko lwa NEC olw’omulundi guno.


Omubaka Robert Migadde (Buvuma) omu ku baawakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti yagambye nti ye ng’omuntu mwetegefu okwetaba mu ttabamiruka kuba tavanga mu NRM.

ABALINA OKWETABA MU TTABAMIRUKA

Ssemateeka wa NRM alina abantu b’alambulula abateekeddwa okwetaba mu ttabamiruka w’ekibiina okuva mu ggwanga lyonna okuli:

Ssentebe w’ekibiina, omumyuka asooka owa Ssentebe (Haji Moses Kigongo), omumyuka ow’okubiri owa ssentebe (Rebecca Kadaga), abamyuka bassentebe ab’ebitundu okuli; Obuvanjuba, Buganda, Obukiika kkono, Obugwanjuba, makumbiKampala ne Karamoja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam