TOP

Omubaka wa Amerika atadde akaka ng’asiibula

By Josephat Sseguya

Added 24th January 2020

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti, abakulembeze abasinga mu nsi yonna bwe balwa mu buyinza, obuyinza butera okukyuka mu bubi.

Malac 703x422

Malac

BYA JOSEPHAT SSEGUYA NE KAKOOZA MUWANGA

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti, abakulembeze abasinga mu nsi yonna bwe balwa mu buyinza, obuyinza butera okukyuka mu bubi.

Kino wabula Ambasada, Deborah R. Malac agamba nti si ky’ayagaliza Uganda wabula ayogera ky’amanyi naddala nti aludde ng’agoberera Uganda ate tagirabangako ng’ekyusizza obukulembeze obw’entebe y’Obwapulezidenti mu mirembe.

Deborah ku Lwokuna eyabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ku Embassy Plaza ekizimbe ekitebe kya Amerika mu Uganda we kikolera egimu ku mirimu gyakyo, yabadde asiibula oluvannyuma lw’okuweza emyaka ena ng’akola omulimu.

Yagasseeko nti, kikulu Bannayuganda okutuula ne bakuba ppulaani ku by’okukyusa obuyinza mu ddembe nga bali wamu. Yategeezezza nti ekya Uganda okubeera ng’esingamu baana bato n’abavubuka, kyongera okussa akazito ku nsi ng’eno kubanga abantu abakulu be basinga obutono ate nga be bali mu buyinza ekitegeeza nti ebisalibwawo bikolebwa bakulu ng’ate abato be bisinga okukwatibwako.

Ku ky’okulonda kwa 2021, Deborah yagambye nti kikulu okubeera okw’amazima
n’obwenkanya. Yagasseeko nti buli muntu k’abeere ali mu Gavumenti oba abagiwabula beetaaga okukuuma emirembe.

Kwe kujjukiza abavuganya Gavumenti, eddembe ly’okweyogerera lye basaba, eddembe ly’okukuhhana n’eddembe eddala lyonna lye basaba okunoonya obulungi
akalulu bwe baba baliweereddwa kyetaagisa okulikozesa obulungi nga tebatabangudde mirembe egiriwo kubanga nabo bagyetaaga.

Yayiseeyise mu Gavumenti ya Amerika n’ebitongole by’Amerika bye biyambye
Uganda mu myaka ena gy’amaze mu ntebe omuli; okusomesa abaana nga babawa
ebyetaago naddala aba Pulayimale.

Yagambye nti batadde ssente nnyingi mu kulwanyisa obuwuka okuli aka Ebola
ne Siriimu, omusujja gw’ensiri, abakyala abazaala n’ebirala.

Yagasseeko nti Amerika ekoze nnyo okukuuma emirembe mu kitundu

ky’Obuvanjuba bwa Afrika ng’eyita mu kuwagira amagye ga Uganda okugenda mu
mawanga agataliimu bukulembeze bulungi nga Somalia ne Central African Republic.

Yayogedde ku by’enkulaakulana Amerika by’eyambye Uganda omuli okusomesa
ku by’okusima amafuta, okuzimba payipu egenda okugatwala e Tanzania okugalongosa n’ebintu ebirala ne yeeyama okugenda mu maaso nga kino kikolebwa.

Kyokka yalabudde ku nguzi ng’agamba nti abantu okukulaakulana kikulu okukwata ku babba ssente za Gavumenti kubanga bakonzibya ebyenfuna by’eggwanga ne kikosa abantu.

Wabula omumyuka w’omwogezi wa Gavumenti ya Uganda Col. Shaban Bantaliza yasambazze endowooza za Malac n’agamba nti asaanidde alekere Bannayuganda eddembe okwekolera ku nsonga zaabwe nga bwe baagala.

Yawadde eky’okulabirako nti oluvannyuma lw’okuggyibwako kwa Idi Amin Dada mu buyinza mu 1979, waaliwo okukyusa ba Pulezidenti bana okwali Polof. Yusuf Lule, Godfrey Binaisa, Paul Muwonga n’okuyingirawo kwa Dr. Milton Obote kyokka nga tekwalimu bya kuyiwa musaayi. “Kino kitegeeza nti Bapulezidenti basobola okukyusa nga tewali lutalo mu Uganda.’’ Bwe yagambye n’agattako nti Malac by’ayogera tebiriimu nnyo ggumba.


Ku bigambibwa nti abali mu Gavumenti akulu ng’ate ba lubatu nga bano be basalirawo abato abasinga obungi mu ggwanga (abaana n’abavubuka), Bantaliza yasoomoozezza Malac annyonnyole oba mu Amerika teri bavubuka. ‘’Trump (akulembera Amerika) muvubuka?.

Ndaba naye mukadde. Ye tasalirawo bavubuka?’’ Bwe yabuuzizza. Ng’akozesa olugero lw’Ekiganda olugamba nti ‘’eriiso ly’omukulu’’, Bantaliza yagambye nti mu Afrika kyabulijjo abakulu okusalirawo abavubuka n’agamba nti ne mu maka taata asigala asalirawo abaana ne bw’aba akuze.

Yasabye Abazungu okuleka Uganda yeesalirewo nga bw’eyagala. N’agamba nti
eby’okusomesa demokulase bye bayimbirira ebimu tebikola kuba amawanga nga Libya gye bagezezzaako okumutwa tegalina kye gafunyeemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu