TOP

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika

By Josephat Sseguya

Added 24th January 2020

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika

Bab12 703x422

Ssebulime ne Babirye ku mbaga yaabwe.

KKooti olwatadde omubaka Paul Musoke Ssebulime ng’emwawukanya n’omuyimbi era mubaka munne Judith Babirye n’atandikirawo okutegeka emikolo gy’okwanjulwa mukyala we omukulu Lukia Nantale gwe yali asuddewo ng’abuuse n’omugole Babirye.

Omu ku bali ku lusegere lwa Lukia yategeezezza nga enteekateeka z’omukolo bwe ziri mu ggiya nga gusuubirwa okubaawo mu bbanga eritali lyewala mu maka g’abazadde ba Lukia e Makindye.

Abantu oluwulidde bino ne bagamba nti kirabika kye kibadde kipapya Ssebulime okusaba kkooti ebaawukanye ne Babirye ate abalala ne basigala nga beebuuza nnabe eyagwa mu bassereebu ne batawangaaza bufumbo n’abamu ababulimu okuba nga buyuugayuuga.

Bino biddiridde Musoke okutegeeza kkooti nga bwe baamala ennaku 60 zokka mu bufumbo ne baawukana mu September wa 2018 nga kirabika kye yavudde yeegaana n’omwana Babirye gwe yazaala.

 Kenzo ne Rema

Oba kiki ekyabatabula? Nze naawe. Bano si be bassereebu abasoose obufumbo bwabwe okugwamu nnabe. Bangi tebalina ababikka era wano we weebuuliza nti lwaki obufumbo bwa bassereebu tebuwangaalaBabirye ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Buikwe.

Yagattibwa ne Ssebulime owa Buikwe North ku mukolo kwe yamwanjulira nga July 27, 2018. Babirye yasooka kufumbirwa Samuel Niiwo ne baawukana mu 2009 ne baawulwa kkooti mu 2018.

Kyokka ky’olina okumanya nti Babirye si ye ssereebu asoose okuva mu bufumbo waliwo n’abalala bangi be weesiimisa kyokka nga batudde ku nkato nga n’abamu obufumbo bwabwe bumala nnaku bunaku ne baawukana.

Leero tukalaze abamu ku bassereebu abazze baawuukana n’abali mu bufumbo obuyuugayuuga.

 Simon Kalema ne Julie Underwood: Kalema nga tannava mu Ebonies, yawasa Julie Unerwood ku mbaga eyali e Las Vegas mu Amerika. Baakikuba ng’enjogera y’ennaku zino bweri naye obufumbo bwayuuga baakadda mu Uganda kati Julie afumba wa Farouk Ssempala.

 Dr. Nnaalongo Specioza Naigaga Wandera Kazibwe: Yaliko omumyuka wa Pulezidenti okuva 1994 okutuuka 2003.

Mu April wa 2002, Specioza yagenda mu kkooti ebagattulule ne bba, Ying. Charles Kazibwe ng’amulanga okumukuba wadde nga ye yali omumyuka wa Pulezidenti era omukazi eyali asoose mu Uganda ne mu Afrika ng’alinamu ekifo. Kazibwe yagaana eby’okumugattulula kubanga Obukatoliki tebukikkiriza n’awa n’ensonga emukubya ey’okukomangawo ekiro awaka.

Specioza yanoba kyokka bba yafa mu 2013.

 REBECCA JINGO NE JOEL ISABIRYE

Obufumbo bwabano bwasasikira mu nnaku 270 zokka. Isabirye yayanjulwa omuyimbi RebeccaJjingo mu April wa 2013 e Buddo mu mukwano omungi. Bino okubaawo ng’omukyala Ritah Kaggwa akolima ng’agamba nti Rebecca amusigulidde omusajja. Kyokka Jingo yakola kyonna ekisoboka okulaba ng’awangula.

Nga December 5, 2013 baagattibwa ku Lutikko e Namirembe wabula omwawule yagaana okubagatta ng’agamba nti Isabirye yali mugatte ne mukyala we eyasooka, Grace Naisamula.

Wabula gye byaggweera nga batabuse ne baawukana mu October 2014 wakati mu kwerangira nga buli omu alumiriza munne okuba omukyamu. Wadde Rebecca alabikanga eby’abasajja eyabyesonyiwa anti n’okutuusa kati talina mulala gwe yali alaze mu butongole, ye Isabirye buli olukya ayongera kumenya likodi olw’abakazi baabadde nabo nga bwe baawukana nga n’abamu abawasa mu butongole.

Ku lukalala kuliko: Grace Naisamula, Ritah Kaggwa, Rebecca Jingo, Latifah Ssenyondwa, Lilian Mukasa, Lianne Nakaweesi, Nulu Nabikolo gwe yapasula ku DJ Nimrod Nabeeta era naye omwaka oguwedde baayawukana.

 ingo ngasala ddansi lwe yayanjula oel isabirye Jingo ng’asala ddansi lwe yayanjula Joel isabirye.

  LEILA KAYONDO NE SK MBUGA

Enkolagana y’abaagalana bano yasooka kuba ya muyimbi na maneja Leila bwe yasaba Omugagga SK Mbuga (mulamu we) amuteekemu ssente kyokka gye byaggweera nga bali mu laavu eyatuuka n’okukaabya mukulu we Fatuma Zalwango ow’e Sseguku amaziga mu March, 2014 ng’amulumiriza Leila okumusigulira omusajja.

Nga bwe bagamba nti ebibbe tebyala, wakati mu laavu eyali etinta nga Leila bamukolera buli kimu, baatandika okufuna obutakkaanya era mu 2016 Mbuga yakuba Leila ng’amulanga okubaliga n’ensonga endala.

Leila yamutwala ku poliisi e Kabalagala ne mu kkooti wabula oluvannyuma yamusonyiwa n’asaba ensonga bazimalire awaka. Mu kiseera kino Jalia Birungi yali amaze okuyingirawo era ekyaddirira Mbuga kugoba Leila n’awasa Jalia.Juliana Kanyomozi ne Kassim Ouma ne Amon Lukwago Juliana mukazi muzibu olw’obusirise bwe era kizibu okumanya ekimubeera ku mutima.

Yakyawagana ne bba Amon Lukwago n’asirika. Olugambo ne lujja mu 2007 nti ayagala Ouma eyali akuba ebikonde e California mu Amerika okukkakkana nga Juliana bamuwooye n’afuuka Jalia. Mu myezi bwezi baali bamaze okwawukana.

 Rema Namakula ne Eddy Kenzo Bano be bamu ku bakyasembyeyo era ebyabwe byabadde mu lwatu nga Rema agamba nti Kenzo yamusuulawo ne yeefunira Dr. Hamza Sebunya gwe yayanjula mu bakadde. Buli lunaku amuwaana okumuwonya ba laavu nniga n’okumuwonya situleesi ya laavu.

 Omusumba Aloysious Bugingo ne Naluswa Bano bamaze emyaka 29 mu bufumbo. Gye buvuddeko sitaani yayingira mu maka gaabwe okukkakkana nga baawukanye era Bugingo n’ayingizaawo Susan Makula gwakozesa ku leediyo ye. Ekyewuunyisa ku bano nti bantu ba Katonda ng’abantu babasuubiramu okuba ekyokulabirako eri abagoberezi baabwe kye bataakola.

 Chris Evans ne Jamira Kalungi Mu March wa 2014, omugagga yapasula mukazi wa Chris Evans, Jamira Kalungi n’amwanjula mu December wa 2016 ne bakola embaga mu January 2017. Musajjawattu yasigala yeekubagiza era tannaba kulaga mukyala mulala gwe yazzaawo.

 Omulangira Peter Ndausi ne Faridah Ndausi Ndausi owa leediyo Simba yasuulawo mukyala we ow’empeta Faridah Ndausi n’abuuka ne Sharon. Faridah na buli kati akyanoonya musajja wabula buli amufunza ng’asazeewo amuwase ate Faridah abigaana ng’agamba nti akyasooka kukola ssente eby’obufumbo ajja kubiddira.

Faridah yategeezezza Bukedde nti obudde bwonna agenda kuvaku mudaala ekimu ku bizibu ebibadde bimusibye kwekufumbirwa Ndausi nga wa myaka mito n’alaba ebizibu ebyandibadde eby’omuntu omukulu nga bukyaliDon Zella ne Big Eye Don Zella yamala ebbanga ng’afumba mu malya abiri ew’Omumerika ate wano ng’alinawo Big Eye.

Wabula mu 2016 bano baayawukana nga ba bigwo mu 2016 oluvannyuma lw’ebbanga nga bagugulana. Wakati mu kusoberwa Big Eye (Ibrahim Mayanja) yadduka mu maka ga Don Zella ng’amulumiriza okumuyisaamu amaason’okwagala okumulemesa okukola ng’amufugirizaMu mbeera ey’okumubonereza, Don Zella yakwata omwana wa Big Eye gwe yamuzaalamu n’amugabira bba Omumerika gw’alinamu abaana babiri abakulu.

Big Eye naye kati yafunayo nkuba kyeyo w’e Bungereza Susan Nantongo amanyiddwa nga Debbie LavisIryn Namubiru Yanoba ewa bba, Omufalansa Frank Morel gwe yaleka mu kibuga Paris e Bufalansa n’abaana baabwe babiri mu October wa 2012 ng’agamba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...