TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Musajja wa Trump akoze olutalo mu lukiiko olumugoba

Musajja wa Trump akoze olutalo mu lukiiko olumugoba

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2020

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba ababaka nga bateesa okugoba Pulezidenti Donald Trump , n’atandika okuleekaAnira waggulu ng’alaalika okubatta ssinga bageza ne bamugoba.

Jake1 703x422

Omusajja eyalumbye ababaka nga bamufulumya ebweru.

WASHINGTON

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe
yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba ababaka nga bateesa okugoba Pulezidenti
Donald Trump , n’atandika okuleekaAnira waggulu ng’alaalika okubatta ssinga
bageza ne bamugoba.

Ababaka baabadde wakati mu lutuula olw’ebyafaayo ng’abooludda oluvuganya
ab’ekibiina ky’aba Democrats bali mu kusengeka ensonga zaabwe kwe baagala
Palamenti esinziire okugoba Trump, wabula ababaka baalabidde awo nga zireese essajja litadde essaati, ekifuba kyalyo ekigazi ng’engabo, kiri bweru ne litandika okubaleekaanira.

Abaserikale abakuuma ku kizimbe kya Palamenti ekimanyiddwa nga Capito Hill
baasanze akaseera akazibu okuvumbagaira omusajja ono eyategeerekese nga Rives
Grogan agambibwa okubeera omuwagizi nfanfe owa Pulezidenti Trump era ali mu
kabinja ka bannalukalala akamanyiddwa nga KKK akalina obukyayi ku baddugavu.

Omusajja ono we yalumbidde Palamenti yasanze Omubaka Hakeem Sekou
Jeffries ng’omu ku babaka bakaddugala abali mu Palament ali mu kufalasira ababaka
lwaki bateekwa okuggya Trump ku bwa pulezidenti wa Amerika.

Wakati mu kasiriikiro ng’ababaka beegese Jeffries amatu, omusajja Grogan
n’atandika okuleekaakira waggulu n’avuma Jeffries eggambo eritayisika mu kamwa
gattako n’okwogerera amafuukule ababaka ab’ekibiina ky’aba Democrats ng’eno
bw’alaalika okufa n’omuntu yenna ssinga Palamenti egoba Trump ku bwa Pulezidenti.

Ssaabalamuzi wa Amerika, John Roberts nga y’atudde mu ntebe ey’Obwasipiika
okukola ng’omulamuzi mu kuwozesa Trump, yawaliriziddwa okukuba emmeeza anti
ng’oluyoogaano lususse era oluvannyuma lw’eddakiika nga 10 embeera yazze mu
nteeko, omusajja bwe yafulu- miziddwa, abaserikale nga talinnya.

Olutuula lwazzeemu okutojjera aba Democrats ne boogera okuyiwa bwiino
ku Trump nga bagamba nti alina okugobwa mu ntebe y’obwapulezidenti okusobola
okutaasa Amerika.

Olutuula luno olw’ebyafaayo lwatandise ku Lwokubiri lwa wiiki eno wakati mu bunkenke obw’amaanyi wakati w’abeekibiina eky’aba Democrats abafunze ekyonga okugoba Trump kyokka ng’abeekibiina kya Republican nga be basinga obungi mu Senate basimbye nnakakongo, bagamba Trump talina gy’alaga.

Trump eyaddayo ku butaka okuva mu kulungaana lw’embeera y’obudde e Davos mu Switzerland yatuukidde mu kugugumbula ababaka aba Democrats era yabaweereza obubaka ku mukutu ogwa Twitter ng’abagamba nti essaawa yonna agenda mu Palamenti atuule ku muggukiro abatunuulire nga bazannya katemba.

Trump bamuvunaana emisango ebiri; Ogw’okukozesa obubi ofiisi ey’obwapulezidenti
n’ogwokuyisa okugaayu mu palamenti era emisango gyombi gyamukka mu vvi mu Palamenti esooka eyitibwa House of Representatives nga kati omukisa ogusembayo
agulina mu Palamenti enkulu eyitibwa Senate.

Palamenti eya Senate erimu ababaka 100 ng’ekibiina kya Trump ekya Republicans kirinako ababaka 53, eky’aba Democrats kirinako 45, ate ababaka 2 tebalina kibiina.
kisuubirwa nti Trump emisango agenda kugiyitako kyokka gisuubirwa okumuleka
nga gimunuubudde ne kikendeeza ku mikisa gye egy’okuwangula ekisanja ekyokubiri mu kulonda kwa November 2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu