TOP

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2020

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira oluvannyuma lw’abatemu okuddamu okumusuulira ekibaluwa bimulaalika okumutta ssaako okubawa ssente obukadde 30 ng’aziyisa ku nnamba y’essimu 0779731242.

Nakayenze 703x422

Nakayenze

Bya FAISAL KIZZA
 
OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira oluvannyuma lw’abatemu okuddamu okumusuulira ekibaluwa bimulaalika okumutta ssaako okubawa ssente obukadde 30 ng’aziyisa ku nnamba y’essimu 0779731242.
 
Essimu eno eri mu mannya ga Musamali Fred era baamulabudde obutageezaako kutegeeza poliisi nga singa akikola bagenda kusookera ku kwokya nnyumba ye oluvannyuma bamutemeko omutwe.
 
Ebibaluwa bino baasooka okubimusuulira nga September 8, 2019 nga bino byali bisaba obukadde 400 Nakayenze ensonga n’azitwala ku poliisi era n’aggulawo omusango ku fayiro CRB: 15/97/ 2019.
 
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon John Robert Tukei yagambye nti baamuwa
abaserikale babiri abakuuma awaka ku biragiro bya DPC, kyokka abalina okutambula
naye balina kuva mu Counter Terrorism e Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League