TOP

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2020

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu n’agamba nti, kino kyavudde ku kugaana kuganza mukama we.

Salma 703x422

Saluma (azingiridde omutwe ne Kisekka (ku ddyo) ate mu katono bw’afaanana.

Bya PATRICK KIBIRANGO ne LAWRENCE MUKASA

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu n’agamba nti, kino kyavudde ku kugaana kuganza mukama we.

Omukazi eyategeerekeseeko erya Saluma lyokka yatandika okukola ne mukama we Musa Kisekka mu December wa 2019 bwe yamukwasa obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya ekirabo ky’emmere ekisangibwa e Namungoona ku zooni ya Luyinja. Kisekka agamba nti yagenze okulaba nga takyalina ssente z’afunamu nga bwe baali bakkiriziganyizza ne Saluma kwe kusalawo okumugoba ku mulimu.

Saluma yagambye tayinza kumuwummuza ku mulimu n’agenda ngalo nsa kubanga naye aliko ssente ze yayongeramu kye yavudde asiba ebimu ku bintu ebibadde bikozesebwa mu kirabo ky’emmere okwabadde omufaliso, amaseffuliya, amasowaani, essigiri, ebidomola n’ebintu ebirala n’abitwala gye yapangisizza.

Eno Kiseka gye yamulumbye okubanja ebintu bino n’ekyaddiridde kwe kwasanguza
ebyama byabwe Saluma ’amulangira nti, yamugobye lwakwagala kumufuula mukyala we nnamba bbiri bwe yagaanyi ensonyi n’azifuula obusungu.

Saluma yannyonnyodde nti Kiseka yamuperereza n’amugaana kubanga ekisooka amulaba nga kitaawe kubanga yasoma ne mutabani wa Kisekka mu ssomero lya Namungoona High era nga yali yamuganza nga yali tayinza kugatta mwana ne
kitaawe ng’alaba kino kivve.

“Byonna nabinnyonnyola Kisekka n’alemerako nti, ekyo si kikulu okutuusa bwe yalabye nga sigenda kukyusa we nsibidde kwe kusalawo angobe”,
Saluma bwe yategeezezza abantu abaabaddewo. Kisekka musajja mufumbo era amaka ge gali Namungoona .

Kiseka yakkirizza nti ddala kituufu abadde akwana Saluma era baagendako n’okwekebeza musaayi kyokka bwe baatuuka eyo Saluma n’amugamba nti, okwekebeza omusaayi amala budde kubanga alina omusajja gwe yalina ng’alina akawuka era ye Kisekka kwesika n’amwesonyiwa.

Saluma yamuzzeemu n’amugamba nti, mulamu nnyo ekyo yakikola kumalamu Kisekka maanyi asobole okumwesonyiwa kubanga yali amulemeddeko nnyo ate
ng’awulira abantu bagamba nti, aganzaganza obuwala obuto ku kyalo okwo. Ssaalongo Lutaaya ayafunira Saluma ennyumba ewa Kisekka agamba nti abadde
akiwulira nti baafuuka dda mwami na mukyala.

Naye ekimuggye enviiri ku mutwe okulaba nga Kisekka aggya ku Saluma emifaliso emikadde, ebikopo n’obuseppiki bye yamugulira mu mukwano.

Bino gye byaggweeredde nga Kisekka asinzizza Salumaamaanyi n’amutwalako ebintu byonna bye yabadde atutte mu kazigo ke akapya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...