TOP

Minisita Kasolo awabudde abavubuka ku mivuyo

By Vivien Nakitende

Added 24th January 2020

Minisita omubeezi owa Micro Finance mu ggwanga, Haruna Kyeyune Kasolo, era omubaka wa Palamenti owa Kyotera, akuutidde abavubuka okwewala emivuyo bwe baba baagala okugenda mu maaso n’okweyagalira mu nsi yaabwe. Bino yabogeredde Gayaza ku musanvu ku mukolo gwa SACCO y’abookya embuzi eya Kiteetikka Mbuzi Market Cooperative SACCO, kwe baabadde bagabira bannaabwe ettaka ne ppikippiki okwekulaakulanya era ye yabadde omugenyi omukulu.

Sacco2jpgweb 703x422

Minisita Haruna Kasolo ng'awaayo ssente eri aba SACCO y'abookya embuzi e Gayaza.

 

Minisita omubeezi owa Micro Finance mu ggwanga, Haruna Kyeyune Kasolo, era omubaka wa Palamenti owa Kyotera, akuutidde abavubuka  okwewala emivuyo bwe baba baagala okugenda mu maaso n’okweyagalira mu nsi yaabwe.

Bino yabogeredde Gayaza ku musanvu ku mukolo gwa SACCO y’abookya embuzi eya Kiteetikka Mbuzi Market Cooperative SACCO, kwe baabadde bagabira bannaabwe ettaka ne ppikippiki okwekulaakulanya era ye yabadde omugenyi omukulu.

 inisita aruna yeyune asolo wookubiri ku ddyo ku mukolo gwokugaba ppikippiki eri  yabookya embuzi e ayaza Minisita Haruna Kyeyune Kasolo (Owookubiri ku ddyo) ku mukolo gw'okugaba ppikippiki eri SACCO y'abookya embuzi e Gayaza.

 

Yabawadde obukadde 10 bongere mu SACCO yaabwe beekulaakulanye.

Yagambye nti, omwaka guno gavumenti yateekawo ssente nnyingi ez’okugabira ebibiina 17 mu buli disitulikiti ya Uganda ebyetegese obulungi bongere okwekulaakulanya, nti kale basaanye beewale emivuyo ng’okwekalakaasa, n’emivuyo gy’ebyobufuzi emirala bwe baba baagala okugenda mu maaso.

Ku mukolo guno abavubuka basatu okuli, Sharif Kiyimba, Edward Kigozi ne Cryspus Ahimbisibwe baawangudde ppikippiki ate Josua Ibanda ne Frank Jacob Odongo ne bawangula poloti eza ffuuti 50 ku 100, oluvannyuma lw’okukwata obululu.

Frank Jacob Odongo, ssentebe wa SACCO eno alojjedde minisita ebizibu bye bayitamu omuli; obutaba na kifo kigazi era bakolera mu kkubo, entambuza y'embuzi okuva mu bitundu by'ewala ne ssente entono mu SACCO, ate nga ba memba bangi beetaaga ssente okwewola beekulaakulanye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.