TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

By Moses Lemisa

Added 24th January 2020

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Ku1 703x422

Ebiku nga bifuuyirwa

ABATUUZE   b’oku Kaleerwe balaajanidde  gavumenti  ku biku n'ebiyenje ebibasuza nga batunula.

Bategeezezza nti kyenkana buli nju  mu muluka gwa Makerere III e kawempe erimu ebiyenje n’ebiku bye bagamba nti bakoze buli kimu okubifuyiira naye eddagala lye bakozesa  kirabika terisobola kubitta ne basaba gavumenti okubadduukirira nga bwe yakola ku butimba bw’ensiri .

Muhamad Nsubuga  ategeezezza nti ebiku n’ebiyenje bibaviriddeko abatuuze  okufuna endwadde z’olususu olw’okulumwa ebiku ng’ate ebiyenje bitambulira mu by’okulya ekyongedde obucafu n’ekibavirako okulumwa embuto

Nsubuga agambye nti embeera eno yamuwalirizza  okugulira abatuuze eddagala ly’ebiku n’ebiyenje n'abifuyiira , agasseeko nti obuzibu buvudde mu myala egitagogolwa mu budde , omugotteko, kasasiro n’obunnyogovu obuli mu kitundu nga bye bivuddeko ebiku n’ebiyenje okwegirisa .  

Baafuyiidde nju ku nju okwabadde ne poliisi y’oku kaleerwe ng’eno ebiku n’ebiyenje byabadde bingi , wakati mu kufuyiira waliwo omusawo w’ekinnansi eyabaatukiridde n’abasaba bamufuyiirireko mu ssabo lye ng’agamba nti yadde bajjajja te balumwa biku naye abalwadde bibayisa bubi .

Isma Nsanja omumyuka wa ssentebe mu ssebina zooni yagambye nti bazze bafuna okwemulugunya okuva mu batuuze ng’ebiku bw’ebifuuse ekizibu   okuli abaana  okulwala ne bajjanjabwa nga tebawoona ekiviirako abasajja okwekyawa nga bagamba bakooye okutoola ssente  ku bulwadde obutawoona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...