TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

By Ruth Nazziwa

Added 24th January 2020

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Bod1 703x422

Aba Boda boda nga babasomesa

Mu kawefube wokulwanyisa omuze gw’okukozesa ebiragalalagala mu bavubuka ba boda boda abakungu okuva mu kitongole ekirwanyisa ebiragalalagala ekya Fight Drug  basomesezza ababodaboda ku siteegi y’e Namugongo Jjanda ku bulabe obuli mu kukozesa ebiragalalagala n'engeri gye bayinza okubyewala.

Okusobola okunoganya ensonga eno, babagabidde n'obukooti obuliko obubaka emabega obusomesa abantu obulabe bw'okukozesa ebiragalalagala.

Josephine Nakibuuka Afaayo okuva mu kitongole kya Fight Drug Abuse agamba nti ebiragalalaga bisinga mu bavubuka naddala baddereeva b'ebidduka nga n'ababoodabooda mwobatwalide.

Kino bakikoze n’ekigendererwa kyokulaba ng’abadoodabooda baweereza obubaka buno yonna gye balaga n'abantu abalala bebavuga ne bebatavuga nga basomye ku bubaka obuli ku bukooti buno.

Ayongerako nti kino kijja kuyambako okukendeeza ku bubenje obubeera ku nguudo okubaawo olw'okukozesa ebiragalalagala era nga kyekiseera ababoodabooda okukwate omumuli guno kitusobozese okumalawo obubenje obuva ku kukozesa ebiralagalalagala

Nakibuuka agamba nti abavubuka basinga kunuusa amafuta,enjaga,ebiragalalagala eby’obuwunga obweru,kyutekisi, super glue, amayirungi, sigala , omwenge n’ebirala bingi ebibaviirako okukubwa ekyongera ekibaviirako okusiwuuka empisa ku ngudo ekiviirideko omuwendo gw'abafuna obubenje okweyongera

 Medi Kikabi akulira siteegi ya Jjanda ategezezza nti abamu bwe banywa omwenge ,sigala,enjaga , waragi owobuveera n’ebirala, bwe bibakuba tebakola , avuga nga bwayagala kubanga tali yekka ng’ebiragalalagala bimukute ku mutwe ekiyinza okuvaako akabengye era n'asaba abantu bonna bekikwatako okuvaayo bataase abantu ku biragalalagala kubanga banaffe bangi abagude eddalu olw'ensonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira