TOP

Abasajja bannemye okulondako

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2020

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri. Omukyala omukulu yamutongoza ate omuto akyali mu muzigo era wa kyama naye amulinamu abaana babiri lwakuba embeera ze talabika bulungi. Kati ate ono ssenga alina abakyala alina ssente eziwerako. Nkoze ntya njagala ssente n’obufumbo.

Pata 703x422

MWANA wange ssente bakola nkole. Kati oyo alina ssente manya nti asobola okufuuka omwavu ate atalina n’agaggawala.

Omusajja ono alina ssente newankubadde olabika kw’osibidde naye alina abakyala babiri.

Omukyala owookubiri wa kyama kitegeeza nti naawe ojja kufuuka waakyama. Ogambye talabika bulungi ate ng’omusajja alina ssente, lwaki alabika bwatyo?. Tamanyi kwefaako oba omusajja tamulabirira bulungi?.

Amuzaddemu abaana babiri naye tamutongozanga, lwaki olowooza nti waakyama? Ebyo byonna byebuuze nga tonnasalawo. Ekirala abasajja bano omaze nabo bbanga ki?

Kubanga oluusi abawala beerimba nti ddala bali mu mukwano naye nga bwagazi bwe bubakozesa.

N’ekirala obumalirivu obumanyira ku ki? Basajja bangi aboogera ebigambo naye nga tebabitegeeza, era bangi bakola ebintu ffe abakyala bye tulowooza nti mukwano naye nga balina kye baagala era bwamala okukifuna ng’akulekawo.

Weetegereze abasajja bombi okumala ekiseera naye ow’abakyala ababiri aliko akabuuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...