TOP

Amasomero agatannafuna bigezo bya PLE gasattira

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2020

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde olw’abayizi bano okusubwa okufuna ebifo mu S1 mu kusunsula kw’abayizi okwakomekkerezeddwa eggulo.

Gurad 703x422

Abakulira ebyenjigiriza mu disitulikiti ez’enjawulo n’abalambuzi b’amasomero bazze bavaayo okutuusa eddoboozi ly’abazadde n’abayizi nga bagamba nti mu bitundu ebimu waliyo abakulu b’amasomero abataasasula ssente zonna UNEB z’esaba okuwandiisa abayizi, olwo UNEB n’esigaza ebigezo byabwe.

Ebibuuzo by’abayizi abalala 1,512 UNEB yabikwata nga bw’ebuuliriza ku bubbi bw’ebigezo nga ng’ebimu tebinnateebwa.

Akulira ebyenjigiriza e Mpigi Deogratius Sekyole yategeezezza Bukedde nti mu kitundu ky’atwala amasomero gaafuna ebyavudde mu bigezo by’abayizi awatali buzibu mpozzi mu ssomero limu erya Uganda Martyrs’ Nkozi, UNEB yabadde ekyabikutte nga bw’ebuuliriza.

Amasomero ataano (5) go UNEB erabika yagaggyako ku nkola y’okufunira ebigezo ku ssimu, abazadde ne batafuna bubonero bw’abaana kubanga amasomero gaabwe gaali tegannamalayo ssente za UNEB.

Wiiki ewedde nga bafulumya ebivudde mu bigezo, kyategeezebwa ng’ebibuuzo by’abayizi 1,512 bwe byali bakwatiddwa. Ssentebe wa UNEB Polof.

Mary Okwakol yategeeza minisita w’ebyenjigiriza nti omwaka oguwedde tewaali nnyo kukoppa ng’okwogera kino yasinziira ku kuba nti omuwendo gw’ebibuuzo ebyakwatibwa gwali gusse okuva ku 3,000 n’omusobyo ebyakwatibwa eby’omwaka 2018.

Kyokka yategeeza nti, mu masomero agamu waaliyo abasomesa abaagendanga mu bifo we bakolera ebigezo balagirire abayizi.

Okwakol yannyonnyola nti mu ssomero erimu e Mpigi waliwo omusikawutu wa UNEB eyategeeza nga bwe waliwo essomero eryali limuwadde 5,000/- abaleke balagirire abayizi era yazituusa mu UNEB ng’ekizibiti.

Akulira ebyenjigiriza e Wakiso Fredrick Kiyingi yategeezezza omusasi wa New Vision nti tayinza kutuula kusirika ng’abazadde bakaaba n’alabula abakulira amasomero abatamalaayo ssente za UNEB nti buno bubeera bubbi kubanga abazadde babeera bazisasudde.

Waliwo amasomero amalala nga Uganda Martyrs Primary school Mpigi nayo abazadde baabadde bakyasobeddwa ng’essomero terinnaba kuggyayo bigezo by’abayizi ku UNEB.

Ate ku Ssese Bugolo Orthodox Primary School- Nyenga e Njeru mu Buikwe nayo abayizi n’abazadde abamu beeraliikirivu kubanga mu November abayizi omwaka oguwedde waaliyo abayizi be baakwata nga bagamba nti baali babapangisizza okutuulira abalala ebigezo.

Omulambuzi w’amasomero mu disitulikiti y’e Bushenyi Williams Ahabwe naye yategeezezza Bukedde nti mu disitulikiti ye waliyo amasomero agatannaba kufuna byava mu bigezo. Gano kuliko; Kyamuhunga Central Primary School abaatuuza abayizi 85, Kiboona Primary School abayizi 25 ne Bujanga Primary School, abayizi 5.

Ahabwe yagambye nti bakola ekisoboka okulaba nga bazuula ekituufu era nti batuuse ne mu UNEB ne babategeeza nti banoonyereza okuzuula oba amasomero gano geenyigira mu kukoppa.

Akulira UNEB Dan Odong yategeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizza nti buli ssomero eritannaba kufuna byava mu bigezo baalitegeezezza ensonga lwaki. Yagambye nti abo abateeberezebwa okukoppa, abakulira amasomero n’abayizi bagenda kubayita basisinkane ‘UNEB ku nnaku ez’enjawulo bannyonnyole.

Be banaazuula nga tebalina buzibu ebigezo bagenda kubibawa kyokka be banaazuula nga baakoppa byakusazibwamu nga beesigama ku nnyingo 4(3) UNEB Act Cap. 137. Era UNEB yalabudde abazadde n’abakulu b’amasomero ku bafere ababasaba ssente nti bagenda kubayambako okuggyayo ebigezo byabwe nti yenna gwe balaba bategeeze poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....