TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira muziki gwokka’

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira muziki gwokka’

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2020

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule. Kyokka bw’omubuuza ku by’obufumbo ng’asirikamu.

Busy1 703x422

Annet Nakate , David Lutalo, Kayibanda ne Ssuuna Ben. Beesunga kugenda ku Hotel Africana.

Ekiddako kukutegeeza ng’ebya laavu bwe yabivaako nga kati yasigala kukuba muziki n’okusanyusa abantu era ku Lwokutaano nga January 31, 2020 agenda kubeera ku Hotel Africana ng’abakubira omuziki.

Wadde Lutalo alina abaana mu Sharon Walukagga, ebibye n’omukyala ono byafuuka bikadde nga kati amaanyi yagazza ku kunoonya ssente n’okuwa abantui essanyu.

Essaawa eno y’omu ku abayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba.

ATEGESE EBBINU LY’ENDONGO

Ku Lwokutano nga January 31, 2020 ategese ekivvulu ekiggulawo omwaka kye yatuumye ‘‘David Lutalo Live in Tugende Concert’’ ku Hotel Africana mu Kampala.

Agamba nti akikoze okusanyukira awamu n’abawagizi be okubakulisa omwaka omukadde n’okubaagaliza omupya 2020 omulungi n’okubasiima olw’obuwagizi bwe bamuwadde ebbanga lyonna.

Eggulo ku Lwokutaano yakyaddeko ku kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde abatadde ssente mu kivvulu kino gye yasisinkanidde abakozi ab’enjawulo omwabadde ne Robert Kabushenga agikulira n’abeebaza olw’obuwagizi bwe bamuwa naddala mu kutumbula myuziki we n’okumanyisa abantu ebimukwatako nga bayita ku mikutu gya Bukedde ffamire egy’enjawulo.

AYOGEDDE KU BYA CHOZEN BECKY

Bwe yabuuziddwa ekyamwawukannyizza n’omuyimbi Chozen Becky gw’abadde akolagana naye omwaka oguwedde, yazzeemu nti endagaano yaabwe yali ya kumuyambako kaseera buseera nga bwe yeetereeza n’okufuna abantu abalala baasobola okukola nabo.

Okuyingira ku Hotel Africana osasula 20,000/-, 50, 000/- ate 3,000,000/- emmeeza. Ku Lwomukaaga ali ku Colline Hotel e Mukono ate ku Ssande Luweero mu kisaawe ng’eno bwe yeetegekera olunaku lw’abaagalana ku Freedom City nga February 14, 2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza