TOP

'Twagala Mityana eyegombesa'

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2020

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki n’akyusa ekifo ky’okwesimbako n’adda ku kya ssentebe wa disitulikiti y'e Mityana.

Patu 703x422

Patrick Mugisha, ng'ayogerako eri abantu b'eggombolola y'e Kalangaalo - Mityanaalangaalo

Bya Hazaima Kaweesa

Mugisha agamba nti ekimuwalirizza okujja ku kifo kino bwe bukulembeze obuli mu kitundu kino obutamatiza bulungi bantu ate nga bassibwamu abantu obwesige okukolera ekitundu.

Agamba nti edda eby’enjigiriza mu Mityana byali waggulu nnyo ng'abaana bayitira waggulu naye kati baddiridde nnyo era nga kiyinza okuba ng'obuzibu buva ku bakulembeze obutalondoola bulungi byanjigiriza.

Ayongeddeko nti  n’enguudo zennyini si za mulembe ate nga abakulembeze abaalondebwa baali baasuubizza ensonga zino zonna okuzikolako.

‘’Bwe nnaalondebwa mu bukulembeze nja kufuba okulaba nga Mityana mmufuula eyeegombesa buli omu era nteme n’emiwaatwa gyonna ekitundu kyaffe kikule,’’ Mugisha bwe yayongeddeko.

Mugisha yavuganyaako mu kalulu ka 2011 ne 2016 nga yeesimbye ku  Kiwanda Godfrey  kyokka n’awangulwa naye ku mulundi guno agamba nti Bannamityana bamusabye ajje ku bwassentebe bwa disitulikiti.

 atrick ugisha alamuza kya ssentebe wa ityana Patrick Mugisha alamuza kya ssentebe wa Mityana

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans