TOP

Bobi Wine akoze pulaani endala

By Musasi wa Bukedde

Added 26th January 2020

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani empya gye yayogeddeko ng’egenda okuyamba ekisinde kya People Power mu kukunga abantu nga beetegekera akalulu ka 2021.

Plana 703x422

Mu pulaani eno, Bobi Wine yagambye nti bammemba b’ekibiina balina okutegeka emikolo mingi mu kiseera kino era gikozesebwe okubunyisa enjiri ya People Power kubanga enkung’aana z’ebyobufuzi zonna ze baba bategese, poliisi ezibalemesa.

Yakunze bammemba okutegeka emikolo omuli okwanjula, embaga, ennyimbe, obubaga bw’amazaalibwa, okubatiza n’emikolo emirala nti era bwe bagitekeka bayite abakulu bonna mu People Power kiyambeko okusaasaanya obubaka bw’enkyukakyuka gye baagala okuleeta nga bayita mu kalulu k’omwaka ogujja.

Yagambye nti pulaani eno eyamba ne mu kuzzaamu abali mu kisinde amaanyi kubanga bafuna obumalirivu nga bagenda mu kaseera k’akalulu ng’ebintu bye baali bayaayaanira mu bulamu bwabwe bituukiriziddwa era bw’eba mbaga ne bakimanya nti ne bwe bafi ira mu lutabaalo, ebimu ku birooto baabimaliriza.

Yawadde ekyokulabirako ky’embaga n’agamba nti: Munnaffe bw’agenda mu lutabaalo ng’amaze okukola embaga, abeera mumalirivu kubanga abeera akimanyi nti alese Nnamwandu ataliiko kibuuzo kyonna. Ate n’omukyala awaayo obuwagizi bwonna ng’ebirooto bye eby’embaga bimaze okutuukirizibwa.

Bobi Wine yagambye nti emikolo gino balina kugitegeka mu myezi gino egisooka mu mwaka nga kye yayise akaseera akazibu tekannatuuka (akaseera ka kampeyini akasuubirwa okutandika mu August 2020).

Yakkaatirizza nti abantu be bakunga mu myezi gino nga bayita mu mikolo eginaaba gitegekebwa bammemba ba People Power, nti bagenda kuba ba mugaso nnyo mu kaseera akajja mu maaso.

Yagambye nti mu mikolo gino, n’aba NRM balina okubayita era bakozese omukisa ogwo okubaggyamu ssente ze baba baggye mu gavumenti (mu kifaananyi ky’okusonda ez’omukolo) wamu n’okubaliisa enjiri ya People Power babeegatteko.

Fred Nyanzi (mukulu wa Bobi Wine) abamu gwe bamanyi nga ‘Chairman Nyanzi’ yakoze omukolo ku Kati-Kati e Lugogo ku Lwokutaano we yatongolezza enkiiko eziteekateeka embaga ye ng’agattibwa ne mukazi we Marjorine Namukisa Katumba bwe bamaze emyaka 17 era nga bano bateekateeka okugattibwa nga March 21, 2020 mu Lutikko e Lubaga.

Munda mu kisinde kya People Power waabaddewo amaloboozi agagamba nti emikolo egy’ekika kino giggya People Power ku mulamwa, mu kifo ky’okussa essira ku nteekateeka z’okukyusa obuyinza, ne badda mu kusonda ez’emikolo n’embaga mu kifo kye bandibadde basonda ezsa kampeyini ezibindabinda.

Moses Bigirwa eyeeyita Genero mu People Power yagambye nti naye alina endowooza nti emikolo ng’embaga tegyetaagisa kiseera kino.

“Museveni ne banne abatufuga ekiseera kino tewali yali ku ddaala lya waggulu ng’emmundu enyooka era n’emikolo gy’embaga baagikola wakati wa 1987 ne 1990 nga bamaze okuwangula olutalo.

Kyokka mu kwogera kwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) era nga ye mubaka wa Kyaddondo East yajulizza akatabo ka munnamagye Pecos Kuteesa n’agamba nti ng’olutalo lusiriikiriddemu, Pulezidenti Museveni yalagira abalwanyi bonna abaali baagala okubaako emikolo gye bakola, bagikole nti era ekyo kyakolebwa okubazzaamu amaanyi balwane nga tewali kibataataaganya.

Mu kusonda ssente z’embaga, omu ku bateeka ssente mu bayimbi amanyiddwa nga Sipapa yazze n’awaayo obukadde 4 ez’obuliwo era ono Bobi Wine gwe yakozesezza ng’ekyokulabirako okutegeeza abantu nti emikolo egyo gijja kubayamba okufuna ssente eziba ziweereddwa abantu be yayogeddeko nti baba batumiddwa ku ‘misoni’ z’okutaataaganya emirimu gya People Power.

Sipapa y’omu ku baafuna ssente za Pulezidenti okuyambako mu kukyusa embeera z’abavubuka naddala mu “Ghetto” (nzigotta) era Bobi Wine yagambye nti ezimu ku ssente ezo zitandise okukomawo.

Okusondera embaga oluvannyuma kwagenze mu maaso era ssente ze beeyamye zaasusse obukadde 100 ate ez’obuliwo ne zisukka obukadde 10.

Abaasonze kwabaddeko: Meeya wa Kawempe Emmanuel Sserunjogi obukadde 10, Godfrey Kayemba obukadde 5, Omubaka Francis Zaake Zaake obukadde 5, Jose Chameleone obukadde 2 Mubarak Kawooya obukadde 2, Charles Kirumira 1,500,000/=, Abitex 1,500,000/= Latif Ssebagala akakadde kamu n’abalala naddala bannabyabufuzi abali mu kisinde kya People Power, n’abali mu kisaawe ky’okuyimba ne katemba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.