TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omujaasi abadde atambuliza emmundu mu kidomola bamukutte ku by'okutta aba Mobile money

Omujaasi abadde atambuliza emmundu mu kidomola bamukutte ku by'okutta aba Mobile money

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

Omujaasi abadde atambuliza emmundu mu kidomola bamukutte ku by'okutta aba Mobile money

Tap13 703x422

Kisuule (wakati) nga bamukutte.

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo. Baamaze kumukwata ne balyoka bakitegeera nti omwo mw’abadde atambuliza emmundu!

David Kisuule nga wa magye bamulumiriza nti y’abadde akulembera ekimu ku bibinja ebirumba ab’amaduuka ga Mobile Money ne babanyaga era olumu n’okutta batta! Kigambibwa nti ekibinja kino kibadde kitigomya nnyo e Mukono, Lugazi, Njeru n’ebitundu ebimu mu Kampala.

Emmundu gye baamusanze nayo, poliisi egamba nti ye yakozeseddwa mu kulumba owa Mobile Money Sofia Nakayaga ow’e Lugazi ne battirawo omukozi we Evelyn Nantale 16, era ne “Bbebi” wa Nakayaga ne bamutuusaako ebisago.

Nantale eyattiddwa ye yabadde asitudde Bbebi era omwana ono essasi lyamukubye olugalo ne lukutukako. Nakayaga yabadde annyuse wabula ab’emmundu ne bamulinnya akagere nga baagala okumubbako ensimbi. Baamugendedde ku mugongo era olwabadde okuyingira ennyumba, nabo ne bayingira ne bamulagira abawe ensimbi zonna ze yabadde akoze ku Mobile Money.

Nantale baamukubye essasi ng’agezaako okukubira ababbi enduulu era n’afiirawo. Oluvannyuma baakutte ssente zonna ne badduka nazo, wabula olw’amasasi agaabadde gakubiddwa n’enduulu abatuuze gye baabadde bawulidde baataayizza ababbi era ne bakwatako omu.

Mu kubataayiza, kigambibwa nti Kisuule ye yabadde n’emmundu era yakubye amasasi mangi mu bbanga okusaggula ekkubo w’anaddukira, kyokka ate munne (eyabadde talina mmundu) abatuuze ne bamutaayiza ne bamukwata batandika okumukuba okutuusa poliisi lwe yazze n’emutaasa n’atwalibwa ku poliisi y’e Lugazi gy’amaze wiiki emu n’ekitundu okuva lwe yakwatiddwa abatuuze.

ENGERI GY’ABADDE AKWEKA EMMUNDU

Kisuule baamukutte n’emmundu ey’ekika kya AK47 era ng’alina n’amasasi 24 be ddu. Baamukwatidde ku kyalo Bukaaya mu Ggombolola y’e Busamuzi mu disitulikiti y’e Buvuma ku bizinga nga n’emmundu gy’abadde agikweka.

Abatuuze baategeezezza nti Kisuule abadde yafuna ekikapu ekinene, nga bw’aba alina olugendo oluwanvu gy’agenda, akwata ekidomola n’akituuza mu kikapu n’akyambalira ku mugongo n’atandika olugendo.

Emmundu yali yagiggyako ekikondo eky’emabega era nga yaddira ekidomola n’akisala waggulu, nga w’abadde ayisa emmundu era munda ng’ateekamu “ccacu” okubuzaabuza abantu nti atambulizaamu mmere ya bisolo.

 

Olumu nti abadde agenda n’ekidomola kino mu birabo by’emmere, n’akung’aanyizaamu emmere ebeera efisse okwongera okukakasa abatuuze nti ekidomola akitambulizaamu mmere ya bisolo.

Kisuule wadde abadde mu magye wabula era abadde alunda era awaka abadde alundirawo ebisolo, ekintu abamu ku batuuze kye baagambye nti abadde akyekwekamu abuzeebuze abantu nti gwe mulimu gw’aggyamu ensimbi.

Wadde mu UPDF babadde bamumanyi nga David Kisuule, wabula ku kitundu we baamukwatidde babadde bamumanyi nga David Mayambala era abatuuze balumiriza nti nakyo alabika yakikola mu bugenderevu okubuzaabuza bakamaabe bakaluubirirwe okumulondoola.

Poliisi bwe yamulondodde e Buvuma n’emukwata, yasoose kwegaana bya mmundu wabula poliisi bwe yamubuulidde byonna ebimukwatako n’ebyama bye yabadde emuzuddeko, n’agonda n’abakulembera okubatwala w’abadde akweka emmundu.

Abadde agikweka mu kasiko akaliraanye ennyumba w’abadde asula. Yali yasima ekinnya mw’abadde atuuza ekidomola kino ng’amaze okukisabika obulungi mu kaveera n’agiziika era nti abadde agiggyayo matumbibudde bw’aba alina w’agenda okulumba. Yabalaze n’ekikapu ekinene mw’abadde agitambuliza ng’agenda wala.

BATWALIBWA MU KKOOTI Y’AMAGYE

Munne eyakwatibwa abatuuze yasooka kutegeeza nti ye Rogers Mukaaya wabula oluvannyuma kyazuuse nga ye Julius Kisuule era nga naye muganda wa David Kisuule era nti bombi bajaasi.

Kyategeezeddwa nti poliisi bye yayogezza Julius Kisuule bye byayambye ennyo mu kukwata David Kisuule era byayambye ne mu kuzuula emmundu.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekya Ssezibwa Helen Butoto yagambye nti abasajja bombi baggyiddwa ku poliisi e Lugazi ne bakwasibwa eggye lya UPDF ne fayiro zaabwe era bagenda kuvunaanirwa mu kkooti y’amagye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana