TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Budaaki ewadde Uganda obuwumbi 2 okutumbula ebyobulambuzi

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi 2 okutumbula ebyobulambuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu bintu ebyenjawulo omuli ebisolo byomunsiko, emmere ennansi, eby’obuwangwa, ebifo ebiterekebwamu ebintu ebikadde ebyebyafaayo, saako n’ebifo by’obulambuzi ebirala.

Netherlands1 703x422

Omubaka wa Budaaki mu Uganda, Henk-Jan Bakker, ye yabotodde ekyama kino, bwe yabadde atongoza pulojekiti egendereddwamu okutumbula ebyobulambuzi mu Uganda, gye bayise ‘Tourism Trails in the Pearl of Africa’.

Yabadde ku Design Hub Kampala, Industrial Area, ku nkomerero ya wiiki ewedde.

Yategeezezza nti guno gugenda kuba mukisa gwamaanyi eri Uganda, olw’ensonga nti ebitongole bya Budaaki musanvu byetegefu okuyamba ku Uganda okulabanga batumbula eby’obulambuzi mu ngeri eri ku mutindo gw’ensi yonna.

Yagaseeko nti mu bye basuubira okukola mulimu okutumbula enkola y’okulambula ebitundu bya Uganda nga bavuga bugaali, Pikipiki, okudduka, n’ebirala bingi.

Omubaka yategeezezza nti Pulojekiti  esuubirwa okumala emyaka esatu ng’ekwajja era nga essira ligenda kulissibwa ku bintu ebikulu bisatu; okukulaakulanya ebifo by’ebyobuwangwa, okulongoosa mu buweereza eri abalambuzi n’ababalambuza, wamu n’okwongera okuggulawo emikisa eri ebifo by’obulambuzi ebirala ebibadde bitafiibwaako mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Dayirekita okuva mu kitongole ekitwala eby’obulambuzi mu ggwanga ki Uganda Tourism Board, ayitibwa James Lutalo, yategeezezza Bukedde, nti kkampuni ez’enjawulo zeesowoddeyo okuwagira enteekateeka zaabwe era nga abamu ku bo, kuliko aba Berwandelen.com, EyeOpenerWorks, Home of Friends Kapchorwa, Kara Tunga Arts & Tours, Matoke Tours, TranAtlas Bike, ne UG-MOTOBIKE.

“Tulina esuubi nti enkola eno ejja kuyamba nnyo mu kutumbula eby’obulambuzi mu Uganda kubanga ebiseera ebisinga ebbulwa ly’ensimbi lyerisinga okuzinggamya emirimu naye eky’omukisa omulungi gavumenti ya Budaaki etuwadde ssente era nga tusuubira nti buli kimu kijja kutambula bulungi,” Lutalo, bwe yategeezezza.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu

Uhurukenyatta 220x290

Coronavirus: Kenyatta asaze omusolo...

Pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyatta alangiridde nga bw’asaze emisolo mu kaweefube w’okuyamba Bannakenya mu mbeera...

1175942533jpg0 220x290

Coronavirus: Amerika ewadde bannansi...

AMERIKA ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu ddoola 1,200/-, ze ssente eza Uganda obukadde 4 n’ekitundu...