TOP

Muwala wa munnamagye Kyaligonza afudde anaaba

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

PAULINE Ntegeka abadde abeera mu Bungereza, ku Lwokutaana yabadde agenda mu kinaabiro n’aseerera n’agwa n’akubawo omutwe.

Mutu 703x422

Omugenzi Ntegeka

Antonio Nakandi nnyina w’omugenzi abeera e Kansanga yategeezezza Bukedde nti Ntegeka olwagudde omwana we Joshua Birungi Kyomuhendo n’akuba essimu mu Uganda n’amubikira.

Nakandi yalagidde muzzukulu we ayite baliraanwa babayambe kubanga Ntegeka abadde mu nnyumba abeeramu n’abaana be babiri bokka. Eyakubye essimu ye mukulu yasigadde ne munne Joel Eris Tumusiime.

“Omwana kye yakoze yataddeko kkamera ku ssimu ffe abali e Uganda tulaba ebigenda mu maaso mu kifo we yabadde agudde twagenze okulaba ng’Omuzungu ava wabweru okuyingira mu nnyumba we yabadde agudde”, Nakandi bwe yannyonnyodde.

Omuzungu eyayingidde ye yayise poliisi ne baleeta ambyulensi eyatutte Ntegeka mu ddwaaliro ne bamuteeka ku byuma ebimuyambako okussa, eky’ennaku yabimazeeko ebbanga ttono n’afa.

Nakandi yategeezezza nti omugenzi muwala wa Kyaligonza gwe baazaala December 1972.

Amaze emyaka 15 e Bungereza n’abaana gye yabazaalira wabula nga tannaba kugenda Bulaaya yasomera Kittante gye yava okugenda e Namagunga ne mu yunivasite e Makerere.

Bwe yamaliriza okusoma n’afuna omulimu mu Centenary Bank olwavaayo n’agenda mu URA.

Ekiseera ekyaddako we yalwalira n’aziba amaaso era abadde muzibe naye nga yeekolera buli kimu era oluvannyuma lw’obulwadde yagenda e Bungereza ne bba kyokka yafunirayo ebizibu ne bamuzza e Uganda n’alekayo omukyala n’abaana.

Nakandi yategeezezza nti omulambo gwa muwala we bwe gunaakomezebwawo bagenda kumuziika Hoima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....