TOP

Agambibwa okufera abantu emirimu akwatiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

Agambibwa okufera abantu emirimu akwatiddwa

Zan13 703x422

POLIISI ya Kampalamukadde eggalidde omusajja agambibwa okufera abantu ng’akozesa ofiisi ez’enjawulo n’abaggyako ensimbi. Christopher Kiddu 48, eyeeyita Polofeesa Kiddu omutuuze w’e Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso ye yakwatiddwa oluvannyuma lw’okufera abantu. Abamu ku bantu be yafera kuliko Edith Nambiribwa.

Kigambibwa nti mu mwezi July, 2019, yamuggyako ssente ezisukka mu1,000,000/- n’amulimba nti akola mu KCCA. Yamusuubiza okumufunira omulimu ogw’obuwandiisi kyokka kyamubuukako bwe yatuuka ku KCCA ne bamutegeeza nti Kiddu tebamumanyi.

Yamukubira essimu nga tagikwata n’amuloopa ku poliisi y’e Lungujja ne bamuggulako omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju ku ffayiro nnamba SD 25/28/08/2019. Kigambibwa nti Kiddu yeeyambisa essimu ya Vicent Kamoga n’asaba abantu ssente. Kamoga agamba nti mukwano gwe eyajja ne Kiddu ku wooteeri ya Tarvan Woods e Kabuusu ye yamumwanjulira.

Wabula, baali bakyesanyusa Kiddu n’asaba Kamoga ku ssimu ye ng’amutegeeza nga bwe yali alina omuntu gwe yali ayagala okukubira ng’alina ebintu by’ayagala okumuwa. Bwe yatwala essimu ye, alina kye yagikola era amasimu ga Kamoga nga y’agafuna. Yakozesa omukisa ogwo okusaba abantu ssente era abamu ku bantu abasindikira Kiddu ssente be baategeeza Kamoga.

Kamoga yasalawo okugenda mu kkampuni ya MTN n’akizuula nti essimu kwe baasindikanga ssente yali ya Kiddu. Kamoga yaddukira ku poliisi y’e Lubaga ne bakwata Kiddu ne bamugulako omusango gw’okukozesa obubi kkompyuta ku ssimu ye ku ffayiro nnamba SD:06/21/01/2020 era kati akuumirwa ku poliisi ya Old Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...