TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde akulira poliisi y'ebidduka mu ggwanga awaddeyo office

Abadde akulira poliisi y'ebidduka mu ggwanga awaddeyo office

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

Abadde akulira poliisi y'ebidduka mu ggwanga awaddeyo office

Kas11 703x422

ABADDE akulira ekitongole ky’ebidduka mu poliisi, AIGP Dr. Steven Kasiima awaddeyo ofiisi eri omumyuka we CP. Bazil Mugisha ku mukolo ogubadde e Nateete ku Lwomukaaga gye batakkirizza munnamawulire yenna kutuukayo.

Kino kiddiridde kkontulakiti z’ababadde bakulira ebitongole bya poliisi okuggwaako ne batazizza buggya nga bwe baali basuubira.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Okoth Ochola ye yabalagidde okuwaayo ofiisi eri abamyuka baabwe ng’agamba nti tebasobola kubeeramu nga tebalina kkontulakiti mpya. Kigambibwa nti, bano baali baasaba Pulezidenti Museveni azongezeeyo n’atakikola kwe kubasaba baweeyo ofiisi.

Abalala aboolekedde okuwaayo ofiisi mulimu; Erasmus Twaruhukwa akulira ekitongole ky’amateeka, Lemmy Twinomugisha akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abaserikale, Haruna Isabirye atuula mu Amerika, Joseph Mugisa akulira ekitongole ekizikiza omuliro ne Francis Rwego atuula ku kitebe kya African Union mu Ethiopia.

Geoffrey Bangirana, eyali akulira ofiisi ya ddayirekita w’ekitongole kya poliisi ye yasooka okuwaayo ofiisi.

EBIKWATA KU KASIIMA

Dr. Steven Kasiima yeegatta ku poliisi mu 1992 era yatandikira Masaka nga y’akulira poliisi y’e Lyantonde. Kasiima yeegatta ku poliisi y’ebidduka eyali wansi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bikwekweto.

Yakulirako poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano nga ekyali Kampala Extra okutuusa lwe yafuulibwa Kampala Metropolitan. Baamukuza okuva ku ddaala kya Senior Superintendent of Police n’afuulibwa Commissioner akulira poliisi y’ebidduka mu kitongole eky’ebikwekweto.

Oluvannyuma lw’okutondawo ebitongole ebipya, Gen. Kale Kayihura yakwasa Kasiima obuvunaanyizibwa bw’okukulira ekitongole ky’ebidduka mw’abadde okutuusa lwe yawaddeyo ofiisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...