TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte ssemaka atemye munne n’okwokya ppikippiki

Poliisi ekutte ssemaka atemye munne n’okwokya ppikippiki

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

Poliisi ekutte ssemaka atemye munne n’okwokya ppikippiki

Fav1 703x422

POLIISI ekutte ssemaka n’emuggalira lwa kutwalira mateeka mu ngalo n’atema omutu n’okwokya ppikippiki ng’entabwe eva ku nkaayana za ttaka.

Jamadah Kintu 55, ye yakwatiddwa nga mutuuze w’e Nswanjere mu ggombolola y’e Muduuma mu disitulikiti y’e Mpigi ku bigambibwa nti yakkakkanye ku ppikippiki ya Peter Kirabira nnamba UEB 501A n’agiteekera omuliro n’okutema Habert Ssekitto ng’amulumiriza nti yamusanze mu kibira ng’atema emiti gya kalittunsi.

Kintu eyaliko ssentebe w’ababoodabooda b’e Muduuma abeegattira mu kibiina kya Twajjabaseka Bodaboda Group okukwatibwa kyaddiridde okugobwa ku bwassentebe bw’ekibiina kino nga bamulumiriza okwezza ebintu by’ekibiina okuli n’ekibira kya kalittunsi era ne yeewera nti waakufaafaagana n’omuntu gw’alikwatira mu kibira kye, aba boodabooda kye bawakanya.

Wano Kintu yataayizza abasajja abaabadde basala emiti gye baaguze ku beekibiina kya boodabooda n’atemako omu ku mukono kyokka bwe baamwesimattuddeko ne badduka olwo n’ateekera ppikippiki yaabwe omuliro n’eteta n’eggwaawo.

Aba boodabooda olwabitegedde baavudde mu mbeera ne balumba Kintu okumugajambula kyokka poliisi y’e Jjeza n’ebatebuka n’emukwata n’atwalibwa mu kaduukulu ka poliisi e Mpigi gy’akyaggaliddwa ku misango gy’okutwalira amateeka mu ngalo.

Ssentebe w’ekibiina kya Twajjabaseka Bodaboda Group, Jimmy Ssebwato alumirizza Kintu okwezza ebintu by’ekibiina kyabwe mu lukujjukujju n’asaba poliisi okumukangavvula asasule n’ebintu bya yayonoonye.

Kintu ng’atusiddwa ku poliisi byonna ebimwogerwako yabyegaanye n’ategeeza nti ekibira kikye kubanga yakipangisa ku kitongole ky’ebibira ekya NFA n’asimba emiti gye . Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Joseph Tulya agambye nti Kintu yagaliddwa abayambeko mu kubuuliriza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana