TOP

Baboye eddagala ly’ebirime ekkyaamu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

Baboye eddagala ly’ebirime ekkyaamu

Fit1 703x422

ABAMINISITULE y’ebyobulimi bazinzeeko amaduuka agatunda eddagala ly’ebirime n’ebisolo ne babowa eddagala erigambibwa obutabeera mu mateeka. Sylvia Nantongo Mutebi, okuva mu minisitule y’ebyobulimi obulunzi n’obuvubi ye yakulembedde ekikwekweto kino ng’ayambibwako poliisi.

Yagambye nti tebakyasobola kugumiikiriza bantu abatunda eddagala erikontana n’amateeka. Yayongeddeko nti eddagala lye basinga okunoonya kuliko eriteekebwa mu bucupa bwa mazzi ne baliguza abalimi.

Eddala kuliko lye bateeka mu bucupa obumaze okukozesebwa nga bukalu nga bakozesa empiso ez’abantu n’agamba nti eryo libeera kkyamu nnyo. Nantongo yagambye nti eddagala erisinga terikola kuba teririna kipimo kituufu, teryanoonyerezebwako era ne bwe liba likoze obulabe bwonna omulimi y’afiirwa.

“Ekituleese kwe kukebera omutindo gw’eddagala eritundibwa n’abalitunda bennyini okuba nga balina ebisaanyizo. Atunda eddagala alina okuba n’ebbaluwa emukkiriza okulitunda waakiri ng’alina satifikeeti mu byobulimi, Nantongo bwe yagambye.

Nantongo yalabudde nga bwe bagenda okuggala amaduuka gonna ge banaasanga nga gatunda eddagala ekkyamu ne bannyini go bavunaanibwe.

Yasabye abalimi okulekeraawo okugenda ku maduuka okubapimira eddagala n’abalabula okwegendereza eddagala lye bakozesa kubanga liyinza okukosa obulamu bwabwe obwabulijjo naddala mu kulitabula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana