TOP

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata

Git1 703x422

OWA LDU akubye omutuuze essasi ku mukono abatuuze ne batabuka okukkakkana ng’aba LDU ne poliisi batutte akubiddwa mu ddwaaliro. Eyakubiddwa essasi ye Saleh Kinaalwa, omutuuze ku kyalo Matale Central mu ggombolola y’e Ngogwe mu disitulikiti y’e Buikwe.

Kinaalwa eyasangiddwa ku kitanda mu ddwaaliro e Kawolo gy’ajjanjabirwa, yagambye nti zaabadde ssaawa nga 4:00 ez’ekiro nga bali kumpi n’omudaala gw’ennyama w’akolera ye ne banne ne balaba ekibinja ky’abaserikale n’abantu abalala nga bajja we bali ne basooka okutya kyokka ne babivaako kuba tebaabadde na kye babeekengerako.

Agamba nti baabadde baagala okubatuukirira ne baagala babeesege omu kubaabaddeko n’agamba abaserikale mu Luswayiri nti “ ndiyo wuyo” ekitegeeza nti ‘y’oyo’ kwe kumusogamu emmundu ng’agezaako okudduka ne bamukuba essasi n’atuula.

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Buikwe, Alex Wabwire bw’atuukiriddwa agambye nti ensonga zimanyiddwa muduumizi w’aba LDU bo babadde tebannazimanya nnyo. Akulira aba LDU mu disitulikiti y’e Buikwe, Maj Joseph Mubunga, yakakasizza ebyabaddewo kyokka n’awakanya eky’okugamba nti aba LDU tebaabadde na ba poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.