TOP

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata

Gat1 703x422

Kinaalwa ng’ali ku kitanda mu ddwaaliro e Kawolo gy’ajjanjabirwa.

OWA LDU akubye omutuuze essasi ku mukono abatuuze ne batabuka okukkakkana ng’aba LDU ne poliisi batutte akubiddwa mu ddwaaliro. Eyakubiddwa essasi ye Saleh Kinaalwa, omutuuze ku kyalo Matale Central mu ggombolola y’e Ngogwe mu disitulikiti y’e Buikwe.

Kinaalwa eyasangiddwa ku kitanda mu ddwaaliro e Kawolo gy’ajjanjabirwa, yagambye nti zaabadde ssaawa nga 4:00 ez’ekiro nga bali kumpi n’omudaala gw’ennyama w’akolera ye ne banne ne balaba ekibinja ky’abaserikale n’abantu abalala nga bajja we bali ne basooka okutya kyokka ne babivaako kuba tebaabadde na kye babeekengerako.

Agamba nti baabadde baagala okubatuukirira ne baagala babeesege omu kubaabaddeko n’agamba abaserikale mu Luswayiri nti “ ndiyo wuyo” ekitegeeza nti ‘y’oyo’ kwe kumusogamu emmundu ng’agezaako okudduka ne bamukuba essasi n’atuula.

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Buikwe, Alex Wabwire bw’atuukiriddwa agambye nti ensonga zimanyiddwa muduumizi w’aba LDU bo babadde tebannazimanya nnyo. Akulira aba LDU mu disitulikiti y’e Buikwe, Maj Joseph Mubunga, yakakasizza ebyabaddewo kyokka n’awakanya eky’okugamba nti aba LDU tebaabadde na ba poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League