TOP

Obugagga bwange buli mu mbizzi

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Dit1 703x422

Masembe ng’ali mu kiyimba ekirimu obumu kubwana obwakaweza emyezi ebiri.

BW’OBA waakufuuka mulimi oba omulunzi ow’enjawulo tosooka kutunuulira ssente mmeka z’osuubira kufuna wabula lwana okulaba ng’okola ffaamu buli muntu gy’asobola okutuukako n’agyegomba ng’okola ebintu abalala bye batasobola kukola oba bye babuusa amaaso.

Ekyo bw’onookikola obulimi n’obulunzi bujja kukutambulira bulungi ate ofune ssente ze wali tolowoozangako kufuna naye nga kiva mu nteekateeka ennungi gy’oba wakola ng’otandika ffaamu yo.

James Masembe 40, omutuuze w’e Kijonjo-Nalozaali mu ggombolola y’e Buwunga ekisangibwa mu disitulikiti Masaka ye nnannyini ffaamu eyitibwa Aga Mixed Farm ng’eri ku bunene bwa yiika mwenda asinga kulunda mbizzi ate ne yeeyambisa obusa n’omusulo by’aggya mu biyumba okulima ebintu ebirala omuva ssente.

Alina olusuku oluweza yiika nnya n’ekitundu, omusiri gw’emmwaanyi yiika ssatu n’ekitundu, alimirako enva endiirwa zaaliisa embizzi n’okutunda, alinako yiika emu gye yeeyambisa okumerusa endokwa z’emmwaanyi eziri ku mulembe ekika kya ‘Cutting’ ate ng’alimirako n’emmere endala omuli kasooli gw’aliisa embizzi. Ddundiro ya Masembe eno gy’osanga embizzi ezizaala abaana abasoba mu 10 buli emu ate nga zizitowa kkiro ezisoba mu 200 buli emu.

 

OBUGAGGA BWANGE BULI MU KULUNDA MBIZZI

Masembe agamba nti; Ffaamu yange eno nagitandika mu 2017 mu mwezi gwa November era kati yawezezza emyaka ebiri. Nagitandika n’embizzi 11 nga kati eddundiro yonna eririko embizzi 285, kuliko enkazi ezizaala 26 n’ennume 4 nga zino ze tweyambisa okuwakisa.

Natandika ddundiro eno nga nnina ekiruubirirwa ekyokwettira embizzi ze nnunda ntunde ennyama mu bifo eby’enjawulo okwetooloola Masaka ne Kampala ate n’okufulumya ebyana ebito eby’omulembe abantu b’ekitundu babigule nabo batandike okwenyigira mu bulimi n’obulunzi obuli ku mulembe kitusobozese okulwanyisa obwavu mu ggombolola yaffe nga tuyita mu kulima n’okulunda kubanga omulunzi omulungi tayinza kwonoona bigimusa by’aggya mu mbizzi n’atabiteeka mu nnimiro.

We ntuukidde leero ndaba ng’ekigendererwa kyange kibuzaayo akaseera katono kituukirire kubanga nsuubira okutandika okutunda ebyana by’embizzi mu mwezi ogwookusatu ate n’okutandika okufulumya ennyama era mu mwezi gwe gumu.

Abantu baatandika dda okujja okulambula eddundiro lyange era ne bafuna amagezi ag’enjawulo naye mbadde sinnagulawo mu butongole kugirambula wabula engeri gye hhenda okutandika okufulumya buli kimu hhenda kutandika n’okutegeka emisomo abantu tubayigirize ennima n’ennunda eri ku mulembe ate n’engeri gye basobola okukola ssente mu bulimi. Newankubadde nze ntaddemu ssente nnyingi okusinziira ku bintu bye nnina ndaba nga ssente hhenda kuziggyayo mu kiseera kitono ate nfune okusingawo.

EMBIZZI OKUKULA OBULUNGI ERINA OKULYA KKIRO Z’EMMERE SSATU OLUNAKU Masembe agamba nti, embizzi bw’oba oyagala ekule mu bwangu nga teddiridde olina okulaba ng’efuna emmere egimala kubanga buli lw’erya neetakkuta efuna okweraliikirira eyandifunye omubiri ne gugaana okusituka. Okusinziira ku musawo wa ffaamu yange, embizzi enkulu buli lunaku nnina okuziwa kkiro ssatu buli emu era kyenkola, ku makya buli mbizzi ngiwa kkiro bbiri ate olweggulo nalwo ne zifuna kkiro emu buli mbizzi.

Amazzi go gabeeramu obudde bwonna kubanga embizzi eba erina okunywa ennyo emmere gy’erya esobole okutambula obulungi era ku ffaamu yange buli mbizzi mu kisenge mw’ebeera mulimu enywanto gye yeeyambisa okunuuna amazzi obudde bwonna weyagalira.

Embizzi zange nzirimira n’ebyokulya ebirala omuli enva endiirwa gamba emboga, n’emiddo emirala era nkaza n’amalagala nga gatemeddwa ebitundu nago ne nzigaliisa era gazikola bulungi.

Embizzi yonna kyandibaddde kirungi okulya ku bintu ebya kiragala kubanga biziyamba okufuna amaanyi ate ne bw’eba eri lubuto eba esobola bulungi okuzaala nga tesanze buzibu ate era omuddo ogwo oluusi gukola ng’eddagala nti, embizzi eyambibwako okutangirwa endwadde ezitali zimu eziyinza okugirumba.

ENKAZI GIWE ENNUME NG’EWEZEZZA EMYEZI MWENDA

Embizzi yonna ng’erabiriddwa bulungi bw’eweza emyezi musanvu esala omulundi ogusooka naye olw’okuba eba tennaguma bulungi emala ennaku endala 21 n’eddamu n’esala olwo eba ewezezza emyezi munaana era tekiba kirungi kupapirawo kugiwa nnume, ogyongeramu omwezi omulala gumu ku mulundi ogw’okusatu ng’ewezezza emyezi mwenda n’olyoka ogiwa ennume.

Bw’emaliriza okuwaka emala ennaku 114 okuzaala, gy’emyezi esatu ne wiiki ssatu n’ennaku ssatu, era bw’oba oyagala okufuna ekirungi obwana obuleka ne buyonkera ebbanga lya myezi ebiri ne buvaako nga bukuze bulungi olwo n’oyisaawo omwezi gumu ng’emaze okuggyako obwana n’ogiwa ennume.

Omwezi ogwo gw’ogirekerawo gugiyamba okuddamu okutereera obulungi n’esigala nga tekozze, ekitegeeza embizzi yonna entuufu buli mwaka erina okuzaala emirundi ebiri gyokka.

EMMERE Y’EMBIZZI ZANGE NGYETABULIRA OKUFUNA EBIRUNGO EBITUUFU

Olw’okuba kasooli asinga obungi mmwerimira ngula ebirungo byonna ebyetaagisa okugenda mu mmere omuli mukene n’ebirala ne mbyetwalira ku kyuma ne babikuba ne nkwata ccacu ne kasooli gwe tuyita ‘broken’ ne ntabula nga buli kirungo nkikozesezza mu bungi bwakyo.

Kino kinnyamba okuwa embizzi zange emmere erimu buli kyetaagisa ate awamu n’okukendeeza ku nsaasaanya kubanga ssente ze batundda kkiro nze mba hhenda kusasanyako ntono ezisigalawo ne nzeeyambisa mu bintu ebirala ebyetaagisa ku ffaamu gamba okugula eddagala, okusasula abakozi n’ebirala.

FFAAMU ENGERI GY’EKYUSIZZA EKITUNDU

1 Abatuuze be nayogeddeko nabo bantegeezezza nti, ekizibu kye basinga okuba nakyo kyali kya bbula lya mazzi era ng’ekidomola bakigula ssente eziri wakati we 500/- ne 1,000/- naye okuva Masembe lwe yatandikawo ffaamu n’asima amazzi g’omu ttaka abatuuze kati okwetooloola ekyalo kyonna amazzi bagaggya ku ffaamu.

Ekidomola akibaguza ku 200/- ate nga buli mukadde ali ku kitundu amazzi atwala ga bwereere awatali kusasula wadde ateekamu ssente ezigula amafuta okukuba amazzi ago okuva wansi okwambuka mu ttanka.

2 Masembe alaze abantu b’ekitundu nti, okulunda n’okulima bisoboka era bangi kati batandise okubaako bye bakola naddala nga basimba ebitooke, okulunda ,ate kati ne bwe bawulira nti waliwo awali omusomo nga gukwatagana ku bulimi bagenda ne bongera okubangulwa.

3 Abavubuka b’ekitundu baweereddwa emirimu ku ffaamu ne bakola, abamu bakola mu bitooke, mu mmwaanyi ate abalala bakola mu bintu ebisigadde ne bafuna ssente ezibayimirizaawo ne famire zaabwe.

ENKUUMA Y’OBUTONDE KU FFAAMU

l Bw’otuuka ku ffaamu ya Masembe, kw’alundira embizzi ate ng’alimirako n’ebintu ebirala wakwewuunyisa naddala mu biyumba omubeera embizzi, toyinza kusangamu wadde enswera era n’ekiyumba bw’oba tolabye mbizzi toyinza kumanya nti mweziri kubanga obuyonjo buli waggulu.

l Masembe yeeyambisa obusa okuliisa ettaka era buli kintu ky’akola nga kirimu okujimusa bwe yeeyambisa awatali wadde okufuuyira eddagala. Kino kimuyambye okukuuma ettaka lye nga ggimu y’ensonga lwaki ne by’asimba bivaamu nga birungi.

l Mu lusuku yeeyambisa ensalosalo okutangira ettaka okukulugukka era ne zimuyamba okutambuza ebigimusa bye by’afuna okuva mu biyumba by’embizzi okutuuka mu buli kifo ky’ayagala bituukemu.

OKUSOOMOOZEBWA KWE NSANGA

1 Ekitundu tekirina masannyalaze ate ng’emirimu egisinga obungi egikolebwa ku ffaamu gyetaaga amasannyalaze okutambula obulungi gamba okukuba kasooli embizzi gwe zirya n’ebirala.

2 Eddagala oluusi lye tweyambisa okujjanjaba embizzi balicupula ne kitufiiriza.

3 Akatale wehhenda okutunda ennyama nga ntandise okugifulumya mu mwezi ogwokusatu kakyali katono nga tukyetaaga ebifo bingi bye tulina okugabira.

4 Ebirungo bye nkozesa okutabula emmere oluusi birinnya ne kimbeerera kizibu okuliisa embizzi zino zonna ze nnina ne mba nga nkozesa ssente nnyingi ate nga mbadde sinnatandika kuziyingiza kuva mu ffaamu.

Newankubadde ffaamu eno mbadde sinnatandika kugifunamu ssente, nnina essuubi nti mu kabanga katono ssente ze ntaddemu zigenda kuvaayo ate nfune ne ze nali sisuubira kubanga ebintu bye nteeseteese okufunamu ssente nga mpita mu kulunda n’okulima bingi.

Nkubiriza abantu bongere okwenyigira mu bulimi ate beetegeke bulungi bwe baba tebannayingira kulunda basobole okufuna ebisinga obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu