TOP

Pass PLE addamu mu February

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2020

Pass PLE addamu mu February

Sat13 703x422

Abayizi ba Kitante Primary School nga bawuliriza ebibuuzo bya PASS PLE Quiz omwaka oguwedde.

OKUVA nga February 3, 2020 Bukedde agenda kuddamu okufulumya akatabo ka PASS PLE buli Mmande omuyizi k’otasaanye kusubwa. Eno y’emu ku nteekateeka ya Bukedde okuyambako okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga.

Emyaka egisukka mu 10 Bukedde gy’amaze ng’afulumya akatabo ka PASS PLE ayongedde okumanya abayizi bye beetaaga era kuno kw’azimbira akatabo ka PASS PLE abayizi ke beenyumirizaamu olw’okubayamba okutegeera amasomo amazibu n’okwetegekera ebigezo bya PLE. Akatabo kasunsulwa abasomesa abalina obumanyirivu okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Mu kusomesa abasomesa bayita mu katabo kano aka PASS PLE akafuluma buli Mmande, okusomesa ebyo ebitera okukaluubirira abayizi ne babaweerako ebibuuzo omuyizi by’addamu okulaba oba by’asomye abitegedde bulungi. Okusomesa kuno kuyamba n’abo abatalina busobozi kwegulira bitabo ne beesomesa. Buli kimu baba bakinnyonnyodde bulungi.

Abasunsula akatabo kPASS PLE bawa abayizi ebibuuzo okuva mu masomo ag’enjawulo okuva mu bibiina ebyawansi omuyizi n’atandika okwegezaamu okuddamu ebibuuzo.

Kino kimuyamba okumanya engeri ebibuuzo gye biddibwamu n’okumumalako ekiwuggwe ky’ebigezo naddala eby’akamalirizo kubanga amanya bisunsuddwa omusomesa omulala atali amusomesa bulijjo.

Akatabo ka PASS PLE abayizi bakakozesa okukubaganya ebirowoozo. Mu ‘PASS PLE CLUBS’ ezitondebwawo amasomero nga gayambibwako Bukedde. Entikko y’okukubaganya ebirowoozo kuno ebeera mu PASS PLE QUIZ abayizi beeyongera okuttaanya bye batannayiga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.