TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ttiyaggaasi anyoose mu kikwekweto kya UMEME e Kawempe

Ttiyaggaasi anyoose mu kikwekweto kya UMEME e Kawempe

By Moses Lemisa

Added 28th January 2020

POLIISI ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugugumbula abatuuze abaatabukidde aba UMEME nga bawakanya eky’okubasalako amasannyalaze.

Tiya1 703x422

Abatuuze nga badduka okwetegula ttiyaggaasi gwe baabakubyemu.

Bya MOSES LEMISA
 
POLIISI ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugugumbula abatuuze abaatabukidde aba UMEME nga bawakanya eky’okubasalako amasannyalaze.
 
Ku Mmande, UMEME yakedde mu muluka gwa Makerere III n’ebitundu ebirala mu Kawempe okusalako abo bonna ababba amasannyalaze.
 
Abamu ku batuuze baakwatiddwa kyokka bwe kyatuuse mu zooni ya Kiggundu ne Good Hope, baabakanyugidde amayinja, ekyawalirizza poliisi okukuba amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala.
 
Embeera eno yatutte akaseera akawerako okudda mu nteeko oluvannyuma Frank Ayo, akulira poliisi y’oku Kaleerwe n’asaba abaakulidde ekikwekweto okukiyimiriza okusobola okutangira akeegugungo mu kitundu.
 wapoliisi ngatwala omu ku baakwatiddwa Owapoliisi ng’atwala omu ku baakwatiddwa.

 

 
Ssentebe wa Kiggundu zooni, Paul Kibuuka yategeezezza nti abatuuze ekyabaggye mu mbeera be bakozi ba UMEME okusalako n’amayumba agalina amasannyalaze mu butuufu.
Yagasseeko nti abakulira UMEME balina okusooka okutuula bakwate abakozi b’ekitongole abakolagana ne bakamyufu okubba amasannyalaze.
 
Yayongeddeko nti enkola y’ebikwekweto yeetaaga okukyusaamu, nti mu kifo ky’okukwata abapangisa bakwate bannannyini mayumba.
 
Yayongeddeko nti aba UMEME bwe baba bagenda mu bitundu, tebakolagana na bakulembeze kyokka embeera bw’ebatabukako nga balyoka babayita bakkakkanye abatuuze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’