TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalunzi baakutendekebwa ennunda y’enkoko ey’omulembe

Abalunzi baakutendekebwa ennunda y’enkoko ey’omulembe

By Herbert Musoke

Added 28th January 2020

ABAKUGU mu kulabirira n’okuliisa enkoko n’embizzi bakunze abantu bonna abalunda n’abaagala okutandika okulunda obutasubwa mwoleso gwa Har­vest Money Expo mwe bagenda okubasomeseza ebikwata ku bulunzi bw’enkoko nga bizinensi.

Koudjis1 703x422

Yohan (ku ddyo) owa Koudjis ng’aso- mesa bakitunzi baabwe be baatendese.

alt=''

 

Bya HERBERT MUSOKE

ABAKUGU mu kulabirira n’okuliisa enkoko n’embizzi bakunze abantu bonna abalunda n’abaagala okutandika okulunda obutasubwa mwoleso gwa Har­vest Money Expo mwe bagenda okubasomeseza ebikwata ku bulunzi bw’enkoko nga bizinensi.

Yohan Verhoek, omukugu mu by’endiisa y’ensolo n’ebinyonyi okuva mu kkampuni ya Koudjis ey’e Budaaki yagambye nti ekimu ku biremesezza Bannayuganda okufuna mu bulunzi bw’enkoko n’embizzi bwe butamanya kituufu kye balina kukola.

Bwe yabadde mu kutendeka bakitunzi ba Koudjis okuva mu mawanga g’obuvanjuba bwa Afri­ka okuli Uganda, Kenya, Rwanda ne Tanzania ogwabadde ku Jevine Hotel mu Ndeeba-Lubaga, Yohan yagambye nti waliwo ebintu abal­unzi bye batamanyi so nga bikulu mu mulimu gw’obulunzi.

“Twagala okwongera oku­somesa abantu ebintu ebitono

 bye basobola okutunuulira ne bamanya oba enkoko n’embizzi bye balunda biri mu mbeera nnungi.

Yawadde eky’okulabirako eky’enkoko okwebojja oba okubeera n’okukaluubirizibwa mu lubuto. Yagambye nti osobola okulabira ku byoya nga tebiky­alimu mu kiyumba nga zitandise okubirya oba okufunya ebigere ssinga ogisitula.

“Bino n’ebirala bingi bye tugenda okusomesa abalunzi okubawa amaanyi okutegeera enkoko zaabwe kuba ssinga omu­lunzi amanya ebintu nga bino, eddundiro lye libeera lya kumuwa ekiwera”, Yohan bwe yagambye.

Francis Baguma akulira kkam­puni ya Kafiika etunda emmere ya Koudjis mu Uganda, yagambye nti, “tukimanyi nti kikulu abalunzi okubeera ne bizinensi ennyweevu nga zitambula bulungi mu kukola amagoba kuba buli lwe bayingiza, bafuna amaanyi naffe okutugu­lako bizinesi n’etambula”,

Agamba nti bagenda kuleeta emmere yaabwe ku mudaala

 ogunaabeera mu kibanja kya kkampuni ezinaava e Budaaki ogwa “Netherlands Village” mu mwoleso e Namboole era nga baakuleeta n’abakugu mu ku­lunda enkoko n’embizzi abagenda okuddamu ebibuuzo by’abalunzi byonna. Bakitunzi baatende­keddwa mu ndiisa y’omutindo, enteekateeka y’ekiyumba, oku­kuuma obuyonjo n’okulwanyisa obulwadde, n’ebirala era oluvan­nyuma baaweereddwa satifikeeti ekakasa okutendekebwa kuno.

Okuyingira mu mwoleso gwa Harvest Money kwa 10,000/- ate okwetaba mu musomo kwa 10,000/- olunaku.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...