TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssebalamu akoledde muwala we akabaga k'okumala okusoma n'amukubiriza okubeera nga Ham

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga k'okumala okusoma n'amukubiriza okubeera nga Ham

By Joseph Mutebi

Added 28th January 2020

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga k'okumala okusoma n'amukubiriza okubeera nga Ham

Seb12 703x422

Omugagga Ssebalamu ng'akwata Ham mu ngalo ne mukyala we wakati ssaako ne muwala waabwe eyatikkiddwa mu misomo gy'ebyobulambuzi

ABAGAGGA b’omu Kampala bawereddwa amagezi  okusomesa ng’abaana baawe bafuuke abakugu mu mirimu egy’enjawulo gye baabadde bawa abantu ab’ebweru okubayambako  okuddukanya bizinensi zaabwe nga munnaabwe John Ssebalamu owa Freedom City  bw’akikola.

 

“Abasuubuzi b’omu Kampala bangi abaamanyi nkimanyi sibayivu nnyo ate nga bazadde abaana naye abasinga tebafuddeyo nnyo kw’agagala kubaweerera ekitali ku Ssebalamu kubanga,  ye ekyama yakirengerera wala n'asomesa abaana era mu nyumba ye kati awezezza diguli sattu okuli looya, abalirira ebitabo ne Diana Nabukeera eyasomye eby’obulambuzi ng’ate balina ekifo kya Freedom City ekisinga okwetanirwa ennyo Bannakampala okuliraamu obulamu mu nsangi zino” Bwatyo ssentebe w’abagagga b’omu Kampala Godfrey Kirumira bweyategezezza.

 

Kirumira yagambye nti nkimanyi Nabukeera okusoma eby’obulambuzi teyabadde nsobi kubanga ffe bakitaawo tukusuubira okuyamba ennyo ku bazadde bo okwongera okufula Freedom City , ekifo ekisikkiriza n’abalambuzi okuva wabweru w’e ggwanga ne bajja wano mu Uganda n'ekyongera okuyingiza muno ssente.

Bino Kirumira yabyogeredde  ku kabaga ka muwala w’omugagga Ssebalamu ayitiibwa Diana Nabukeera bwebabadde bamuyoozayooza okuwangula diguli y’eby’obulambuzi  okuva mu yunivasite y’e Makerere. Era omukolo gwabadde ku Freedom City okwetabiddwako n’abagagga b’omu Kampala abalonddemu wadde okusinga abazadde bagulekedde mikwano gy’abaana baabwe.

Ye Ssebalamu yeebazizza muwala we,  Nabukeera okumanya ky’ayagala era nakituukiriza , ffe nnyabo tukoze ogwaffe ng’abazadde ne maama wo,  Ruth Ssebalamu era tukwagaliza buwanguzi buli gy’olaga.

Ssebalamu yagambye nti wadde ye talina diguli naye amaanyi amakulu g’omuntu omuyivu era akakasa nti n’abaana be abalala abakyali abato bonna bagenda kutikkirirwa era n’abawa amagezi nti buli amala okusoma bakope nnyo mukulu waabwe Haji,  Hamis Kigunddu Ham kubanga alina ekifaananyi kyawa famire yaabwe ekirungi ng’omuvubuka omuto omuyivu ate alina ssente.

Ye muky Ruth Ssebalamu yasiimye bba, Ssebalamu  okubeera ow’enjawulo ku basajja abalala kubanga ayagala nnyo abaana baabwe n’okufaayo okulaba gye basomera era n’asaba n’abaana bakope empisa ze balaba ennungi ze babakulizamu nabo bakwate bwe batyo bazzukulu baabwe gye buggya.

Ssentebe wa “Kisaakimu Club”, omugagga Freeman Kiyimba yasabye  Nabukeera obutapapa kufumbirwa mangu nga tanafuna musajja gw’awulira nti ayagala ku mutima, era alowooze nnyo okufuka omukyala omusuubuzi ow’amaanyi nga ssenga we Christine Nabukeera  owa Kisekka Auto Centre Arcade bw’ali mu Kampala.

 

Ye omujaguza Diana Nabukeera, yagambye nti talina kyayinza kusasula bazadde be  okumulabirira okuva obuto okumutuusa ku kkula lino era abasabira buwangazi era ne yeeyama obutabaswaza yonna gy’anabeera nga alaze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....