TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

By Musasi wa Bukedde

Added 28th January 2020

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

Sat15 703x422

Katikkiro Charles Peter Mayiga, omumyuka we asooka Polof. Twaha Kaawaase ne Noah Kiyimba ow’olukiiko n’amawulire ( ku ddyo) nga beetegereza ebiteeso ebyayisiddwa mu lukiiko lwa Buganda eggulo.

ABAKIISE mu Lukiiko lwa Buganda batabukidde abaserikale ba Kabaka abakuba abantu mu  bitundu eby’enjawulo Kabaka gy’aba agenze okulambula ne bategeeza nti bajja kubeetamisa emikolo gya Kabaka.

Okutuuka wano baabadde bateesa kwebyo ebyavudde mu kwogera kwa Katikkiro, Charles Peter Mayiga okwasoose. Katikkiro yayogedde ku kuwaηηana ekitiibwa kyokka abakiise mu lukiiko ne bategeeza nga Kabaka bw’abeera alambula abantu be abajja okumwaniriza nga tewali abasasudde wabula olw’okwagala ne bayisibwa bubi.

Baagambye nti ne bw’abeera omubaka w’Olukiiko yennyini yeesanga bamusindise n’agwa. Amina Namale omukiise w’e Gomba yasabye abantu babasseemu ekitiibwa kubanga tewali abeera abasasudde okujja okwaniriza Kabaka wabula bakikola lwa mukwano. Katikkiro yayanukudde nti abaserikale nabo basaana okusaasirwa kubanga abantu abo babeera tebabamanyi.

Yawadde ekyokulabirako nti Kabaka lwe yagenda e Kyankwanzi waliwo omukazi eyajja adduka okwaniriza Kabaka, omuserikale n’amuvumbagira nga tayinza kutunula butunuzi singa omuntu atuusa obulabe ku Kabaka.

Yagambye nti ensonga z’abaserikale zisaana okwegendereza kubanga babeera ku nsonga za byakwerinda kyokka bwe bakoma ku bantu abawagaanya okutuuka ku Kabaka oba Katikkiro, abamu babavuma ne babategeeza nti bo (abantu) Baganda naye abaserikale ababasindiikiriza si Baganda.

Katikkiro Mayiga ng’ayogera yasoose kusaba Pulezidenti Museveni nti mu lutalo lw’okulwanyisa enguzi lwe yalangiridde asooke akwate abanene abali mu gavumenti ye ababbye ensimbi za Bannayuganda ne bakunakkuna olwo n’abatono bajja kutya

“Owekitiibwa pulezidenti bwe naamusanga nja kumugamba nti okulwanyisa enguzi osooka ku banene, okwatayo abanene basatu abalala ne batya.” Mayiga eyabadde ayogera mu Lukiiko lwa Buganda eggulo n’agamba nti ekisibye obwavu mu ggwanga kubanga osanga omuntu ng’abbye obuwumbi 24 ezaali ez’okukola olutindo.

Yayongeddeko nti ssente ezo zisobola okusasula abasawo n’abasomesa oba abaserikale ba poliisi be bakwata nti balidde obusente obutono nga 30,000/-. Yabadde ayanulula ku bigambo bya pulezidenti Museveni bwe yabadde e Ibanda ku mikolo gy’okukuza emyaka 34 egy’ameefuga n’agamba nti abakungu ba gavumenti abasaba bayinvesita enguzi kati be bafuuse omuziziko gw’okweyongera kw’amakolero mu ggwanga. “Omuyizzi bw’atega ekitimba leero ne kitakwasa n’enkya bw’atyo ayiiya ku magezi amalala n’aleeta ku katimba akamaaso amatono.

Bano singa abakwata n’abateeka mu kkomera n’abalagira bakomyewo bye babbye basobola okukikola.”Katikkiro bwe yagambye. Okutuuka wano yabadde asoose kulabula Bannayuganda abaagala ssente ez’amangu ne beenyigira mu Crypto Currency.

Yagambye nti ekintu kyonna ekikusuubiza ssente ez’amangu kibeera kifu kubanga omuntu okufuna mu busuubuzi ateekwa okubukola okumala akaseera n’alyoka abifunamu.

Yalabudde abantu okwewala amagendo ne ‘ddiiru’ kubanga omuntu alina okubeerako ky’atunda oba ky’osuubula okufuna ssente. Yalabudde abazadde ku baana baabwe nti bave buto nga babagaana okwetoolatoola. “ Bw’otuma omwana ku dduuka akasente konna akafi sseewo kazibeere nnusu kikumi omwana zimuggyeko.

Yeewuunyizza nti waliwo n’abazadde ababba amasannyalaze ng’abaana babatunuulidde.” bw’agamba.

 AMASIRO G’E KASUBI BAGAGGULAWO JULY Baminisita ba Kabaka nabo baawadde lipooti ezikwata ku mirimu mu bitongole eby’enjawulo. Omumyuka wa Katikkiro asooka, Hajji Twaha Kawaase ye yasoose n’ategeeza nti mu nteekateeka ya Buganda Namutayika 2013 – 2018 beetaaga obuwumbi 189 okugituukiriza naye ssente zijja kasoobo.

Wabula omwaka oguwedde ku bye baalina okukola bakozeeko ebitundu 85 ku 100 kyokka yennyamidde nti mu kkooti ya Kisekwa emisango mingi nnyo naye abalamuzi batono ate nga ne ssente zeetaagisa okukola emirimu. Yagambye nti ne kye bazudde nti waliwo abazzukulu b’ebika abanyomoola kkooti eno.

Bwe yamalirizza okwogera olwo sipiika n’asaba basembe lipooti gye yawadde kyokka Omukiise Sylvia Kirabira akiikirira abavubuka n’ategeeza Olukiiko nti ekimwewuunyisa lipooti nnyingi bwe bazisindika mu bukiiko tebaddamu kuziwuliza kubanga tebazikomyawo mu lukiiko olwamu okuziteesaako.

Minisita w’obulambuzi Kyewalabye Male yawadde lipooti n’ategeeza nti webanaakuliza Amatikkira nga July 31, Amasiro gajja kuba gawedde nga Kabaka agatongoza. Kuno baakugattako okutumbula omutindo gw’ennyanja ya Kabaka nga bakola enguudo ezigyetoolodde n’okutangira ebicaafu ebiva mu mayumba ageetooloddewo.

Minisita Prosperous Nankindu Kavuba yayanjudde enteekateeka y’ebyobulamu nti Mmengo ng’ekolagana n’ekitongole kya International Medical Link bagenda kutandika okuwa abakozi b’Obwakaba yinsuwa y’obulamu gye batuumye Tubeere Balamu eno etandika mu March w’omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.