TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 28th January 2020

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Sad1 703x422

ABAGANDA balina enjogera egamba nti, omwana omuwala asera na nnyina. Kino kiraga nti ssinga omuzadde omukazi abaako ekyama, akibuulira muwala we. Mu mbeera eno, waliwo abazadde ate abasusse.

Bano batuuka ku ssa ly’okuyingiza abaana baabwe mu bikolwa by’obwenzi, bo nga balowooza nti tekirina mutawaana. Embeera eno wadde abakazi bagituukamu, esinga mu basajja. Gladys Nakayiza ow’e Gangu ku luguudo lw’e Busaabala embeera eno agiwanda lulusu! “Omwami wange ayagala nnyo mutabani waffe.

Bwe yatandika okusimbula ekigere nga buli wiikendi tamuleka waka. Kino nkyagala kubanga nange abeera ampewudde ne nsigaza kukola mirimu gya waka. Omwana bw’akomawo ng’atandika okunnyumiza by’alidde n’ebimusanyusizza.

Lumu twalina akabaga k’okuyingira amaka gaffe, omuvubuka eyakwata omukolo n’ampa akatambi ne tutandika okukalaba. Tuba tulaba mutabani wange kwe kuηηamba nti, ‘ mmami mmami, laba Auntie’ ow’eri gye tugenda ne ddadi..’ Kino yakiddiηηana ng’alaba sifuddeeyo.

Okwetegereza ng’omukazi mmumanyi, kubanga mukwano gwa kizibwe wange. Ensonga nazigoberera okukkakkana nga mutuuseeko gy’asula era ng’ali lubuto lukulu...”

TAATA YANDAGANGA BA ‘AUNTIE’ Druscila Mary Nantege, ow’e Kitintale agamba nti ye okuva mu buto yali nga ‘daddy’s girl’. “ Ddadi yantwalanga mu ssomero eddungi, ate nga mu luwummula, ng’atambula nange buli gy’alaga,” Bwe twawummulanga, ddadi ng’ankima naye nga tulina gye tusooka okubeera ne tumalayo nga wiiki emu oba bbiri nga wa njawulo era ng’aηηamba, ‘ono maama wo’ agenda kukuyambako okukusomesaamu. Olwo awaka nga maama amugamba nti antutte mu koocingi.

Yateranga okuηηamba mmuwerekereko ewa ‘Auntie’ oba mukwano gwe, naye nga bwe tutuukayo, nga beesibira mu kisenge. Lumu olwaba okwesibirayo, nange ne ngwa wansi w’oluggi ndabe ekibaayo kumbe bandaba! Ddadi yalubandula omulundi gumu n’ankuba ne nnyiiga.

Bwe twaddayo awaka ne mbuulirako maama kumbe mbyonoonye, ekyaddamu kwali kulwana. Emirundi egyaddirira, nga bwe tuba tuli kumpi okutuuka awaka, taata ajja anfalaasira obutayogera gye tuva ne bye ndabye.

DDADI YANGULIRANGA EBYOKULYA

Ye Julian Bakunda ow’e Nankuwadde agamba nti, “Nayagalanga nnyo okutambula ne taata ng’ampa ebyokulya bye njagala. Bwe twavanga mu kkanisa nga tuyitira mu wooteeri ne nsaba bye njagala, olwo n’andekera weyita n’ayambuka amadaala. Wabula nga mmulinda ne nkoowa ne nneebaka ku mmeeza.

Oluusi nga weyita ajja n’antwala mu mmotoka, ηηenda okuzuukuka nga tudda waka, era ng’ebiseera ebisinga bw’aba akomawo abeera n’omukazi gw’ajja naye olwo ne tumuleetako mu mmotoka oluusi ne tubaako we tumuleka.

TAATA YANTUMANGA KKONDOMU

Moses Serwano ow’e Masajja agamba nti yakula ne muka kitaawe“Taata yandaga omukwano mungi ate engeri gye nali omulenzi omukulu nga tuyita ffembi kumpi buli wamu. Oluusi bwe twagendanga naye akawungeezi ng’ampa 20,000/- mmugulireko kondomu olwo ng’aηηamba bbaalansi mmutwale.

Kino kyansanyusanga kubanga ekinene ennyo nakozesangako 3,000/- zokka olwo ezisigadde ne zibeera zange. Era bino nga siyinza kubinyegako nga tuzzeeyo awaka nga ne taata akimanyi.

DDADI YANFUNIRANGA BE NZANNYA NABO

Lawrence Mulindwa ow’e Nansana agamba nti balina omukwano ogw’enjawulo ne kitaawe, kubanga tewali mulundi na gumu lwe yali ayasizza ebyama bye eby’abakazi n’abawala b’aganzaDdadi kuva dda ng’anneesiga. Nga bw’abaako baganzi be b’agenda okusisinkana agenda nange. Kino ndowooza yakikolanga okulaga mmami nti gy’agenze ali mu makubo matuufu, engeri gy’agenze nange. Bwe twatuukanga gye tuba tulaze naddala ewa ‘Auntie’ nga ddadi afuba okulaba nga ndi bulungi mu mbeera zonna.

Banguliranga ebyokulya n’okuntwala mu bifo awali ebyokuzannyisa. Bwe nakula ne mpeza emyaka 19, bwe yabanga agenda mu bantu be nga nange oluusi anfunira abambeesabeesa abagya mu myaka gyange.

Oluusi bwe twabanga tuluddeyo nga nze mpeebwa obuvunaanyizibwa okubuulira mmami ng’omupiira gw’emmotoka bwe gwatwabiseeko, oba amafuta bwe gaatuweddeko nga tulina okulinda agatuleetera n’ebiringa ebyo. Mmami bwe yalabanga nti nze mbinnyonnyola ng’abitwala nti bituufu.”

ABAZADDE BALOWOOZA NTI ABAANA BATO

Edith Mukisa, omukugu mu kubuulirira abaagalana agamba nti abazadde bayingiza abaana mu nsonga zino nga balowooza nti bato tebategeera bikolwa byabwe. Kyokka omwana ono gy’okoma okumweyambisa, alaba ekikolwa kimu n’atandika okuzza akatambi emabega ku by’ozze omutuma, engeri gy’oyogera ng’oli n’omuntu n’afuna ekyokuddibwamu. Abantu tebakyaswala, ebintu ebimu babikola mu lujjude ng’abaana balaba ne beemoola oba okwenywegera ate bye bataakola nga bali ne maama oba taata w’abaana .

ABAKAZI BAYITA BAGANZI BAABWE ‘UNCLE’ OKUBUZAABUZA Kino abakazi bakikola ng’alaga abaana nti omuntu oyo waaluganda. Ab’ekika kino batuuka n’okubaleeta awaka ne babakyalira , wabula omwana kyangu okumanya nti ‘uncle’ oyo alina ensonga endala ne mmami.

Okugeza oyinza okwesanga nga ‘uncle’ bw’akyala mmami yeebuga nnyo ng’amutegekera ebyokulya, ate nga takola bwatyo ng’ategekera taata w’abaana. Awo omwana ategeera amangu abeera yakitegedde dda nti oyo si ‘uncle’ wabula muganzi wa mmami we.

Waliwo abatuuka n’okutuma abaana mu baganzi baabwe naddala bw’aba afunye okusoomoozebwa mu by’ensimbi. Ne weesanga ng’omwana ategedde nti ssente ezaaguze ebintu bye yatutte ku ssomero ‘uncle’ ye yaziweerezza mmami. Ate oluusi ne mmami n’akikkaatiriza ng’agamba nti, ‘olaba ‘uncle’ oyo y’atubeezaawo, kitammwe yatusuulawo’! ‘Uncle’ ono amala n’atuuka awaka era ng’abaana bamumanyi ng’ajja kyere kuba taata w’abaana tasiibawo ate bw’aba tasobola kutuuka waka, abaana be batuma ne bafuuka bakayungirizi.

Oluusi ebintu bitera okukyukira ddagala ate omusiguze nga y’asasulira n’omwana ffi izi, okugula ebikozesebwa awaka n’ebyetaago by’okussomero ng’omwana talina bw’aloopa nnyina. Ebiva mu kino oluusi bwe busambattuko mu maka, naddala ng’omusajja ategedde nti maama w’abaana alinayo abasajja abalala b’abiita.

Ddadi kuva dda ng’anneesiga. Nga bw’abaako baganzi be b’agenda okusisinkana agenda nange. Kino ndowooza yakikolanga okulaga mmami nti gy’agenze ali mu makubo matuufu, engeri gy’agenze nange. Bwe twatuukanga gye tuba tulaze naddala ewa ‘Auntie’ nga ddadi afuba okulaba nga ndi bulungi mu mbeera zonna. Banguliranga ebyokulya n’okuntwala mu bifo awali ebyokuzannyisa. Bwe nakula ne mpeza emyaka 19, bwe yabanga agenda mu bantu be nga nange oluusi anfunira abambeesabeesa abagya mu myaka gyange. Oluusi bwe twabanga tuluddeyo nga nze mpeebwa obuvunaanyizibwa okubuulira mmami ng’omupiira gw’emmotoka bwe gwatwabiseeko, oba amafuta bwe gaatuweddeko nga tulina okulinda agatuleetera n’ebiringa ebyo. Mmami bwe yalabanga nti nze mbinnyonnyola ng’abitwala nti bituufu.” ABAZADDE BALOWOOZA NTI ABAANA BATO Edith Mukisa, omukugu mu kubuulirira abaagalana agamba nti abazadde bayingiza abaana mu nsonga zino nga balowooza nti bato tebategeera bikolwa byabwe. Kyokka omwana ono gy’okoma okumweyambisa, alaba ekikolwa kimu n’atandika okuzza akatambi emabega ku by’ozze omutuma, engeri gy’oyogera ng’oli n’omuntu n’afuna ekyokuddibwamu. Abantu tebakyaswala, ebintu ebimu babikola mu lujjude ng’abaana balaba ne beemoola oba okwenywegera ate bye bataakola nga bali ne maama oba taata w’abaana . ABAKAZI BAYITA BAGANZI BAABWE ‘UNCLE’ OKUBUZAABUZA Kino abakazi bakikola ng’alaga abaana nti omuntu oyo waaluganda. Ab’ekika kino batuuka n’okubaleeta awaka ne babakyalira , wabula omwana kyangu okumanya nti ‘uncle’ oyo alina ensonga endala ne mmami. Okugeza oyinza okwesanga nga ‘uncle’ bw’akyala mmami yeebuga nnyo ng’amutegekera ebyokulya, ate nga takola bwatyo ng’ategekera taata w’abaana. Awo omwana ategeera amangu abeera yakitegedde dda nti oyo si ‘uncle’ wabula muganzi wa mmami we. Waliwo abatuuka n’okutuma abaana mu baganzi baabwe naddala bw’aba afunye okusoomoozebwa mu by’ensimbi. Ne weesanga ng’omwana ategedde nti ssente ezaaguze ebintu bye yatutte ku ssomero ‘uncle’ ye yaziweerezza mmami. Ate oluusi ne mmami n’akikkaatiriza ng’agamba nti, ‘olaba ‘uncle’ oyo y’atubeezaawo, kitammwe yatusuulawo’! ‘Uncle’ ono amala n’atuuka awaka era ng’abaana bamumanyi ng’ajja kyere kuba taata w’abaana tasiibawo ate bw’aba tasobola kutuuka waka, abaana be batuma ne bafuuka bakayungirizi. Oluusi ebintu bitera okukyukira ddagala ate omusiguze nga y’asasulira n’omwana ffi izi, okugula ebikozesebwa awaka n’ebyetaago by’okussomero ng’omwana talina bw’aloopa nnyina. Ebiva mu kino oluusi bwe busambattuko mu maka, naddala ng’omusajja ategedde nti maama w’abaana alinayo abasajja abalala b’abiita.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...