TOP

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

By Musasi wa Bukedde

Added 28th January 2020

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Fut1 703x422

Byan Ssemanda ng'annyonnyola

BRYAN Ssemanda omukugu mu kubudaabuda abaagalana okuva mu Bryan Naturals agamba nti bwe weeyambisa abaana mu bwenzi, obeera osize ensigo gy’otosobola kukungula.

Omwana wo atuuka ekiseera nga takyakuwa kitiibwa ate n’amaka omaliriza ogoonoonye. Omwana ono obeera omusizeemu ensigo ey’obukumpanya, obwenzi n’obulimba.

Omwana bw’omukozesa ng’omutuma eri baganzi bo, abeera takyasobola kukwesiga nga muzadde we.

Olw’ebikolwa byo eby’obwenzi by’alaba, kyangu okutandika obutakuwa kitiibwa. Obeera weeteekako omusaalaba ogw’okwekweka kuba olina okubikkirira ebikolwa byo eby’obwenzi ng’olina okumugulirira aleme kukuloopa wa maama we.

Ate obeera tokyasobola kumugunjula ng’omuzadde kubanga ekifaananyi kyo eky’okuba omuzadde gyali obeera wakitta ekiyinza okuvaako omwana okwonooneka.

Omwana ono ne bw’akula obeera tosobola kumubuulirira nsonga yonna n’agitwala ng’ekikulu naddala ebikwatagana n’obufumbo, kuba tosobola kumugamba nti obwenzi bubi ng’ate gwe obukola mu maaso ge.

Olw’okuba omwana ono abeera akyali muto, ekyama kyo era amala n’akyasa ekiyinza okuviirako amaka okusasika sinakindi okumukyawa. Mu mbeera eno, tokkiriza mwagalwa wo oba omusiguze kusemberera baana bo ng’oli mu bwenzi kubanga abaana tebalina kumanya ku bikolwa byo eby’obwenzi.

Ssemanda yayongeddeko nti, omuzadde bw’oyingira mu bikolwa by’obwenzi, bikole mu ngeri yo n’omwagalwa wo nga toyingizzaamu baana kubanga gwe abeera yeeyonoonera abaanabo.

Omwana bw’akula n’atandika okubikola, kizibu okumubuulirira nti obwenzi muze mubi ng’akuze akulaba obikola. Agattako nti; Abazadde tubeereko n’ensonyi. Oyinza okwemoola ne “uncle’ oba ‘aunt” ng’omwana alaba n’atandika okubyogera mu bantu oba okubikola banne nga bazannya n’aboonona.

Bwoba oli mufumbo, tolina kwenda, wabula weekuumire munno okukuuma ekitiibwa ky’obufumbo bwammwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu