TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

By Musasi wa Bukedde

Added 28th January 2020

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut2 703x422

Ssenga Mukisa ng'annyonnyola

Ddadi kuva dda ng’anneesiga. Nga bw’abaako baganzi be b’agenda okusisinkana agenda nange. Kino ndowooza yakikolanga okulaga mmami nti gy’agenze ali mu makubo matuufu, engeri gy’agenze nange.

Bwe twatuukanga gye tuba tulaze naddala ewa ‘Auntie’ nga ddadi afuba okulaba nga ndi bulungi mu mbeera zonna. Banguliranga ebyokulya n’okuntwala mu bifo awali ebyokuzannyisa. Bwe nakula ne mpeza emyaka 19, bwe yabanga agenda mu bantu be nga nange oluusi anfunira abambeesabeesa abagya mu myaka gyange.

Oluusi bwe twabanga tuluddeyo nga nze mpeebwa obuvunaanyizibwa okubuulira mmami ng’omupiira gw’emmotoka bwe gwatwabiseeko, oba amafuta bwe gaatuweddeko nga tulina okulinda agatuleetera n’ebiringa ebyo. Mmami bwe yalabanga nti nze mbinnyonnyola ng’abitwala nti bituufu.”

ABAZADDE BALOWOOZA NTI ABAANA BATO

Edith Mukisa, omukugu mu kubuulirira abaagalana agamba nti abazadde bayingiza abaana mu nsonga zino nga balowooza nti bato tebategeera bikolwa byabwe.

Kyokka omwana ono gy’okoma okumweyambisa, alaba ekikolwa kimu n’atandika okuzza akatambi emabega ku by’ozze omutuma, engeri gy’oyogera ng’oli n’omuntu n’afuna ekyokuddibwamu.

Abantu tebakyaswala, ebintu ebimu babikola mu lujjude ng’abaana balaba ne beemoola oba okwenywegera ate bye bataakola nga bali ne maama oba taata w’abaana .

ABAKAZI BAYITA BAGANZI BAABWE ‘UNCLE’ OKUBUZAABUZA

Kino abakazi bakikola ng’alaga abaana nti omuntu oyo waaluganda. Ab’ekika kino batuuka n’okubaleeta awaka ne babakyalira , wabula omwana kyangu okumanya nti ‘uncle’ oyo alina ensonga endala ne mmami.

Okugeza oyinza okwesanga nga ‘uncle’ bw’akyala mmami yeebuga nnyo ng’amutegekera ebyokulya, ate nga takola bwatyo ng’ategekera taata w’abaana. Awo omwana ategeera amangu abeera yakitegedde dda nti oyo si ‘uncle’ wabula muganzi wa mmami we.

Waliwo abatuuka n’okutuma abaana mu baganzi baabwe naddala bw’aba afunye okusoomoozebwa mu by’ensimbi. Ne weesanga ng’omwana ategedde nti ssente ezaaguze ebintu bye yatutte ku ssomero ‘uncle’ ye yaziweerezza mmami.

Ate oluusi ne mmami n’akikkaatiriza ng’agamba nti, ‘olaba ‘uncle’ oyo y’atubeezaawo, kitammwe yatusuulawo’! ‘Uncle’ ono amala n’atuuka awaka era ng’abaana bamumanyi ng’ajja kyere kuba taata w’abaana tasiibawo ate bw’aba tasobola kutuuka waka, abaana be batuma ne bafuuka bakayungirizi.

Oluusi ebintu bitera okukyukira ddagala ate omusiguze nga y’asasulira n’omwana ffi izi, okugula ebikozesebwa awaka n’ebyetaago by’okussomero ng’omwana talina bw’aloopa nnyina. Ebiva mu kino oluusi bwe busambattuko mu maka, naddala ng’omusajja ategedde nti maama w’abaana alinayo abasajja abalala b’abiita.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...