TOP

Ebizuuse ku yavugako Museveni mu nnyonyi

By Paddy Bukenya

Added 29th January 2020

Ebizuuse ku yavugako Museveni mu nnyonyi

Sit18 703x422

Maj. Naomi Karungi (ku kkono) lwe yali ne makanika w’ennyonyi z’amagye Maj. Docus Angella Ayupo.

EGGYE lya UPDF litaddewo akakiiko okutandikirawo okubuuliriza ekyavuddeko ennyonyi namunkanga omwafiiridde munnamagye Maj. Noami Karungi ng’ono eyavugako ne Pulezidenti Museveni.

Maj. Karungi yafudde ne Cadet Lt. Benon Wakaalo mu kabenje k’ennyonyi namunkanga ekika kya Jet Range eyagudde ku lusozi Ndeese mu ggombolola y’e Bulo mu disitulikiti y’e Butambala Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yategeezezza nti, ennyonyi eno ya ggye ery’omu bbanga erya Uganda People’s Defence Air Force (UPDAF). Abaafudde baabadde mu kwegezaamu mu nnyonyi eno era n’asaasira ffamire zaabwe.

Okusinziira ku bantu abaabaddewo ng’akabenja kagwawo, ennyonyi yalabiddwa nga yeebongera mu bwengula nga kino kyabaddewo okumala eddakiika nga 15 n’ekyaddiridde kuwanatuka waggulu n’eyerindiggula ku ttaka nga kirabika bwe yabadde yeebonga , payirooti yalemereddwa okugitereeza bw’etyo n’egwa Kigambibwa nti Maj.

Kalungi yabadde ayingiriza Lt. Wakaalo gw’abadde atendeka mu bukodyo obw’okubonga ennyonyi nga yeetegekera okufuluma mu April 2020 wabula ennyonyi yabalemeredde ne yeerindiggula ekigwo ku lwazi n’ekutukakutuka ebipapajjo.

Abatuuze abali okumpi n’olusozi luno bawulidde ekibwatuka ku lusozi bagenze okutuukawo nga mukka gwe gunyooka ku yingini n’ebipampagalo ebirala ebibaddemu ebimu ku bitundu by’abantu abaafiiriddemu. Wabula waabaddewo akasattiro amagye bwe gaazinzeeko ekifo ewaagudde ennyonyi ne bagobawo abantu ababadde beeyiyeewo mu bungi okulaba ogubadde.

Abajaasi ab’eggye ery’omu bbanga baavudde e Ntebe ne beegatta ku poliisi y’e Katonga eyakulembeddwaamu Benald Akanwasa ne batandika okukuhhaanya ebipapangalu ne kalonda omulala ow’okubayambako mu kunoonyereza.

Emirambo gyombi egyabadde gitemeddwatemeddwa ebipapajjo by’ennyonnyi byakuhhaanyiziddwa ne gissibwa mu biveera ebyeru ne giwatwalibwa mu ddwaaliro ly’amagye e Mbuya wakati mu kwerinda.

MAJ NAOMI KARUNGI Y’ANI Maj. Naomi Karungi (RO 08135) 31, mwana nzaalwa ey’e Ntungamo mu Ankole. Bukedde yayongerako ne Maj. Karungi mu Mrch 2019, emboozi ye n’efuluma ku lunaku lw’abakyala nga March, 8 n’ayogera engeri gye yayingira amagye n’atuuka n’okufuuka omuvuzi w’ennyonyi.

Yagamba bwati: “Nze RO 08135, Maj. Naomi Karungi 30, nvunaanyizibwa ku kuvuga ennyonyi z’amagye ezitambuza abajaasi abagenda ku misoni ez’enjawulo wano mu ggwanga n’ebweru ng’ansinziira ku kitebe ekikulu ekya Ntebe Airforce Base.

Neegatta ku magye mu 2004 oluvannyuma lw’okumaliriza diguli yange mu Social Work in economics okuva ku yunivasite e Makerere.

Nali nnoonya mulimu ebiseera ebyo era omukisa ne gujja bwe baalanga emirimu gy’okuvuga ennyonyi z’amagye ate ng’obuyigirize beetaaga diguli yonna, okusoomooza kwali kungi kuba nasooka kutendekebwa magye nga sinnaba kuyiga bya nnyonyi.

Buli kintu neesanga nga kipya ate nga ndi muwala mutono ddala era nga bw’ondaba naye nasobola okusoma kkoosi ya Cadate, ne nsoma eya Commander akutuusa bwe nakuguka mu byennyonyi nga newankubadde byali byetaaga obwongo bungi nnyo naye nakituukiriza kuba nali nkyagala.

Nsobodde okutambula amawanga mangi nga nvuga abajaasi bannange era mu 2015 nafuna omukisa ogutagenda kuva mu byafaayo byange bwe navuga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuva e Rwakitula okutuuka e Ntebe.

Ekirala kye sigenda kwerabira lwe lunaku bwe twali mu bbanga e Karamoja, bbaatule y’ennyonyi n’eggwaako omuliro olwo ennyonyi n’etabuka kyokka ng’empewo nnyingi mu bbanga naye nNeebaza Katonda nti, nakozesa obukugu bwonna ne ngissa wansi mpola nga tekoze kabenje.

OBUBENJE BY’ENNYONNYI Z’AMAGYE OBUZE BUGGWAWO

1 August 2012 namunkanga za UPDF sSatu ezaali zigenda e Somalia zaalemererwa ne zigwa mu nsozi e Kenya. 2 March 2010, namunkanga ya poliisi eyalimu eyali Katikkiro wa Uganda Polof. Apolo Nsimbambi (mugenzi) yatomera ettabi ly’omuti e Bugiri n’egwa.

Nsibambi baamuggyayo bukubirire okumutwala mu ddwaaliro e Mulago e Kampala. 3 Endala yali eva mu Uganda n’etta Garang

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....