TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Ssenyonga akyazizza Teddy ne basensula Bugingo

Paasita Ssenyonga akyazizza Teddy ne basensula Bugingo

By peter ssaava

Added 30th January 2020

PASITA Jackson Ssenyonga ne mukyala we Eve Ssenyonga baakyazizza Teddy Naluswa Bugingo ku ttivvi n’alambulula engeri gye yategeeramu nti bba yali aganzizza omuwala Suzan Makula Nantaba eyavaako obufumbo bwe ne Bugingo okutabuka.

Eve1 703x422

Ssenyonga ne mukyala we Eva abaakyazizza Teddy (ku ddyo).

Bya PETER SSAAVA

PASITA Jackson Ssenyonga ne mukyala we Eve Ssenyonga baakyazizza Teddy Naluswa Bugingo ku ttivvi n’alambulula engeri gye yategeeramu nti bba yali aganzizza omuwala Suzan Makula Nantaba eyavaako obufumbo bwe ne Bugingo okutabuka. 

Ssenyonga aludde ng’agugulana ne Bugingo era okukyaza Teddy ku ttivvi ya Ssenyonga ne basensula Bugingo kyalabiddwa ng’akabonero akongera okusajjula
olutalo wakati wa Ssenyonga ne Bugingo. 

Baamukyazizza ku makya g’eggulo mu pulogulaamu Ssenyonga gy’akola ku Top TV eyitibwa ‘An Hour With Pr. Ssenyonga’.

 eddy ngatuuka mu situdiyo Teddy ng'atuuka mu situdiyo.

 Eky’enjawulo ku mulundi guno, pulogulaamu eno Ssenyonga yagikubirizza ali wamu ne mukazi we Eva era yatambulidde ku nsonga z’obufumbo n’ebyatuukawo wakati wa Bugingo ne Teddy ebyaviirako Bugingo okuva mu makaage e Kitende n’adda e Lungujja w’asula ne Susan Makula gw’ayogerako ennaku zino nti ye mukazi we.

Obwedda Ssenyonga ne mukazi we babuuza Teddy ebibuuzo, ate awamu nga bajjuliriza ebyo Teddy bye yabadde ayogedde; okukkaatiriza ensonga naddala ku by’ensonga z’obufumbo bwe ne Bugingo.

Ebibuuzo byatambudde bwe biti: 

Ssenyonga: Suzan mwakolera nga mu kizimbe kye kimu ofuluma naye n’afuluma, enkolagana yo ne Suzan yali etya? 

Teddy: Si kukolera mu kizimbe kimu. Nga bw’onoolaba nti mutaddewo Media abantu ne bajja okusaba emirimu era mutabani wa musumba Sserwadda oyo David Martins ye yali avunaanyizibwa ku bakozi.

Nze okusinga nnabeerangayo nga waliyo enkiiko, naye okusinga ng’abakozi bakolagana ne Martin.
 
Ssenyonga: Suzan yali mukozi nga n’enkiiko azibeeramu nga mukwataganya ensonga, kyokka nga tolaba bubonero bwonna bulaga nti waliwo enkolagana ya Suzan ne Bugingo? 

Teddy: Nedda, nnali sibulaba.
 
Ssenyonga: Ddi lwe wasooka okumanya nti waliwo ekigenda mu maaso?

Teddy: Mutabani wa Serwadda, Martin ye yasooka okwogera n’agamba nti yeekengedde nga mukama we alina omuwala omukozi gw’ayagala era obubaka
obwo n’abuteeka ku ‘WhatsApp’ ne butambula ku ‘Whatsapp’ era nange gye kantuukirako.

Bino byonna obwedda abyogera nga Ssenyonga ne mukazi we bawuuna mu ngeri y’okwewuunya n’okwennyamira kw’ebyo Teddy bye yabadde abattottolera.
 
Eve Ssenyonga: Gwali mwaka ki ogwo we wamanyira nti waliwo ekizibu?

 asita senyonga  ku kkono ukyala we ve senyonga nga beetegereza empeta ya eddy Pasita Ssenyonga ( ku kkono), Mukyala we Eve Ssenyonga nga beetegereza empeta ya Teddy.

 

 
Teddy: Twali mu 2016 era omukulu (Bugingo) bwe yadda awaka ne mmubuuza nti bino ate biki bye mpulira era ye kwe kungamba nti “Omwana oyo Martin muzibu
nnyo, tayagala tubeere wamu kubanga taata we (Serwadda) yampisa bulungi nnyo era nange kwe kumuwa omulimu, naye kati we bituuse alabika ayagala kunnyonoonera maka.”
 
Teddy yagasseeko nti: Omukulu nnamubuuza mu bukkakkamu nti, “Naye olowooza tewali nnyo nsonga lwaki akola bwatyo?”
 
Awo n’anziramu nti, “Omwana oyo muzibu nnyo.”
 
Nnamukyukira ne mugamba nti, “Naye okimanyi nti olunaku lumu nnava ku Kkanisa ne nzijja ku ofiisi yo ne nkusanga ng’oggaddewo oluggi nga mutudde mu ofiisi n’omuwala oyo, mwali munyumya biki?”
 
Awo Eve Ssenyonga we yabuulizza nti “Wagenda ku offiisi n’osanga ng’oluggi luggale?”
 
Teddy: Yes, lwali luggale era ngenda okukonkona nnabasangamu babiri nga batudde.
 
Eve Ssenyonga: Awo omutima ne gukukubira nti waliwo ekitali kituufu!
 
Teddy: Yee, era nnagamba baze nti tolaba omwana Martin kye yayogerako
nti kituufu nnyo?

 musumba ugingo Omusumba Bugingo

 

Awo Ssenyonga we yagattiddeko nti singa obubonero obwo we bwabeererawo ng’omusajja wa Katonda yandibadde amanya nti agenze mu kukemebwa, yanditandikiddewo okwenenya mu maaso ga Katonda n’agamba nti, “Ekintu kino kijja kundetera obizibu, kankireke ne bw’atandikwetondedde olw’amalala, naye n’ava mu kikemo nga tekinnamumegga.”


Teddy yayongedde okuttottola ebyaliwo nti: Omukulu yangamba nti naye omanyi Teddy, kino sigenda kukiddamu (eky’okwesibira mu ofiisi n’omuwala) si kirungi
nange nkirabye.

Ssenyonga: Kino kyeyongera kitya, kigenda kitya mu maaso okutuuka we kiri kati?

Teddy: Omukulu yakola olukiiko ku Kkanisa ye n’ayita abakadde b’Ekkanisa n’abategeeza nti, “Martin ayagala kunnyonoonera maka, nze siyinza kwagala mukozi
obukozi ‘just a mere’ mukozi.”
 
Kino kyabaawo era n’okutuusa kati nneewuunya okulaba nga bapepeya babiri ne mu Kkanisa ng’amwanjulira abantu nga mukyala we ate nga yali amwegaana. 

Eve Ssenyonga: Kumbe omukozi yazze ng’aseetinze (nga yeetegese) uhmm. Kansome ekyaawandikibwa mu Genesis 2:24 “Omusajja ky’anaava aleka kitaawe ne nnyina ne yeetaba ne mukazi we, nabo abanaabanga omubiri gumu.” 

Okiraba ekyo, abantu bwe baba bafuuse omubiri gumu kitegeeza bali wamu kati okuleetawo owookusatu, ono ateekwa okuba ng’afudde bufi. 

Ssenyonga: Bwe tufuuka omuntu omu oyo yenna owookusatu atwegattamu aba kikulekule.

Eve Ssenyonga yakkaatirizza nti: Mukama yafuula Teddy ne Bugingo omuntu omu ekitegeeza owookusatu eyabeegattamu omuyise ki? (Ssenyonga n’addamu nti
kikulekule kuba taba mu nnono za Katonda. Katonda yatonda omusajja n’amuwa olubiriizi lwe lumu sso, teyagamba nti zino ze mbiriizi zo.” 

Eve Ssenyonga: Abasajja bonna mu Bayibuli abaagwa mu (kikemo) kino balina engeri gye babonerezebwamu olwebyo ebikolwa bye bakoze. Bugingo by’akola byalimu mu Bayibuli naye Katonda teyakikkiriza naye Bugingo ezo ennyiriri talina
kyazoogerako. 

Eve Ssenyonga: Olaba Daudi yakikola ne yeenenya n’akaaba n’asiiba n’agwa wansi namanya nti kye yakoze kikyamu! Kaakati mwami Bugingo okumanya yagwa
kwenkakasiza nti yagwa kwe kugaana okwenenya. Omulokole yenna gy’ava ne gy’alaga, bw’agwa mu nsobi yeenenya naffe kino kye tumubanja. W’olabira nti omwoyo wa Mukama tali naye kati, ekibi yakikola mu lwatu ate n’atandika
n’okukisomesa abalala.
 

 ugingo nomuwala antaba akula gwe yaganza Bugingo n'omuwala Nantaba Makula gwe yaganza.

Eve Ssenyonga: N’oggya mukyala wo mu kifo ku kituuti kya Mukama n’oteekako omuwala gwe wabeera nga naye nga si na mukazi wo wadde mukyala wo, kuba yajja kubakolera n’omuteeka ku kituuti kya Mukama n’omufukaamirira
n’omuyita mukyala wo, ekyo kibi kya maanyi nnyo! 

Eve Ssenyonga oluvannyuma yabuuzizza Teddy nti: Singa Bugingo avaayo n’agamba nti, “I’m in sin (ndi mu kibi) munnange okiraba, n’asaba okumusonyiwa, omuddiramu?
 
Teddy: Nze wendi ewange n’abaana bange mu maka gange. Alina kwenenya
eri Katonda era wa kisa asonyiwa. 

Ssenyonga: “Omusajja akugobye gwe toyagala kugenda, agenda kuba n’omwana n’omukyala omulala; Singa anaakomawo gy’oli munaakwatagana mutya?
 
Teddy: Y’amanyi (Bugingo) kuba olaba Ibrahim Katonda “yadiiringa” (yamukolako) n’amugamba ky’alina okukola. Bwe tunaaba tumusabidde n’atereera (Bugingo), Katonda y’anaamukolako. Nze ng’omuntu sirina kye nnyinza kukola.
 
Awo Eve Ssenyonga we yabuulizza Teddy oba akyalina empeta era Teddy n’agibalaga. Eva yasabye empeta era Teddy n’agiggyako n’agiwa Eva olwo Eve ne bba Ssenyonga
ne bagiraga abalabi nga Ssenyonga bw’akkaatiriza nti, “Teddy empeta Bugingo gye
yamunaanika akyagikuumye.
 
Bugingo eyiye yagisuula!” Baalumbye ne Pasita Simeon Kayiwa owa Namirembe Christian Fellowship gwe baayogeddeko nti amaze ne mukazi we emyaka 30 mu bufumbo, kyokka alemeddwa okuwabula Bugingo ku kibi ky’alimu okumuyamba akiveemu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....