TOP

Omusajja ayidde poliisi n’ekwata muganzi we

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2020

OMUVUZI wa bboodabbooda Everest Kasigazi abadde avugira ku siteegi ya New Vision ku Jinja Road ajjiiridde mu nnyumba mu kiro ekyakeesezza ku Ssande oluvannyuma n’akwasa muganzi we Evelyn Kebiringi gw’abadde yaakaganza emyezi mukaaga gyokka.

Kebi2 703x422

Kasigazi eyafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu.

Bya MADINAH NALWANGA
 
OMUVUZI wa bboodabbooda Everest Kasigazi abadde avugira ku siteegi ya New Vision ku Jinja Road ajjiiridde mu nnyumba mu kiro ekyakeesezza ku Ssande oluvannyuma n’akwasa muganzi we Evelyn Kebiringi gw’abadde yaakaganza emyezi mukaaga gyokka.
 
Okusinziira ku baliraanwa bino byabaddewo ku ssaawa nga 6:30 ez’ekiro ekyakeesa ku Ssande omuliro bwe gwakwata omuzigo gwa Kasigazi gw’apangisa kyokka muganzi we n’abaana be yajja nabo mu bufumbo ne batafuna wadde obuvune wadde nga basula mu nnyumba emu eyo eyayidde.
 
Alexander Taskei muliraanwa eyasooka okudduukirira era eyatwala Kasigazi mu ddwaaliro, yategeezezza nti, olwawulidde omuliro n’azuukuka okudduukira n’akwata Kasigazi eyabadde ayidde okumutwala mu ddwaaliro e Kiruddu gye yafiiridde.
 
Agambye nti abasawo olwabuuzizza omukazi ekyavuddeko omuliro okwokya omuntu omu yekka, yagambye nti mu ntebe mwabaddemu akadomola ka peetulooli era ng’omuliro gwatandikidde mu ntebe n’alabula bba asooke ofulumye ppikippiki n’abaana naye n’afuluma.
 
 ebirungi Kebirungi

 

Yazzeeyo okununula endagaano ze kwe yagulira ettaka awo peetulooli n’abaluka n’amwokya yenna.
 
Taskei agamba nti ekyewuunyisa bwe yaatuuse mu ddwaaliro yabadde ayambadde mu kaleega akaddugavu nga kalimu ebinusu bya 2,000/-, akapale akaddugavu ke baakazaako erya ‘legingi’ ne bbulawuzi eya jjiini nga bbulu ate ye nga muganzi we yabadde bukunya ne yeewuunya omuntu eyabadde yeebase ne bba mu ttumbi gy’asobola okubeera mu mbeera eyo.
 
Baamubuuzizza oba alina abantu be b’amanyi nga talina okuggyako okukisuubira nti, bayinza okuba nga babeera Bushenyi. Wabula muwala wa Kasigazi omukulu bwe yazze n’amukuba akaama nga tannafa, kwe kulagira poliisi e Kirudde ku ddwaliro bakwate Kebirungi era eno gye yaggyiddwa n’azzibwa ku poliisi ya Divizoni y’e Kira gy’akuumirwa.
 
Egimu ku mikwano gy’omugenzi gitegeezezza nti, yabadde ne ssente 900,000/- ate mu bbaala we yanyweredde omwenge, okusinziira ku ssentebe w’ekitundu Edrisa Byamukama agamba nti Kebirungi yalumbye bba mu bbaala ng’alina ennyondo n’okwekalaakaasa nti, obudde obwo bwabadde bubwe (Kebirungi) badde mangu awaka.
 
Bba bwe mu kugezaako okumuwooyawooya yamugulidde eccupa n’akkakkana. Bongerako nti, bwe bazze awaka omusajja yasigaddewo ate omukazi ne bamulabako ku ssaawa 5:30 ez’ekiro ng’ali n’omusajja omulala ate waayise akaseera katono omuliro ne gwokya ennyumba yaabwe abalala bonna abagisulamu ne basimattuka okuli ne ppikippiki.
 
Omu ku baganda b’omugenzi yagambye nti, basibuka Ibanda ku kyalo Isongoro nti, Kebiringi alina abaana babiri ng’asooka ekyatta kitaawe tekyategeerekeka ate ow’omwana owookubiri ye mulamu ate gw’abadde yaakafumbirwa naye afudde!
 
Baamugguddeko ogw’obutemu ku fayiro nnamba CRB: 031/2020 ku poliisi e Kira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...