TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooluganda lwa Moze Radio bakyalaajana nga wayise emyaka 2 bukya afa

Abooluganda lwa Moze Radio bakyalaajana nga wayise emyaka 2 bukya afa

By Martin Ndijjo

Added 30th January 2020

KU Lwomukaaga nga February 1, lwe gigenda kuwera emyaka ebiri bukya omuyimbi Moze Radio atuva ku maaso.

Moze1 703x422

Omugenzi Radio

Bya MARTIN NDIJJO

KU Lwomukaaga nga February 1, lwe gigenda kuwera emyaka ebiri bukya omuyimbi Moze Radio atuva ku maaso.

Ng’abawagizi be beetegekera okujjukira obulamu bwe ku mukolo ogutegekeddwa e
Kagga ku Lwomukaaga, abantu ab’enjawulo naddala abaali mikwano gye n’abanyumirwa myuziki we baatandise dda ebikujjuko omuli; okuzannya ennyimba ze ku mikutu egy’enjawulo, mu bbaala n’ebifo ebirala.

Bw’otuuka e Nakawuka ku kyalo Kagga we yaziikibwa, mmotoka ye ekika kya Jaguar mwe yaliiranga obulamu n’esswaga yakwamira mu muyembe oguli mu luggya era gy’osooka okukubako amaaso ng’otuuseewo.

Abagendayo emmotoka eno ebajjukiza bingi ku bulamu bwa Moze n’abamu okwekubisizaako ebifaananyi ng’ekijjukizo.

 malaalo awaaziikibwa oze adio we baagala okufuula ekifo kyobulambuzi Amalaalo awaaziikibwa Moze Radio we baagala okufuula ekifo ky’obulambuzi.

 Jane Kasubo, maama wa Moze alojja ennaku gy’ayitamu bukya aviibwako mutabani we obwedda gw’ayogerako ng’eyali amuyimirizaawo ne baganda be.

Ono agamba buli olukya embeera eyongera kukaluba kubanga bingi by’atakyasobola
kwetuusaako mutabani we bye yamukoleranga ate ng’abaana be abalala tebalina busobozi.

Mu byasinga okwogerako era by’agamba nti buli lw’akirowoozako kimwongera
obulumi ku mutima, gwe musango gwa Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy agambibwa okutta Moze kyokka ng’ono kkooti ya musonyiwa ogw’obutemu ne bamusingisa ogw’okumutta mu butanwa.

Oluvannyuma lw’omulamuzi okugamba nti wadde nga ye yamutta, ekigendererwa
kye tekyali kya kumutta kyokka yeekanga amusse era ogw’obutemu n’ogw’okutta mu
butanwa gya njawulo.

 nnyumba omwaziikibwa adio Ennyumba omwaziikibwa Radio

 



OMUKAZI EYEEYITA MAAMA WA MOZE ATABUDDE FFAMIRE

Wadde nga gigenda kuweera emyaka ebiri bukya Moze afa, eby’obugagga bye okuli ettaka, amaka, ennyimba ze n’ebirala bikyali mu ofiisi ekola ku nsonga y’abafu (Administrator General).

Kyokka kaweefube abooluganda lw’omugenzi gwe babaddeko okulaba ng’ebintu bino bidda mu mikono gyabwe oba egya nnyaabwe okusobola okubiddukanya n’okugonjoola ebikyasigalidde gye buvuddeko yaggyamu kigoye weezinge oluvannyuma lw’omukazi omulala okuvaayo n’ategeeza nti ye maama w’omugenzi .

Omu ku booluganda lw’omugenzi ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza
ng’omukyala ono ayitibwa Sylvia bwe yagenda mu ofi isi egaba ebbaluwa z’abaafa
(Death certificate) n’abategeeza nti ye maama wa Radio.

Jane Kasubo bwe yabuuziddwa ku nsonga eno oba omukyala ono amumanyi yagambye nti amumanyi, mukyala wa mulamu we naye si y’azaala Moze era tamanyi
lwaki kino yakyogera.

 yali emmotoka ya oze adio eri mu luggya lwa nnyina Eyali emmotoka ya Moze Radio eri mu luggya lwa nnyina.

 


“Moze ng’amaze P7 olw’okuba nnali sirina busobozi bumwongerayo ate nga ne kitaabwe yali agenze Kenya, namutwala e Jinja ne nsaba omukyala ono annyambeko era yamusomesa okuva mu siniya esooka okutuuka mu S6 kubanga ku yunivasite Gavumenti ye yamuweerera naye kati simanyi lwaki agamba nti ye maama we”
Kasubo bwe yagambye.

Wabula Kasubo yagambye nti ensonga eno n’endala ziri wa munnamateeka waabwe okulaba nga zigonjoolwa. Ono yeegasse ku George Asiimwe Kateeba eyasooka okuvaayo n’akaayanira Moze ng’agamba nti ye taata we bwe yali yaakafa.

Ku nsonga ya Kateeba, Kasubo yagambye nti kirabika ono waliwo eyamubawendulira
okubatabangula kubanga okuva lwe yajja ne bamugoba taddangamu kulabika.

 ukyala asubo maama wa oze Mukyala Kasubo maama wa Moze.

Bayooyoota ebiggya ekifo bakifuule ky’ebyobulambuzi

We twatuukidde e Kagga ku Lwokubiri nga baganda b’omugenzi, Frank Nakintije ne
Ssembajje bali mu kuyooyoota kiggya.
 

Munda mu nnyumba eyazimbibwa ku ntaana ya Moze bagenda mu maaso
n’okutonaatonamu. 

Baagala kuteekamu buli kimu ekyali kimukwatako ng’omuntu azze okulambula kimwanguyira okulaba n’okumanya ebyafaayo bye. 

Wadde nga basuubira abantu bangi okwetaba mu kusaba okugenda okubeerawo ku
Lwomukaaga awaka, Ssembajje yategeezezza nti bazitoowereddwa, tebalina nsimbi za kubaliisa n’okubateekerateekera. 

Wano kwe kusaba abazirakisa okubadduukirira basobole okukola omukolo ogujja mu kitibwa ky’omugenzi. Yagambye nti beetaaga ne ssente endala okumaliriza ennyumba omugalamidde omugenzi.
 
BATEEKATEEKA OKUFUULA EKIFO KINO EKY’EBYOBULAMBUZI

Ssembajje agamba nti kizibu okumala wiiki nga tebafunye bantu abasukka mu babiri okuli n’abava emitala w’amayanja abajja awaka okulaba awaaziikibwa Moze.
 
Mu mbeera eno we basinzidde okusaba Gavumenti nga bayita mu minisitule y’ebyobulambuzi okutongoza ekifo kino ng’eky’ebyobulambuzi.
 
Godfrey Kiwanda Ssuubi, minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obulambuzi era eyayitiddwa okubeera omugenyi omukulu ku mukolo ogutegekeddwa ku Lwomukaaga,
bwe yatuukiriddwa yakakasizza ng’aba famire ya Moze bwe baabasaba ekifo kino

kifuulibwe eky’ebyobulambuzi (Music Museum) era ono agamba nti e Kagga aakugendayo ne ttiimu y’abakugu okuva ku ‘Uganda museum’ abagenda okwekenneenya n’okuwa amagezi ag’ekikugu ku ng’eri ekifo kino gye kirina okubeeramu n’okukirabirira.
 
Ayagala kino kibeere eky’okulabirako eri abayimbi abalina kye bakoledde eggwanga abazze batuva ku maaso okuli; Paul Kafeero, Elly Wamala, Philly Lutaaya n’abalala.

 
 


 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....