TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo ekoze endagaano ne Gavumenti okutumbula ebyobulamu

Mmengo ekoze endagaano ne Gavumenti okutumbula ebyobulamu

By Dickson Kulumba

Added 31st January 2020

MMENGO ekoze endagaano ne gavumenti ya wakati okutumbula ebyobulamu mu bantu nga ya myaka etaano.

Nankindu1 703x422

Katikkiro Mayiga (owookusatu ku ddyo) abaavudde mu Gavumenti eya wakati n’ab’e Mmengo.Addiridde Mayiga ku ddyo ye Mumbejja Nassolo.

Bya DICKSON KULUMBA

MMENGO ekoze endagaano ne  gavumenti ya wakati okutumbula ebyobulamu mu bantu nga ya myaka etaano.

Bagenda kulwanyisa endwadde ezisinga okubeera ez’obulabe eri Bannayuganda nga
mukennenya.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga oluvannyuma lw’okuteeka omukono ku ndagaano eno ku lw’Obwakabaka yategeezezza nti ebyobulamu biri mu kifo kya ku mwanjo ddala gye bali ng’era ekikulu mu ndagaano eno bagenda kufuba okumanyisa
abantu ku ngeri gye bayinza okwewalamu endwadde.

“Tetusobola kuzza Buganda ku ntikko ng’abantu balwadde, Bannayuganda tebayinza kubeera yaddeyadde mu byenfuna nga balwadde.

Endagaano eno gye tutaddeko emikono olwaleero eruubirira okusaawo omukago
ogw’okulwanyisa endwadde ezisinga okukwata omuntu wa bulijjo nga mukennenya,” Mayiga bwe yategeezezza.

Omukolo guno gwabadde Bulange - Mmengo nga gavumenti eya wakati yakikiriddwa Dr. Richard Kabanda, kamisona avunaanyizibwa ku kubunyisa amawulire
ku kulwanyisa endwadde mu minisitule y’ebyobulamu nga naye yataddeko omukono ng’agatta ku gw’omuwandiisi w’enkalakalira, Dr. Diana Atwine.

Omumbejja Joan Nassolo ne baminisita baabaddewo.

Ku mukolo gwe gumu, Mayiga kwe yatongozza olukiiko olugenda okutegeka emikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka nga lukulirwa Minisita w’ensonga z’enkizo e Mmengo,
Daudi Mpanga ng’amyukibwa minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu e Mmengo
Joseph Kawuki. Kuliko n’Omwami w’essaza ly’e Kyaddondo Agnes Nakibirige Sempa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...