TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Aba DP e Mukono batongozza enteekateeka z’okuwandiisa bannakibiina abaneetaba mu kulonda kwa 2021

Aba DP e Mukono batongozza enteekateeka z’okuwandiisa bannakibiina abaneetaba mu kulonda kwa 2021

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2020

DP ekoze enteekateeka ku kulonda kwa 2021

Meeyageorgefredkagimunganyonyolawebuse 703x422

Meeya George Fred Kagimu ng'aliko by'annyonnyola Bannakibiina kya DP

Bya Joanita Nakatte

Abakulembeze b’ekibiina kya Democratic Party (DP) batongozza enkola ey’okutalaaga ebyalo eby’enjawulo ebikola ekibuga Mukono mu kaweefube ow’okuwandiisa abantu okuva wansi ng’enkola ey’okunyweza obukulembeze bwabwe n’okutuukiriza ekigendererwa kyabwe eky’okukyusa obukulembeze bw’eggwanga.

Enteekateeka eno yakulembeddwaamu Mmeeya w’ekibuga Mukono, George Fred Kagimu ku Festino Cite e Mukono. Yategeezezza nti, enkola eno egenda kuyamba abo bonna ababadde bakyalimu okutya okuyingira ebyobufuzi naddala ab’omu byalo abeetuddeko abandibadde ab’omugaso ssinga banaaba beetabye mu byobufuzi.

bamu ku bammemba ba  abeetabye mu lukungaana e ukonoAbamu ku bammemba ba DP abeetabye mu lukung'aana e Mukono

 

“Ekigendererwa kyaffe kya kulaba nga tuzimba ekibiina nga tutandikira ku byalo era y’ensonga lwaki tukung’aanye okutema empenda ku bwe tugenda okutuukirira abo bonna abandyetaaze okutwegattako n’ababadde balina ebizibu nga byekuusa ku ntalo mu kibiina kyaffe tuzigonjoole olwo tutandike omulimu awatali bukuubagano.” Kagimu bwe yagambye.

Kagimu yasabye abakulembeze bano okutambulira ku mulamwa gw’okubeera ab’amazima, abenkanya n’okwaniriza ab’ekibiina kya Pipo Power era bakolaganire wamu okukuba enkung’aana  ezitaliimu ntalo baagazise abantu ekibiina n’okuyingira ebyobufuzi okuyamba ku Bannayuganda.

Ono oluvannyuma yabalambululidde ennaku ez’enjawulo mu mwaka guno ze bagenda okutambulirako nga kw’ogasse n’ennaku endala ez’okwewandiisizaako mu nteekateeka y’okulonda obukulembeze obw’emitendera egy’enjawulo okubindabinda, nga zino zaatekebwawo akakiiko k’eby’okulonda nga kino kyakoleddwa okwewala okubuzaabuzibwa.

Ssentebe wa LC III e Mukono, Jamiru Kakembo yasabye abeetabye mu lukiiko okukomya enkola ey’okutagalira mu bibiina bamanye kye baagala n’okweggyamu embeera ey’okweyagaliza bokka.

 amiru akembo ngayogera eri bannakibiina Jamiru Kakembo ng'ayogera eri bannakibiina

 

“Mulekere awo okukoppa enkola y’abeebibiina ebirala ey’okweyogerera amafuukuule ate nga muli ba kibiina kimu. Nsaba ku mulundi guno ffe ab’ekibiina kya DP Pipo power tubeere banjawulo ku bo osanga tunaabeera ekyokulabirako eri bannaffe tutereeze  mu byobufuzi by’eggwanga lyaffe,” Kakembo bwe yagambye.

Abantu abeetabye mu lukiiko baasabye abaneesimbawo ku bifo ebinene mu Mukono okufaayo okulaba nga balonda abantu abeesigwa abanaabakuumira obululu bwabwe mu kulonda kw’omwaka ogujja beewale okubuzaabuzibwa n’okubabbako obululu olw’obulagajjavu bwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi