TOP

Kadaga yeyamye eri Bannayuganda abali e Canada

By Benjamin Ssebaggala

Added 3rd February 2020

Kadaga yeyamye eri Bannayuganda abali e Canada

Lop12 703x422

SIPIIKA wa palamenti Rebecca Kadaga agumizza Bannayuganda ababeera e Cananda nti waakukola ekisoboka okulaba nga basigala bafuna empeera zonna nga buli munnayuganda z’alina okufuna.

Agambye nti bangi bategeka enkung’aana mu mawanga g’ebweru kyokka nga terulina ngeri nnambulukufu Munnayuganda ali ebweru n’asigadde eka gye balufunamu.

Sipiika yabadde asisinkanye Kassim Ssali akulira Uganda Culture in Diaspora era sentebe w’olukiiko olutegeka olukung’aana lwa Uganda Kwekwaffe olugenda okubeerawo mu April mu kibuga Edmonton e Canada.

Ensisinkano yabadde mu ofiisi ya sipiika ku palamenti ne bamwanjulira enteekateeka gye balina mu lukung’aana luno nti okutumbula eby’obuwangwa baakuyita mu nnyimba n’okwolesa emisono gy’obuwangwa.

Ssali yategeezezza Sipiika nti Uganda nga bwe liri eggwanga ery’esigama ku bulimi, wagenda kubeerawo omukisa okubeera nga bafuna abakugu okuba e ebweru bawe bannayuganda obukugu bwe basobola okukozesa okutumbula okulima.

Kuno baakugattako okukwataganya abasuubuzi okuva e Uganda n’abasuubuzi okuva mu mawanga g’Abazungu. Bakubaganye ebirowoozo ku buwangwa, obusuubuzi n’ebyenjigiriza. Era waliyo enteekateeka z’okuyambako Bannayuganda abali ebweru okuzza pasipooti zabwe obuggya ko n’okwewandiisa okufuna densite y’eggwanga.

Wano Sippka waategeereza nti enkung’aana ezibadde zitegekebwa ebweru Bannayuganda babadde tebazifunamu butereevu wabula ku mulundi guno ye yennyini waakubeerayo era ne palamenti gy’akulira yaakwongera ku bakugu baayo abagenda okulwetabamu.

Okusooka abategesi babadde baayita Ababaka Muhammed Nsereko owa Kampala Central ne Ibrahim Kasozi owa Makindye East wabula Sipiika agambye nti waakwongera ku babaka abagenda.

Ssali yategeezezza Bukedde nti abayimbi abagenda okutumbula obuwangwa kuliko Harunah Mubiru ne Halimah Namakula.

 Enteekateeka zebalimu kuliko n’omwoleso gwa The Expo Edmonton World Heritage Festival nga luno lwakubeerawo mu August.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....