TOP

Omuyimbi Felisita bamuwadde basale

By Moses Nsubuga

Added 3rd February 2020

Musaayi muto omuyimbi Felisita di super star agudde mu bintu. bamuwadde basale okusomera obwereere ku Kampala Parents.

Feli1 703x422

Rajiv ng'amaze okuteeka emikono ku mpapula ne taata wa Felisita

“Mukama wamaanyi ate ddala wakitibwa nze ani Felisita wabwe agenda okusoma n’abaana ba baloodi era nga nzaanya nabbo ”

Bwatyo musaayi muto omuyimbi Felisita di super star ng’amannya ge amatuufu Faith Nanyanzi ,8, bw’atandise ng’alaga essanyu oluvannyuma lw’okumuwa ekifo ku somero lya Kampala Parents agenda kusomera bwerere.

Nagagga Dr. Sudhir Ruparelia ne mutabani we Rajiv Ruparelia nga bayita mu kitongole kyabwe ekya ‘Ruparelia Foundation’ bawadde Felisita basale ey’okusomera obwereere okuva mu P.5 mwali okutuuka mu P.7 nga buli kimu okuva ku fiizi, bitabbo, yunifoomu, okulambula[tour] n’ebirala bya bwereere.

 elisita nga yeebaza Felisita nga yeebaza

Felisita abadde asoma ku Makindye Citizen akawungezi ka leero Felisita agenze ne bazadde be, Mike Nyanzi Kasibante ne Hasifa Nalubega ne bateeka omukono  ku ndagaano n’aba Ruparelia Foundation ku mukolo ogubadde ku ssomero lya Kampala Parents e Naguru era Felisita avuddeyo bamukwasiza buli kimu ekyetagisa okutandika okusoma ne bamulagira atandikirewo kuba banne batandise.

 elisita ne fresh id bazadde babwe nabesomero Felisita ne fresh Kid, bazadde babwe n'ab'esomero.

Akulira essomero lino Daphine Kato, ng’amwaniriza amukutidde okukozesa obulungi omukisa ogumuwereddwa okusomera ku somero ery’omulembe era erimu ku gasinga okuba ag’amaanyi mu ggwanga okulaba nga atuukiriza ebirooto bye era amuwadde amagezi okwebuuza ku muyimbi munne Fresh Kid (Patrick Ssenyonjo) gwe basooka okuwa basale omwaka oguwedde abeeko byamuyigirako.

Wabula amulabudde obutalowooza nti agya kubeera nga sereebu ku ssomero, wano ogenda kuyisibwa ng’abayizi abalala era tugenda kufuba okulaba ng’ofuka omu ku baana abasinga obulungi mu nsi yonna naddala mu bibuuzo bya P.7 kubanga eggwanga likutunnulidde.

 ajiv ne bazadde ba elisita nga bateeka emikono ku mpapula Rajiv ne bazadde ba Felisita nga bateeka emikono ku mpapula

Omukolo guno gwetabiddwako n’abayimbi abalala abakuli n’abato abalina ettofaali lye batadde ku bulamu bwa Felisita naddala mu kuyimba okubadde; Spice Diana, Fresh Kid, Triplets Ghetto Kids, Levixone abalala abasiimiddwa kubaddeko Eddy Kenzo ne Geosteady.

Taata wa Felisita ne maama we beebazizza nnyo Ruparelia Foundation n’omwana waabwe kubanga kati nabo bafuuse abantu ab’omugaso mu nsi olw’omwana ono.

Kasibante (taata wa Felisita) ategezezza nti okuwa muwala we ekifo bamutikkudde omuguggu olw’embeera ey’okweyiiya gy’ayitamu okufuna ssente za fiizi ate amaze omwaka mulamba nga takola oluvannyuma lw’okugwa mu bazigu abamubba n’okumukuba ne bamuleka ng’ataawa.

 pice iana elisita ne evixone ku ddyo Spice Diana, Felisita ne Levixone (ku ddyo)

Rajiv Ruparelia akakkasiza nti buli kye basubiza Felisita bagya kukimuwa era tagenda kwejjusa obulamu bwe bwonna kubanga akwatiddwako abantu abatuufu era n’omuziki agenda kusigala nga agukuba.

Asiimye bannamawulire abakoze ekinene okutumbula ekitone ky’omwana ono n’okumumanyisa mu bantu ab’esomero nabbo okutuuka okumumanya era abasabye bazuule n’ebitone by’abaana abalala basobole okuyambibwa  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi