TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obujulizi bw’embwa busibisizza abafumbo emyaka 25

Obujulizi bw’embwa busibisizza abafumbo emyaka 25

By Edward Luyimbazi

Added 5th February 2020

Obujulizi bw’embwa busibisizza abafumbo emyaka 25

Dit12 703x422

Justine Mpamulungi ng’akaaba oluvannyuma lw’okusalirwa omusango.

OBUJULIZI bw’embwa ya poliisi kkooti bwe yeesigamyeko n’esingisa abafumbo omusongo gw’okutta omuntu ne basibibwa emyaka 25.

Omuserikale wa poliisi e Kawempe, Felix Okello ye yawadde obujulizi nga yeesigama ku byazuulibwa embwa ekonga olusu. Jenipher Namuwonge 31, yattibwa 2017 yali abeera mu Katoogo zooni e Bwaise mu muluka gwa Makerere III, omulambo gwe ne bagusuula mu luguudo mu zooni ya St. Francis nga guli bukunya.

Omulamuzi Anthony Ojok olwatyemudde omusango, abafumbo ne batandikirawo okukaaba. Okello yategeezezza Omulamuzi mu Kkooti Enkulu e Nakawa nti bwe baamutegeeza ku ttemu lino, yagenda n’embwa mu kifo awaali obutemu buno n’ewunya ku mulambo olwo n’eryoka ebakunguzza nga bagenda bagigoberera okutuuka mu maka ga Jonathan Mazuku 35 ne mukyala we, Justine Mpamulungi 26. Yayita ku mayumba mangi agali mu kifo ekyo.

Baakebera mu nnyumba ya Mazuku ne baggyamu ebigatto ebyaliko ebintu ebyefaanaanyiriza omusaayi ne sikaati eyaliko ettaka era bino byonna Mazuku ne Mpamulungi baabiteekako omukono nti babiggye mu nnyumba yaabwe era embwa yatuula okumpi ne Mazuku.

Engoye n’ebigatto byatwalibwa e Wandegeya mu tterekero ly’omusaayi erya Gavumenti ne bikeberebwa era ne bazuula nga waliwo ebyali bikwatagana n’ebintu bye baasanga ku mulambo.

Omulamuzi Ojok yagambye nti mumativu n’obujulizi bwa poliisi kubanga Okello yategeeza kkooti nga bwe yatendekebwa okukozesa embwa mu misango gino nga yalina obumanyirivu bwa myaka 11 era n’obujulizi bwonna baserikale banne bwe baaleeta bwali bukwatagana.

Yagambye nti mu kifo ekyo mwalimu amayumba mangi naye embwa yakonga olusu n’egenda mu maka gaabwe ekitegeeza nti be bazza omusango guno n’ategeeza nga bwe gubasinze era wano Mpamulungi atandikiddewo okukaaba. Omulamuzi yamugambye nti yategeera ekituufu kyokka n’asirika.

Omusango guno Mazuku ne Mpamulungi n’abalala abatannakwatibwa baaguzza nga August,16, 2017. Wabula omulamuzi Ojok yalagidde baggyibweko emyezi mukaaga gye baamala ku limanda bwe batyo nga baakumalayo emyaka 24 n’emyezi 6. Mazuku ne Mpamulungi babadde bawoza bava wabweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.