TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eggalidde Buwembo, eyali ssita wa Cranes lwa kuyiira bantu caayi

Poliisi eggalidde Buwembo, eyali ssita wa Cranes lwa kuyiira bantu caayi

By Eria Luyimbazi

Added 7th February 2020

Poliisi eggalidde Ibrahim Buwembo, eyali ssita wa Cranes lwa kuyiira bantu caayi

Gendako 703x422

POLIISI ya CPS mu Kampala eggalidde eyaliko omuzannyi wa tiimu y'eggwanga ne kiraabu ezenjawulo Ibrahim Buwembo olw'okwefuula ekitagasa n'ayiira abantu caayi.

Buwembo yakwatiddwa abasirikale okuva ku poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw'okwefuula ekitagasa n'ayiira abantu caayi mu Kiyembe saako n’okusamba ebintu.

Buwembo eyayatiikirira ennyo olwokusamba omupiira ng'ayita ku wingi eya kkono  mu kiraabu  Express FC,  Simba  n'endala yagenze mu Kiyembe wabula natandika okuyiira abantu caayi ekyabaviriddeko okuyita abasirikale ne bamukwata ne bamutwala mu kaduukulu ka poliisi ya CPS.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire yagambye Buwembo yakwatibwa ku Lwokusatu akawungeezi n'aggalirwa oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okwefuula ekitagasa oguli ku fayiro nnamba SD 69/05/02/2020.

Wabula poliisi yasazeewo okuyimbula Buwembo ku kakalu kaayo ku Lwokuna  nga bwe yafulumye akaduukulu yategezezza nti yatabuseemu n’abantu mu Kiyembe n'abayira caayi wabula ng'ensonga zino zaawedde kyokka endabika ye yalaze nti alina ebimusumbuwa n’obimusomooza  bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....