TOP

Ow'emyaka 11 eyabadde abuze bamuzudde Kenya

By Lilian Nalubega

Added 7th February 2020

Omwana ow'emyaka 11 gwe babbye e Nyanama bamusanze Kenya.

Kuddyoomwanaronidaracheleyabaddeabuzengakatialikupoliisiyerwandamukenyagyakuumilwawebuse 703x422

Roninda Rachael (ku ddyo) eyazuuliddwa e Kenya

Bya Lilian Nalubega

Omwana ow’emyaka 11 eyabula mu ngeri etaategeerekeka n’aleka bakadde be mu maziga azuuliddwa mu ggwanga lya Kenya.

Roninda Rachael ng’abadde agenze mu kibiina kyamukaaga ku ssomero lya Kamaanya Primary School e Bunnamwaya yazuulidddwa ku Lwokubiri lwa wiiki eno nga mu kiseera kino akuumirwa ku poliisi y’e Rwanda k mu Kenya.

Nnyina Irene Babirye, omutuuze ku kyalo Buyinja e Nyanama mu ggombolola y’e Lubaga mu Kampala mu kiseera kino ali mu kusattira olw’obutaba na nsimbi z’agamba nti yeetaaga okuba nazo okusobola okununula omwana we ono okuva e Kenya.

”Omwana wange alabika waliwo abaali bamubbye nga bamututte kyokka bwe baalemereddwa kwe kumusuula eyo n’alondebwa poliisi. Simanyi kye nnyinza kukola kubanga aba poliisi y’e Rwanda nga bayita ku ssimu 254 724 485 109 be bankubidde essimu ku Mmande ne bantegeeza nga bwe balonze omwana  omuwala ng’agamba nti, nze nnyina era ye yabawadde ennamba ya ssimu yange.

Nabategeezezza nti, omwana wange yabadde yambulako era kwe kubasaba bambuulire ebimukwatako kubanga n’owange yabula kyokka ne bantegeeza nti, nnina kusooka kugenda bakakase oba nga ddala nze nnyina olwo balyoke bamumpe.

Mu kiseera kino nnina essuubi nti, oyo ayinza okuba nga ye mwana wange kyokka nneeraliikirira kubanga ssente ezinneetaagisa okugenda sizirina ng’okuva ku Mmande nzinoonya nsobole okugenda naye zikyagaanye okuwera.

 nyina wa achael anoonya ssente zimutwala enya kunona mwana we Nnyina wa Rachael anoonya ssente zimutwala Kenya kunona mwana we

 

Ngezezzaako okuddamu okutuukirira poliisi y’e Nyanama gye naloopa okubula kw’omwana wange ku Ref.SD 03 29 01 2020 nabo bantutte ku poliisi e Katwe ng’eno bang’ambye nti, nneetaaga ssente ezintwala era bo beetegefu okumpa omupoliisi gwe nnaagenda naye e Kenya tusobole okuggyayo omwana wange.

Roninda yabula ku Lwakubiri lwa wiiki nga January 28/2020 ku ssaawa  nga nnya ez’ekiro bwe yali ne nnyina awaka e Nyanama nga bakola emirimu gy’awaka.

Roninda yali ayoza bintu mu ffumbiro okumpi ku lusebenju lw’ennyumba era amangu ng’abimaze yasiimuula we yali ayoleza ebintu amazzi n’agateeka mu bbaketi.

Nayingira mu nju okunona ssimu yange kyokka nagenda okudda wabweru ng’omwana abuze era ne ntandikirawo omuyiggo okutuusa lwe nafunye essimu okuva e Kenya ku Mmande ewedde.

Nsaba abazirakisa bannyambe okununula omwana wange kubanga newankubadde nategeezeddwako nti gyali, sinnamanya bisingawo wadde engeri gye yatuuseeyo.

Ssinga nfuna ssente z’entambula ey’abantu waakiri babiri n’entonotono ze simanyi muwendo eziyinza okwetaagisa nja kuba nnyambiddwa,” Babirye byeyagambye.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi