TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri abayimbi gye bataayizzaamu ssente za Museveni mu 2021

Engeri abayimbi gye bataayizzaamu ssente za Museveni mu 2021

By Martin Ndijjo

Added 7th February 2020

ENSWA bwekyusa amaasonga naawe okyusa envubo. N’abayimbi balabye ekiseera ky’akalulu kinaateera okutuuka nga n’abamu ebivvulu tebikyabafunira bulungi nga n’ensiike y’okuyimba ebuutikiddwa ebyobufuzi kwe kusalawo amaanyi n’obwongo okubizza ku kampeyini ezibindabinda batere beenogere ku musimbi

Moseveni 703x422

Pulezidenti Museveni lwe yasisinkana abayimbi e Kiboga. Wano ng’abuuza ku Ronald Mayinja. Mu kyenvu ye Balaam.

ENSWA bwekyusa amaasonga naawe okyusa envubo.
N’abayimbi balabye ekiseera ky’akalulu kinaateera okutuuka nga n’abamu ebivvulu tebikyabafunira bulungi nga n’ensiike y’okuyimba ebuutikiddwa ebyobufuzi kwe kusalawo amaanyi n’obwongo okubizza ku kampeyini ezibindabinda batere beenogere ku musimbi.

Olw’okuba okuyimba lye limu ku makubo omuntu mwayinza okuyisa obubaka okubutuusa ku bantu, bannabyabufuzi ennaku zino bettanira nnyo enkola y’okupangisa abayimbi okubakungira abawagizi n’okubasanyusa nga banoonya obululu.

Abamu ku bayimbi baamaze dda okukola ennyimba ze batembeeya mu ofiisi z’abakungu ab’enjawulo ate abalala bali mu situdiyo bayiiya n’okukola ennyimba eziwaana bannabyabufuzi babaweeyo ettoffaali ng’enjogera y’ennaku zino bweri.

Ennyimba ezimu ziwaana bibiina ate endala bantu ssekinnoomu. Waliwo n’abatalina bantu oba kibiina wabula nga batunuulidde mbeera eriwo ekitegeeza nti amutuukirira gw’akolera.

Kyokka abasinga basonze ku kibiina kya NRM ne Pulezidenti Museveni nga bagamba nti wano we wali ssente era waliwo n’abayimbi abaamaze edda okumusisinkana.

Olw’okuba abasinga ku bayimbi tebalina busobozi butuuka butereevu ku bannabyabufuzi abalina ssente, kino kiwadde bakayungirizi omwagaanya okuyingirawo okubayamba okubatuusa ku banene.

BALAAM AYOGEDDE Ssaabavvulu Balaam Barugahara omu ku bayimbi gwe batera okukozesa okubafunira akatale ate nga muwagizi wa NRM agamba nti yaakafuna obutambi bw’abayimbi 400 abaagala okubatuusa mu bakulu ba NRM. “

Bangi bazze ewange abalala batuukiridde bannakibiina abalala naye kati mbasindika wa Catherine Kusasira ne Full Figure be balina ofiisi ezikola ku nsonga z’ekibiina abasobola okubayamba.”

Agamba nti waliwo enteekateeka ekolebwa okuteekawo akakiiko akagenda okutunula mu nnyimba zino balondemu ezisobola okukolera ekibiina kyabwe era abanaaba bayiseemu bajja kusiimibwa mu ngeri ey’enjawulo.

Aba NRM ba teekateeka kukola luyimba olwawamu Catherine Kusasira omu ku bali mu nteekateeka eno ku ludda lwa NRM agamba ekimu ku bye batunuulidde kwe kusikiriza abayimbi okubeegattako kubanga obungi g’emaanyi."Saagala kukulembeza nnyo kya ssente ate n’abayimbi basooke kukola nga tebannaba kulowooza ku kya ssente.

Ffe tetufaayo ne bwe baba bayimbi 100 nga bonna bakoze ennyimba za NRM tubaaniriza era bajja kuyimba kubanga n’ekuhhaana zigenda kuba nnyingi.” Wabula Kusasira bano abawadde amagezi okuyiiya ennyimba ezikwata ku bintu ebyenjawulo so ssi ezo zokka eziwaana Pulezidenti.

Agamba basobola okuyimba ku bintu gavumenti ya NRM bye yeenyumirizaamu by’ezze ekola nga enguudo, okuleeta emirembe n’ebirala era nti abagenda okukola ogw’okusunsulamu ennyimba ensonga eno bagenda kugitwala nga nkulu.

Yagasseeko nti ng’oggyeeko ennyimba z’abantu ssekinnoomu, bateekateeka n’okukola oluyimba olwawamu okufaanana ‘Tubonga naawe’. Luno lugenda kubeeramu abayimbi 10. Bwe yabuuziddwa amaanyi g’abayimbi bano yagambye nti kuliko ye Kusasira, Bebe Cool, Full Figure n’abalala.

Jamie Culture aku tudde ddiiru ensa va Wadde tayogera muwendo gwa ssente ze bagenda kumuwa, Jamie Culture ennaku zino atambula ‘awanise ebbango’.

Agamba nti wadde si munnabyabufuzi, akola ssente era asobola n’okuyimbira omuntu yenna. Ono yayiiyizza oluyimba n’alutuuma ‘‘Fika Salaama’’ olutandise okwogeza abantu obwama.

Mu luyimba luno awaana ekibiina kya NRM nti bbaasi ya kyenvu y’esinga era yejja okukutuusa gy’olaga kubanga bbaasi z’abali abalala nfu nnyo. Yategeezezza nti yamaze dda okutuukirira abantu be kikwatako nga bagenda kulweyambisa okukunga abavubuka.

ABA PEOPLE POWER NABO BEESUNGA Joel Ssenyonyi Abayimbi bangi abakoze ennyimba za ‘People power’ era abamu bantuukiridde ng’omuntu abalala bazitwala ku ofiisi ne ku situdiyo e Kamwokya. Kyokka ekinsanyusa nti ku baleese ennyimba zino tekuli asaba ssente wabula bakikola lwa buwagizi n’okwagala.

Tusuubira ennyimba nnyingi era abayimbi bano bonna bagenda kukulemberwamu omuyimbi Bobi Wine ne Nubian Lee.

Mamuli Katumba Ono yeeyita pulezidenti w’abayimbi b’oludda oluvuganya. Bwe yabadde ku mukolo gwa ‘People power’ yasabye Bobi Wine ne banne okubafunira situdiyo mwe bayinza okukolera ennyimba era agamba ye ne ttiimu ye balina ennyimba nnyingi ze bamaze okuyiiya nga zibulako kukwata maloboozi.

Yabakubiddemu ezimu ku nnyimba ze ezabacamudde ne bamufuuwa ssente. ABA YIMBI ABALALA ABA KOZE ENNYIMBA Phina Mugerwa Ebirala byonna nabiwummuza kati nneetegekera sizoni ya byabufuzi nneekolere ku ssente.

Ng’oggyeeko okunoonyeza omwami wange Hon. Geoffrey Dhamamuzungu owa Budiope East akalulu ne Pulezidenti Museveni nga nnyimba ku nkuh− haana zaabwe era nga bano namaze dda okubayiiyiza n’ennyimba okuli; Daddy Muhoozi ne Dhamamuzungu amalako.

Waliwo bannabyabufuzi abalala abatandise okumpa bizinensi mbayiiyize ennyimba. Big Eye ne King Michael Bano tebakyaliko kubuuza bawagizi ba NRM era gye buvuddeko baafuna n’omukisa okusisinkana Pulezidenti ne bamusuubiza okumuwagira mu kalulu nga bayita mu kuyimba.

Big Eye agamba yamaze dda okukolera Pulezidenti oluyimba ‘Ali steady’ ng’amusiima era alina n’ennyimba endala z’ateekateeka okukola.

Yagasseeko nti okuyimba gwe mulimu gwe kale owa NRM yenna ayagala okumuwa ddiiru waali kyokka ab’oludda oluvuganya tebatawaana.

Haruna Mubiru Ono y’omu ku baayimba mu ‘‘Tubonga naawe’’ oluyimba NRM lwe yakozesa mu kampeyini ezaggwa.

Agamba nti wadde okwetaba mu luyimba luno kyamuviirako ebizibu ng’abantu okumukyawa n’okukosebwa mu byenfuna, ne ku mulundi guno tatudde alinda munnabyabufuzi yenna amuwa ssente amuyimbire.

Haruna agamba wadde tannaba kubaako luyimba lwa kampeyini lwe yaafulumizza, ayagala okumukolera alina okwenyweeza. Adam Mulwana Abasinga bamumanyidde ku luyimba lwa ‘Toka kwa baalabbala’ olwakozesebwa ab’ekibiina kya FDC mu kalulu ka 2016.

Ne ku mulundi guno agamba yeeteeseteese bulungi okulaba ng’addamu okufuna ku ssente era alina ennyimba ssatu eziwedde okukolebwa ng’alinze kiseera ky’abagenda okuvuganya ku bwa pulezidenti okwewandiisa azite.

Wabula Mulwana agamba nti ye ssente azitunuulidde kuva mu baaludda luvuganya kubanga ennyimba z’akoze zikwata ku nsonga eziruma n’okunyigiriza Bannayuganda. “Ne bwe sifuna muntu azigula nsuubira tezigenda kundeka kye kimu nga ‘‘Toka kwa bbalabbala’’ bwe yakola kubanga oluyimba luno luntuusizza wangi.

Nafuna emikwano egyegasa nga n’abamu baluwuliriza ne basiima ne bampa ssente ate nalutegekamu n’ebivvulu.

Hassan Ndugga Wadde ono abasinga babadde bamusuubira kukolera bali ku ludda oluvuganya olw’ennyimba okuli: Kitaffe tatwagala, ttaamu egenda n’endala ezikoona gavumenti, gye buvuddeko yalangiridde nga bwe yakyuse ng’agenda kukolera NRM era y’omu ku bayimbi abeetabye mu kutambula Pulezidenti kwe yabaddeko mu bitundu gye yalwanira olutalo. Kyokka Ndugga akaaba ekikono ekiri mu bayimbi ba NRM era yavudde mu ttabamiruka wa NRM e Namboole ng’alaajana olw’abaabadde balina okumusasula okumudaaza.

Agamba ajja kukolera Pulezidenti. Ragga Dee Yagambye nti okuva Museveni lwe yatandika okunoonya akalulu mu 1996, azze afulumya ennyimba ezimuwaana. Mu 2011 yaleeta ‘‘Eriiso ly’omukadde’’. Yakola Remix ya ‘‘Another Rap’’ mu 2011. Mu 2016 yaleeta ‘‘omukazi omuto n’omukadde olondako ani’’.

Mu 2020 aleese ‘‘Bwe njagala njagala nnyo’’ mwe yayisizza obubaka obugumya abawagizi ba Museveni. Younger Mulo Agamba nti abadde tasobola kusigala ng’atunula abalala bayiiya ssente. Wadde yeeyogerako ng’owa ‘People power’ yamaze dda okufulumya oluyimba ‘Funa endagamuntu’.

Agamba ajja kukolera Bukedde 13 Lwakutaano February 7, 2020 Sanyuka ne wiikendi MU SSI MU YO, OWA NDIIKE SA NYUKA OZZEEKO OBUBA KA BW O OBUWEEREZE KU 8338 amu ssente za kampeyini za 2021 Abawagizi kye bagamba John Lubowa: Ebyobufuzi byafuuka bizinensi.

Omuyimbi bw’aba afunye omukisa waaliira ku ssente mu kiseera kino agende azirye naye bakimanye nti akafa omukkuto tekaluluma. Joan Tukahirwa: Kikyamu abayimbi okutandika okweyingiza mu byobufuzi nga banoonyeza ebibiina oba abantu ssekinnoomu obuwagizi kubanga ebyobufuzi by’awula mu ndowooza z’abantu.

Badru Mwanamubi: Abayimbi ebyobufuzi bye batandise okuyingiramu nze ndowooza bigenda kubongera ettutumu kubanga kati Full Figure wa maanyi okusinga luli nga tannayingira byabufuzi.

Joshua Mulinzi: Abayimbi nze sibawagira kutandika kweyingiza mu byabufuzi nga balaga oludda kubanga babadde batwalibwa ng’abasomesa era ekisaawe ky’okuyimba kimaze okufa.

Moses Oyesigire: Ebyobufuzi bigenda kukosa nnyo abayimbi ba Uganda. Bangi bagenda kusigala mu bbanga kubanga kino kigenda kwawulayawula mu bawagizi baabwe. omuntu yenna amuwa ssente kasita aba nga takuba Bobi Wine era ne bwekiba kyetagisa kumuyiiyiza luyimba lwe ng’omuntu mwetegefu okulya ku ssente ezo.

Abafunye mu kintu kino Abayimbi bangi abazze bafuna ssente mu kuyiiyiza bannabyabufuzi ennyimba ezibasuuta ate abalala beeyongedde ettutumu nga bakola ennyimba ne zifuuka ehhombo mu byobufuzi.

Bano kuliko: Dr. Hilderman Ajjukirwa mu kampeyini za 2011 bwe yayiiyiza Minisita Amelia Kyambadde oluyimba ‘Amelia’ lwe yakulembeza mu kunoonya akalulu akaamuleeta mu palamenti.

Hilderman yafunamu nnyo era ng’oggyeeko okugula mmotoka empya yasobola n’okumaliriza ennyumba mwasula.

Eddy Kenzo Ng’oggyeeko okusasulwa ssente okuyimba ku nkuhhaana za NRM okwetooloola eggwanga mu 2011, oluyimba lwe ‘sitamina’ lwamwongera ettutumu era okuva olwo taddanga mabega. N’ez’omulundi guno yaziriddeko dda era Pulezidenti yamuwadde obukadde bw’ensimbi bwe yabadde yaakava mu Amerika.

Bebe Cool Y’omu ku baasinga okufuna mu kalulu akaasembyeyo bwe yakolera NRM era ne ku mulundi guno alindiridde kampeyini kutandika. Kyokka ono azze aweebwa omusimbi n’ebintu ebikalu ng’emmotoka.

buwagizi n’okwagala. Tusuubira ennyimba
nnyingi era abayimbi bano
bonna bagenda kukulemberwamu
omuyimbi Bobi Wine ne Nubian Lee.
Mamuli Katumba
Ono yeeyita pulezidenti w’abayimbi
b’oludda oluvuganya. Bwe yabadde
ku mukolo gwa ‘People power’ yasabye
Bobi Wine ne banne okubafunira
situdiyo mwe bayinza okukolera
ennyimba era agamba ye ne ttiimu
ye balina ennyimba nnyingi ze bamaze
okuyiiya nga zibulako kukwata
maloboozi. Yabakubiddemu ezimu
ku nnyimba ze ezabacamudde ne
bamufuuwa ssente.
ABA YIMBI ABALALA
ABA KOZE ENNYIMBA
Phina Mugerwa
Ebirala byonna nabiwummuza kati
nneetegekera sizoni ya byabufuzi
nneekolere ku ssente. Ng’oggyeeko
okunoonyeza omwami wange Hon.
Geoffrey Dhamamuzungu owa
Budiope East akalulu ne Pulezidenti
Museveni nga nnyimba ku nkuh−
haana zaabwe era nga bano namaze
dda okubayiiyiza n’ennyimba okuli;
Daddy Muhoozi ne Dhamamuzungu
amalako. Waliwo bannabyabufuzi
abalala abatandise okumpa bizinensi
mbayiiyize ennyimba.
Big Eye ne King Michael
Bano tebakyaliko kubuuza bawagizi
ba NRM era gye buvuddeko baafuna
n’omukisa okusisinkana Pulezidenti
ne bamusuubiza okumuwagira mu
kalulu nga bayita mu kuyimba. Big
Eye agamba yamaze dda okukolera
Pulezidenti oluyimba ‘Ali steady’
ng’amusiima era alina n’ennyimba
endala z’ateekateeka okukola.
Yagasseeko nti okuyimba gwe mulimu
gwe kale owa NRM yenna ayagala
okumuwa ddiiru waali kyokka
ab’oludda oluvuganya tebatawaana.
Haruna Mubiru
Ono y’omu ku baayimba mu ‘‘Tubonga
naawe’’ oluyimba NRM
lwe yakozesa mu kampeyini ezaggwa.
Agamba nti wadde okwetaba
mu luyimba luno kyamuviirako
ebizibu ng’abantu okumukyawa
n’okukosebwa mu byenfuna, ne
ku mulundi guno tatudde alinda
munnabyabufuzi yenna
amuwa ssente amuyimbire.
Haruna agamba
wadde tannaba kubaako
luyimba lwa kampeyini
lwe yaafulumizza, ayagala
okumukolera alina okwenyweeza.
Adam Mulwana
Abasinga
bamumanyidde
ku luyimba
lwa ‘Toka kwa
baalabbala’ olwakozesebwa
ab’ekibiina kya FDC mu kalulu ka
2016.
Ne ku mulundi guno agamba
yeeteeseteese bulungi okulaba
ng’addamu okufuna ku ssente era
alina ennyimba ssatu eziwedde
okukolebwa ng’alinze kiseera
ky’abagenda okuvuganya ku bwa
pulezidenti okwewandiisa azite.
Wabula Mulwana agamba nti ye
ssente azitunuulidde kuva mu baaludda
luvuganya kubanga ennyimba
z’akoze zikwata ku nsonga eziruma
n’okunyigiriza Bannayuganda. “Ne
bwe sifuna muntu azigula
nsuubira tezigenda
kundeka kye kimu nga
‘‘Toka kwa bbalabbala’’
bwe yakola
kubanga oluyimba
luno luntuusizza
wangi. Nafuna
emikwano
egyegasa nga
n’abamu baluwuliriza
ne basiima
ne bampa ssente
ate nalutegekamu
n’ebivvulu.
Hassan Ndugga
Wadde ono abasinga
babadde bamusuubira kukolera bali
ku ludda oluvuganya olw’ennyimba
okuli: Kitaffe tatwagala, ttaamu
egenda n’endala ezikoona gavumenti,
gye buvuddeko yalangiridde
nga bwe yakyuse ng’agenda kukolera
NRM era y’omu ku bayimbi
abeetabye mu kutambula Pulezidenti
kwe yabaddeko mu bitundu gye
yalwanira olutalo. Kyokka Ndugga
akaaba ekikono ekiri mu bayimbi ba
NRM era yavudde mu ttabamiruka
wa NRM e Namboole ng’alaajana
olw’abaabadde balina okumusasula
okumudaaza. Agamba ajja kukolera
Pulezidenti.
Ragga Dee
Yagambye nti okuva Museveni
lwe yatandika okunoonya akalulu
mu 1996, azze afulumya ennyimba
ezimuwaana. Mu 2011 yaleeta
‘‘Eriiso ly’omukadde’’. Yakola
Remix ya ‘‘Another Rap’’ mu 2011.
Mu 2016 yaleeta ‘‘omukazi omuto
n’omukadde olondako ani’’. Mu
2020 aleese ‘‘Bwe njagala njagala
nnyo’’ mwe yayisizza obubaka
obugumya abawagizi ba Museveni.
Younger Mulo
Agamba nti abadde tasobola
kusigala ng’atunula
abalala bayiiya ssente.
Wadde yeeyogerako
ng’owa ‘People
power’ yamaze
dda okufulumya
oluyimba ‘Funa
endagamuntu’.
Agamba ajja
kukolera
Bukedde 13 Lwakutaano February 7, 2020 Sanyuka ne wiikendi
MU SSI MU YO, OWA NDIIKE SA NYUKA OZZEEKO OBUBA KA BW O OBUWEEREZE KU 8338
amu ssente za kampeyini za 2021
Abawagizi kye bagamba
John Lubowa: Ebyobufuzi
byafuuka bizinensi. Omuyimbi
bw’aba afunye omukisa
waaliira ku ssente mu
kiseera kino agende azirye
naye bakimanye nti akafa
omukkuto tekaluluma.
Joan Tukahirwa: Kikyamu
abayimbi okutandika
okweyingiza mu byobufuzi
nga banoonyeza ebibiina
oba abantu ssekinnoomu
obuwagizi kubanga ebyobufuzi
by’awula mu ndowooza
z’abantu.
Badru Mwanamubi: Abayimbi
ebyobufuzi bye batandise
okuyingiramu nze ndowooza
bigenda kubongera ettutumu
kubanga kati Full Figure
wa maanyi okusinga luli nga
tannayingira byabufuzi.
Joshua Mulinzi: Abayimbi
nze sibawagira kutandika
kweyingiza mu byabufuzi
nga balaga oludda kubanga
babadde batwalibwa
ng’abasomesa era ekisaawe
ky’okuyimba kimaze okufa.
Moses Oyesigire: Ebyobufuzi
bigenda kukosa nnyo
abayimbi ba Uganda.
Bangi bagenda kusigala
mu bbanga kubanga kino
kigenda kwawulayawula
mu bawagizi baabwe.
omuntu yenna amuwa
ssente kasita aba nga
takuba Bobi Wine era
ne bwekiba kyetagisa
kumuyiiyiza luyimba lwe
ng’omuntu mwetegefu okulya
ku ssente ezo.
Abafunye mu kintu kino
Abayimbi bangi abazze bafuna
ssente mu kuyiiyiza bannabyabufuzi
ennyimba ezibasuuta ate
abalala beeyongedde ettutumu
nga bakola ennyimba ne zifuuka
ehhombo mu byobufuzi. Bano
kuliko:
Dr. Hilderman
Ajjukirwa mu kampeyini za 2011
bwe yayiiyiza Minisita Amelia
Kyambadde oluyimba ‘Amelia’
lwe yakulembeza mu kunoonya
akalulu akaamuleeta mu palamenti.
Hilderman yafunamu nnyo era
ng’oggyeeko okugula mmotoka
empya yasobola n’okumaliriza ennyumba
mwasula.
Eddy Kenzo
Ng’oggyeeko okusasulwa ssente
okuyimba ku nkuhhaana za NRM
okwetooloola eggwanga
mu 2011, oluyimba lwe
‘sitamina’ lwamwongera
ettutumu era okuva
olwo taddanga mabega.
N’ez’omulundi
guno yaziriddeko dda
era Pulezidenti yamuwadde obukadde
bw’ensimbi bwe yabadde
yaakava mu Amerika.
Bebe Coo l
Y’omu ku baasinga okufuna
mu kalulu akaasembyeyo bwe
yakolera NRM era ne ku mulundi
guno alindiridde kampeyini kutandika.
Kyokka ono azze aweebwa
omusimbi n’ebintu ebikalu
ng’emmotoka.
buwagizi n’okwagala. Tusuubira ennyimba nnyingi era abayimbi bano bonna bagenda kukulemberwamu omuyimbi Bobi Wine ne Nubian Lee. Mamuli Katumba Ono yeeyita pulezidenti w’abayimbi b’oludda oluvuganya. Bwe yabadde ku mukolo gwa ‘People power’ yasabye Bobi Wine ne banne okubafunira situdiyo mwe bayinza okukolera ennyimba era agamba ye ne ttiimu ye balina ennyimba nnyingi ze bamaze okuyiiya nga zibulako kukwata maloboozi. Yabakubiddemu ezimu ku nnyimba ze ezabacamudde ne bamufuuwa ssente. ABA YIMBI ABALALA ABA KOZE ENNYIMBA Phina Mugerwa Ebirala byonna nabiwummuza kati nneetegekera sizoni ya byabufuzi nneekolere ku ssente. Ng’oggyeeko okunoonyeza omwami wange Hon. Geoffrey Dhamamuzungu owa Budiope East akalulu ne Pulezidenti Museveni nga nnyimba ku nkuh− haana zaabwe era nga bano namaze dda okubayiiyiza n’ennyimba okuli; Daddy Muhoozi ne Dhamamuzungu amalako. Waliwo bannabyabufuzi abalala abatandise okumpa bizinensi mbayiiyize ennyimba. Big Eye ne King Michael Bano tebakyaliko kubuuza bawagizi ba NRM era gye buvuddeko baafuna n’omukisa okusisinkana Pulezidenti ne bamusuubiza okumuwagira mu kalulu nga bayita mu kuyimba. Big Eye agamba yamaze dda okukolera Pulezidenti oluyimba ‘Ali steady’ ng’amusiima era alina n’ennyimba endala z’ateekateeka okukola. Yagasseeko nti okuyimba gwe mulimu gwe kale owa NRM yenna ayagala okumuwa ddiiru waali kyokka ab’oludda oluvuganya tebatawaana. Haruna Mubiru Ono y’omu ku baayimba mu ‘‘Tubonga naawe’’ oluyimba NRM lwe yakozesa mu kampeyini ezaggwa. Agamba nti wadde okwetaba mu luyimba luno kyamuviirako ebizibu ng’abantu okumukyawa n’okukosebwa mu byenfuna, ne ku mulundi guno tatudde alinda munnabyabufuzi yenna amuwa ssente amuyimbire. Haruna agamba wadde tannaba kubaako luyimba lwa kampeyini lwe yaafulumizza, ayagala okumukolera alina okwenyweeza. Adam Mulwana Abasinga bamumanyidde ku luyimba lwa ‘Toka kwa baalabbala’ olwakozesebwa ab’ekibiina kya FDC mu kalulu ka 2016. Ne ku mulundi guno agamba yeeteeseteese bulungi okulaba ng’addamu okufuna ku ssente era alina ennyimba ssatu eziwedde okukolebwa ng’alinze kiseera ky’abagenda okuvuganya ku bwa pulezidenti okwewandiisa azite. Wabula Mulwana agamba nti ye ssente azitunuulidde kuva mu baaludda luvuganya kubanga ennyimba z’akoze zikwata ku nsonga eziruma n’okunyigiriza Bannayuganda. “Ne bwe sifuna muntu azigula nsuubira tezigenda kundeka kye kimu nga ‘‘Toka kwa bbalabbala’’ bwe yakola kubanga oluyimba luno luntuusizza wangi. Nafuna emikwano egyegasa nga n’abamu baluwuliriza ne basiima ne bampa ssente ate nalutegekamu n’ebivvulu. Hassan Ndugga Wadde ono abasinga babadde bamusuubira kukolera bali ku ludda oluvuganya olw’ennyimba okuli: Kitaffe tatwagala, ttaamu egenda n’endala ezikoona gavumenti, gye buvuddeko yalangiridde nga bwe yakyuse ng’agenda kukolera NRM era y’omu ku bayimbi abeetabye mu kutambula Pulezidenti kwe yabaddeko mu bitundu gye yalwanira olutalo. Kyokka Ndugga akaaba ekikono ekiri mu bayimbi ba NRM era yavudde mu ttabamiruka wa NRM e Namboole ng’alaajana olw’abaabadde balina okumusasula okumudaaza. Agamba ajja kukolera Pulezidenti. Ragga Dee Yagambye nti okuva Museveni lwe yatandika okunoonya akalulu mu 1996, azze afulumya ennyimba ezimuwaana. Mu 2011 yaleeta ‘‘Eriiso ly’omukadde’’. Yakola Remix ya ‘‘Another Rap’’ mu 2011. Mu 2016 yaleeta ‘‘omukazi omuto n’omukadde olondako ani’’. Mu 2020 aleese ‘‘Bwe njagala njagala nnyo’’ mwe yayisizza obubaka obugumya abawagizi ba Museveni. Younger Mulo Agamba nti abadde tasobola kusigala ng’atunula abalala bayiiya ssente. Wadde yeeyogerako ng’owa ‘People power’ yamaze dda okufulumya oluyimba ‘Funa endagamuntu’. Agamba ajja kukolera Bukedde 13 Lwakutaano February 7, 2020 Sanyuka ne wiikendi MU SSI MU YO, OWA NDIIKE SA NYUKA OZZEEKO OBUBA KA BW O OBUWEEREZE KU 8338 amu ssente za kampeyini za 2021 Abawagizi kye bagamba John Lubowa: Ebyobufuzi byafuuka bizinensi. Omuyimbi bw’aba afunye omukisa waaliira ku ssente mu kiseera kino agende azirye naye bakimanye nti akafa omukkuto tekaluluma. Joan Tukahirwa: Kikyamu abayimbi okutandika okweyingiza mu byobufuzi nga banoonyeza ebibiina oba abantu ssekinnoomu obuwagizi kubanga ebyobufuzi by’awula mu ndowooza z’abantu. Badru Mwanamubi: Abayimbi ebyobufuzi bye batandise okuyingiramu nze ndowooza bigenda kubongera ettutumu kubanga kati Full Figure wa maanyi okusinga luli nga tannayingira byabufuzi. Joshua Mulinzi: Abayimbi nze sibawagira kutandika kweyingiza mu byabufuzi nga balaga oludda kubanga babadde batwalibwa ng’abasomesa era ekisaawe ky’okuyimba kimaze okufa. Moses Oyesigire: Ebyobufuzi bigenda kukosa nnyo abayimbi ba Uganda. Bangi bagenda kusigala mu bbanga kubanga kino kigenda kwawulayawula mu bawagizi baabwe. omuntu yenna amuwa ssente kasita aba nga takuba Bobi Wine era ne bwekiba kyetagisa kumuyiiyiza luyimba lwe ng’omuntu mwetegefu okulya ku ssente ezo. Abafunye mu kintu kino Abayimbi bangi abazze bafuna ssente mu kuyiiyiza bannabyabufuzi ennyimba ezibasuuta ate abalala beeyongedde ettutumu nga bakola ennyimba ne zifuuka ehhombo mu byobufuzi. Bano kuliko: Dr. Hilderman Ajjukirwa mu kampeyini za 2011 bwe yayiiyiza Minisita Amelia Kyambadde oluyimba ‘Amelia’ lwe yakulembeza mu kunoonya akalulu akaamuleeta mu palamenti. Hilderman yafunamu nnyo era ng’oggyeeko okugula mmotoka empya yasobola n’okumaliriza ennyumba mwasula. Eddy Kenzo Ng’oggyeeko okusasulwa ssente okuyimba ku nkuhhaana za NRM okwetooloola eggwanga mu 2011, oluyimba lwe ‘sitamina’ lwamwongera ettutumu era okuva olwo taddanga mabega. N’ez’omulundi guno yaziriddeko dda era Pulezidenti yamuwadde obukadde bw’ensimbi bwe yabadde yaakava mu Amerika. Bebe Coo l Y’omu ku baasinga okufuna mu kalulu akaasembyeyo bwe yakolera NRM era ne ku mulundi guno alindiridde kampeyini kutandika. Kyokka ono azze aweebwa omusimbi n’ebintu ebikalu ng’emmotoka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi