TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omufumbo bamutuze ava ku mulimu omulambone bagusuulira bba

Omufumbo bamutuze ava ku mulimu omulambone bagusuulira bba

By Ponsiano Nsimbi

Added 8th February 2020

OMUKAZI bwe yavudde okukola, ttakisi yamutadde ku siteegi we yalabiddwa ng’agula kasooli omwokye. Kyokka eka teyatuuse era okuddamu okumuwuliza ng’attiddwa, omulambo gusuuliddwa okumpe n’amaka ge.

Rock 703x422

Omugenzi Dorcus Musimenta lwe yali ne bbebi we.

Abasse Dorcus Musiimenta 25, baakozesezza obukambwe obusukkiridde. Omulambo gwe gwabaddeko ebiwundu by’ennyondo bisatu ku mutwe. Baamufumise ekiti ku bulago obwabaddeko n’enkwagulo nga kirowoozebwa nti zaavudde ku kumutuga.

Mutuuze w’e Ssumba mu Kyengera Town Council. Bba James Bwambale musomesa mu Buddo S.S. Ennyumba yaabwe babadde baakagimaliriza. Era okumpi n’enju we baasudde omulambo gwe ogulabika nga gwaleeteddwa ne gusuulibwawo.

Gwabadde bwereere nga guzimbye. Okumpi n’omulambo waabaddewo bulawuzi y’omugenzi. Sikaati yabadde ewenjuddwa nga kirowoozebwa nti abaamusse baasoose kumusobyako.

Abasawo baategeezezza nti abadde n’olubuto lwa myezi ebiri. Awaka abadde abeerawo ne bba, omwana we omuwala Samantha Atuhaire wa myaka esatu ne mulamu we.

Bwambale yategeezezza Bukedde nti mukazi we abadde yaakafuna omulimu mu dduuka ly’Abayindi eritunda kompyuta erya Computer Hub ku Kampala Road.

Ku Lwokubiri yakedde kuva waka n’egenda ku mulimu. Awaka teyakomyewo era bwe bwazibye ne batandika okumukubira essimu kyokka nga teriiko.

Bba yakomyewo ng’essaawa zisobya mu 2:00 ez’ekiro naye n’akubira mikwnao gye n’abooluganda kyokka nga tewali amanyi bimufaako. Kyokka Bwambale yabadde yayogedde ne mukazi we emisana n’amutegeeza bw’ajja okulwayo ng’ayitiddeko ewa mukwano gwe e Kololo.

E Kololo nayo Bwambale yakubyeyo essimu ne bamutegeeza nti yavuddeyo ng’obudde tebunnaziba.

Mu kumunoonya kwe kutegeezebwa nga Dorcus bwe yabadde alabiddwa ng’ava mu ttakisi ku siteegi mu kabuga k’e Kisozi - Buddo, n’agenda ku ssigiri we batundira kasooli omwokyo n’agulawo kasooli.

 ames wambale yeya owookubiri ku ddyo bba wa ocus usimenta gwebasse ngali ku ggwanika e ulago nabooluganda lwomugenzi James Bwambale Kyeya (owookubiri ku ddyo) bba wa Docus Musimenta gwebasse ng’ali ku ggwanika e Mulago n’abooluganda lw’omugenzi.

 

Olwo obudde bwabadde butandise okuziba era kirowoozebwa nti wakati wa Kisozi ne Ssumba we baamuwambidde ne bamutta. Omulambo gwe gwa 

zuuliddwa ku Lwokuna ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo. Omwana eyabadde ava ku ssomero yabadde ayita mu musiri gwa kasooli okumpi n’enju ya Bwambale n’alaba omulambo.

Abatuuze baakuhhaanye okuli ssentebe wa LC1, Moses Mwanje ayakubidde poliisi essimu eyaleese kabangali n’egutwala e Mulago. Gwaggyiddwa e Mulago eggulo ne guyisibwako awaka okugutwala e Rukungiri gy’anaaziikibwa.

Ssentebe yagambye nti ku kyalo kuliko ekibinja ky’abavubuka abaaleetebwa abagagga abakaayanira ettaka. Abavubuka bano yaboogeddeko ng’abatadde ekyalo kiu bunkenke.

Batambula n’emiggo ne bakola effujjo ku bantu. Emyezi ebiri egiyise, yagambye nti waliwo omutuuze gwe baatemako omukono. Ateebereza nti abavubuka bano bandiba emabega w’obutemu buno.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yagambye nti, baafunye amawulire ku ssaawa nga 8:00 ne basitukiramu okugenda okuggyawo omulambo n’ategeeza nti, eby’akabinja ssentebe ke yeemulugunyaako, poliisi ebadde tefunna kwemulugunya kwonna kuva mu batuuze.

Omumjyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigyire yagambye nti tebafunanga kwemulugunya kwonna ku kabinja k’abavubuka abatigomya ekyalo. Kyokka bajja kubabuulirizaako n’okuzuula ekituufu ku basse Dorcus.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...